Farming God`s Way Field Guide

Transcription

Farming God`s Way Field Guide
Okulima Mungeri ya Katonda
Endagiriro ye Nimiro
By Grant Dryden
Farming God’s Way
Farming God’s Way is a resource given to the wider body of
Christ, to serve the poor and deliver them from the yoke of
poverty.
Reproduction
Copyright © 2010 GW Dryden
Luganda Translation: Kasule, A., Sperling, C., Sperling, J., 2015
Copies of this publication can be downloaded from
www.farming-gods-way.org
Reproduction and dissemination of this publication in unaltered form
for educational or other non-commercial purposes are authorized
without any prior written permission from the copyright holder
provided the source is fully acknowledged with the recommended
citation below.
Reproduction of material in this publication for resale or other
commercial purposes is permitted only with written permission of the
author, G.W. Dryden – [email protected]
The statements, interpretations, and conclusions expressed in this
guide are those of the author.
Recommended Citation
Farming God’s Way Field Guide. Dryden, G.W., 2009.
Translation Kasule, A., Sperling, C., Sperling, J., 2015
Sponsors
The Field Guide, was sponsored by the Bountiful Grains Trust, 109
Fordyce Rd, Walmer, Port Elizabeth, RSA.
IT 949/2007; NPO 061-902; PBO 930025934.
Orders
To order the training DVD series or printed copies of any of the
Farming God's Way resources: Email: [email protected]
Telephone: +27 41 5811833
Okulima Mungeri ya Katonda
Enyanjula ....................................................................................................1
Ebisumuluzo bya Baibuli ...........................................................................4
Ekisumuluzo 1: Okwatula Katonda Omu Yeka .........................4
Ekisumuluzo 2: Lowooza ku Makubo go.....................................7
Ekisumuluzo 3: Okutegeera nti Katonda ye Byonna mu
Byonna..............................................................................................9
Ekisumuluzo 4: Ky’osiga ky’okungula ........................................11
Ekisumuluzo 5: Okuleeta Ekimu eky’ekkumi n’Ebiweebwayo
eri Katonda ....................................................................................14
Ekisumuluzo 6: Simbawo akati awo ..........................................15
Enkola nga tugenda emu ku emu.......................................................17
Ensonga amakumi abiri kyetuva tukola bye tukola.........................25
Endabirira ..................................................................................................30
Ekisumuluzo 1: Mu Kiseera ...........................................................30
Ekisumuluzo 2: Ku Mutindo Ogwa Waggulu............................31
Ekisumuluzo 3: Nga tetwonoona ...............................................32
Okufundikira ..................................................................................33
Okukola Nnakavundira ..........................................................................34
Okubera n'obutonde by’enjowulo mu nimiro nga tukyusakyusa
ebirime ......................................................................................................39
Okugaziya.................................................................................................42
Ebikozesebwa ..........................................................................................45
Enyanjula
Enima ya Katonda
Okutendeka abavu mu bulamu obujuvu mu Kristo
Olukalu lw’Africa lwe lusinga obuttonde obwensi obulungi mu nsi
yona. Olukalu lwa Africa lulina ebyobugagga eby’omu ttaka,
ng’amayinja ag’omuwendo ennyo, n’amaterekero g’amafuta
amanene ddala ate nga mangi. Omwo mwe tutwalira n’ettaka
ery’okulimirako, n’abantu abalungi n’amazzi amangi ddala mu
nnyanja ne mu migga, awamu n’ensolo ez’enjawulo n’ebimera
eby’enjawulo. Ebyo ebyogeddwako waggulu bisobolera ddala
okufuula olukalu lwa Africa ekifo ekyettanirwa ennyo okukyalirwa
abalambuzi.
Kyokka ekisinga okwewunyisa ennyo, kwe kulaba nga mu Africa mwe
musinga okuba abaavu lunkumpe, n’enjala etaggwa mu bantu,
n’endya embi, n’endwadde, n’entalo ezitaggwa, n’obutali
bwesimbu mu nkozesa y’ebintu mu gavumenti, n’ensonga endala
nnyingi ezisingayo okuba embi.
Mu bantu ba Africa, 85% ku bo balimi ababulijjo, abatalya mere
kukkuta nga ne mbeera mbi. Bangi ku bo be balimi, tebafuna
magoba kuva mu ntuuyo zaabwe. Ekivudde mu ekyo, abalimi
besigama ku buyambi obw’ emere obuva awalala.
Ennima ya Katonda ya ky’amagero nnyo okuva eri Katonda, era
eddamu ebibuuzo bingi ku nsonga z’obutaba na mmere awamu
n’ensonga ey’obwavu mu bantu ababulijjo. Ennima ya Katonda
tekozesa magezi ag’obuzaale gokka, wabula erimu enkola eya
Baibuli ennuŋŋamu awamu n’enkozesa y’obukugu mu kulima,
ebiyinza okuyamba abantu okuva mu mbeera gye balimu
ey’obwavu ne bagaggawala nga bakozesa ebirabo Katonda
by’abawadde. Ekivaamu kwe kufuna obulamu obujjuvu Katonda
bwe yasuubiza.
1
Ebyabaibuli
Endabirira
Obukugu
Okuva mu kukyusibwa kw’omutima okuyita mu Yesu muvaamu
okuzzibwa obuggya mu birowoozo mu ndabirira enungi,
oluvannyuma n’okutandika okukola n’emikono mu kutumbula
omutindo gw’okulima ekileeta obununuzi bw’etaka.
Ennima ya Katonda erina ekkubo ekkakafu eryazuulibwa. Okuva mu
mwaka 1984, Brian Oldrieve yatandika okulima kuno, mu Hinton
Estate mu Zimbabwe ku kibangirizi ekinene, n’oluvannyuma ne
yeeyongera n’atuusa hectare 3500.
Okuva mu nnaku ezo, Ennima ya Katonda yabuna mu nsi nnyingi,
ng’ekozesebwa amakanisa , n’abaminsani, n’ebitongole ebya
nakyeewa. Ennima ya Katonda eri mu nsi eziwerako nga Angola,
Benin, DRC, Ethiopia, Kenya, Lesotho, Madagascar, Malawi,
Mozambique, Namibia, Nigeria, Rwanda, Sierra Leone, South
Africa, Swaziland, Tanzania, Uganda, Zambia, Zimbabwe, n’ensi
endala gye kyakatandika obutandisi mu Africa. Ennima eno
ekozesebwa munsi endala ezitali mu Africa nga Mexico, British
Gayana, Amerika ne mu Bungereza.
2
Ennima ya Katonda kirabo kya buwa ekyaweebwa Ekkanisa ya Kristo.
Ennima ya katonda si Kanisa, si kitongole wabula nkozesa. Era kiriwo
okuyamba abaavu okuva mu mbeera gye balimu. Obwesimbu,
enkola, ne’ntegeka y’Ennima ya Katonda ekolebwa ekibina
ky’abantu abeewaddeyo okukola emirimu gya nakyewa abakugu
era abalina obumanyirivu mu kutendeka abalala.
Ennono ey’obuweereza etali ya bwannannyini ekuumiddwa
ng’ekigendererwa kwe kulaba ng’ekirabo kino kikozesebwa
obutaweera okukyusa obulamu bw’abantu abali mu bwavu.
Ekigambo kya Katonda kigamba nti, “Abantu bange bazikirira
olw’obutamanya.” Tuteekwa okumanya omuwendo g’okuyigiriza
abantu abaavu okuba abeesigwa mu nsonga y’ebyobulimi,
n’oluvannyuma ebyobuggaga ebirala ku lukalu lw’Africa biryoke
bizuulibwe.
3
Ebisumuluzo bya Baibuli
Tewali magezi ga buntu gayinza kumenya kikolimo kya
bwavu ku Lukalu lwa Africa. Ekigambo awamu n’ekikolwa
birina okozesebwa
Ekigambo kya Katonda gwe musingi gwe twetaaga nga tunoonya
amazima mu bulamu bwaffe. Okukyuka okudda eri Katonda kuleeta
okubikkulirwa n’okutangaazibwa, ng’ekikoligo bwe kiviira ddala mu
mwoyo. Bwe tukozesa obukugu nobusobozi bw’omuntu ne tuleka
ekisumuluzo kya baibuli tetusobola kununula bantu kuva mu bwavu.
•
•
•
Koseya 4:1-3
Zabbuli 107:33,34
Yeremiya 23:10b
Mu kitundu kino, ebisumuluzo mukaaga bijja kubikkula ebyama
ebireetedde olukalu lw’Africa okusibibwa mu kikolomo kyo bwavu
n’okubikula ekyo kudamu kya Katonda mu kukutula ekikoligo kino.
Ekisumuluzo 1: Okwatula Katonda omu yeka
Ekizibu:
Abantu mu Africa balina ekikoligo ekyabasiba mu bulogo
n’okulaguza. Abalaguzi n’abafuusa bali mu bungi mu byalo, era
beebuuzibwako ku nsonga nnyingi ddala, gamba ng’okuzaala,
ebizibu mu maka, okulwala, n’abaana okukula, okukomolebwa,
okukola embaga, no’okwabya olumbe. Abalaguzi baleetebwa
okusabira ettaka nti libale ebibala bingi ddala. Egimu ku mikolo gye
bakola kwe kusaddaaka enkoko, n’okumansira omusaayi gw’ensolo,
n’okusaasaanya amagumba, n’okumansira amazzi nga bawonga
ettaka, n’okussa obuwanga bw’ensolo mu buli nsonda z’ettaka.
4
Okusinza emyoyo gy’abajjajja kwe kwenyigira mu kusaamu ekitiibwa
abaafa edda nga bassaddaaka, nga bakola obulombolombo,
n’okukuba ebirayiro. Okusamira kuno tekukolebwa lwa kwagala
wabula mu kutya n’ensisi.
•
•
•
•
•
•
Isaaya 8:19-22
Ebyabaleevi 19:31
Ekyamateeka 18:10
Ekyamateeka 5:7,8
Matayo 6:24
Zabbuli 24:3
Ekyokuddamu:
Waliwo Katonda omu yekka omutuufu, era tujja gy’ali okuyita mu
mwana we Yesu Kristo, eyafa ku musaalaba ku lwaffe, tufune ekirabo
eky’obulamu obutaggwaawo, nga kyabuwa. Kaakano tetukyali mu
nkola ey’edda ey’ebyobuwangwa ey’ensi eno, naye twafuulibwa
ab’omu nnyumba ye, era tulina omukisa okumanya Katonda nga
Kitaffe.
Tulina okudda eri Katonda, tumusinze ye yekka mu buli kintu
eky’obulamu bwaffe, sso ssi ku lunaku olwa Sande lwokka. Katonda
tasekererwa.
Engero 3:5,6: “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So
teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: Mwatulenga mu
makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo”
Ekyawandiikibwa kino kituluŋŋamya mu buwanguzi.
Weesige Mukama n’omutima gwo gwonna:
Gwe tulinamu obwesige, gwe twebuuzaako.
Teweesigamanga ku kutegeera kwo:
Yesu yatuukiriza ekyo kyonna kye yasobola, ssi ku lulwe naye ku lwa
Kitaawe. Kitaawe yamulaga eky’okukola, era n’akikola ate n’akikola
bulungi ddala.
•
•
•
Yokaana 8:28
Yokaana 8:38
Yokaana 5:19
5
Obulamu bwaffe nga bwandibadde bwa kitiibwa, ssinga tutuukiriza
ekyo ky’Ayagala mu ffe.
Mwatulenga mu makubo go gonna:
Mu makubo go gonna kyekitegeereza ddala: mu buli ngeri; mu
mirimu, mu bigambo, mu bikolwa, ne mu birowoozo. Ekyo kitegeeza
nti tumanyi nga ye Katonda mu kuzaalibwa kwaffe, mu kukula
kwaffe, mu mbaga zaffe, mu kufiirwa, mu kuwonyezebwa, mu
kuteekateeka ennimiro, enkuba ne bw’ettonya, mu makungula ne
mu buli kintu kyonna.
Ajja kufuula amakubo gaffe amagolokofu:
Mu lukalu lwa Africa twetaagira ddala Mukama okutereeza
amakubo gaffe agaakyamira ddala okuva ku suubi elitalina
gyebitutwala okumala ebanga lino lyona. Katonda
bw’anaagatereeza tujja kuluŋŋamizibwa mu bulamu bwe
yatusuubiza obujjuvu.
•
•
Ekyamateeka 8:18
Ekyamateeka 7:13-15
Ssinga tukkiriza nti kino kye kiseera kya Africa, olwo nno tulina
okumenya ebifo ebigulumivu byonna eby’obujjajja ebisinzibwako
n’ebisinzibwamu ne eby’obuwangwa eby’obusamize
ebitukuumidde mu busibe. Olwo nno tulyoke tujje eri Mukama
n’emikono emirongoofu, n’emitima emirongoofu okusinza ye yekka,
mu Mwoyo ne mu mazima.
6
Ekisumuluzo 2: Lowooza ku makubo go
Ekizibu:
Yeekaalu z’obulamu bwaffe matongo kubanga tuweereza okufuba
kwaffe nga twefaako ffekka, mu makubo agataliiko kigendererwa
nga tetutambulira mu makubo ga Katonda. Ssinga ffe ng’abaana ba
Katonda, tuli yeekaalu ya Katonda nga bwe yayogera, olwo
embeera ya yeekaalu eba efumitirizibwako.
Tuteekwa okulowooza ku makubo gaffe!
Kaggayi 1:2-11 Lowooza amakubo go. Yeekaalu yange erekeddwa
awo.
Ebyokulabirako ebimu ku bikolimo bye tulina olw’okubanga
amakubo gaffe tegakwatagana na ga Katonda:
a) Ekikolimo ky’okuyiwa omusaayi n’okutyooboola eddembe
ly’obuntu
• Olugero lwa Kayini ne Aberi
• Ebyokulabirako bingi mu Africa
• Isaaya 59:3
b) Ekikolimo eky’Obutawangaala
Mu Zambia, Zimbabwe, Malawi ne Mozambique, omuntu owaabulijjo
awangaala wansi w’emyaka 37.
• Zabbuli 34:12
• 1 Abassesalonika 4:3
• Abaruumi 6:23
c) Ekikolimo ky’ettaka obutabala bulungi (amakungula matono)
Bwe tusoma mu Kaggayi, tulaba nga Katonda y’alina obuyinza
okutonnyesa enkuba oba obutagitonnyesa, era nga y’alina
n’obuyinza okumerusa ebibala okuva mu ttaka.
7
Ekyokuddamu: Okuzza obujja yeekaalu
Mu kufuba kwaffe okuzuula ekyokudamu kya Katonda eri ebibuuzo
byaffe byamanyi, ng’obwavu obutwetoolodde, tutandika
n’okulowooza ku makubo gaffe kubanga tuli yeekaalu ya Katonda
Omulamu.
Tuyinza obutasobola kukyusa ggwanga lyaffe, naye buli omu ayinza
okulowooza ku makubo ge, ne tukyusa obulamu bwaffe
n’oluvannyuma ne tuleetera n’abalala ab’omu maka gaffe n’abo
abatwetoolodde okukyusa amakubo gaabwe. Ekyo kiyinza
okuleetawo enjawulo ennene ennyo.
•
•
•
•
1 Peetero 2:5
Kaggayi 2:18-19
1 Abassesalonika 2:12
2 Abakkolinso 6:16
Kale ffe ng’abaana ba Katonda tweweeyo okuddamu okuzimba
yeekaalu ya Katonda mu bulamu bwaffe, nga tulowooza ku makubo
gaffe, era tutereera mu makubo ga Katonda, sso ssi mu mwoyo
kyokka, wabula mu birowoozo ne mu mubiri.
8
Ekisumuluzo 3: Okutegeera nti Katonda ye byonna mu
byonna
Ekizibu:
Endwadde y’okusaba obuyambi olutatadde kyatandika emyaka
emingi egiyise nga ebintu bya’bweerere bigabibwa naye omuze
gwokusabiriza gweyongera bweyongezi buli mwaka. Tewali ngeri
yonna olukalu lwa Africa weyinza kuzuula maanyi gaayo yokka,
okuggyako ng’abantu aba Africa bennyini be bagazudde.
Issaya 58 etujjukiza okusiiba okutuufu, n’okusumululwa, n’okuggyawo
awamu n’okumenya ekikoligo ekyo. Ekimu ku bisiba eby’amaanyi
eby’ekikoligo kino kwe kusaba obuyambi olutatadde.
Okuva ku kutondebwa kw’omuntu, agezezaako okwetengerera
yebeezeewo yekka, ng’akola ebintu mu ngeri ye, nga yeesiga
amagezi ge, okusinga okugoberera amagezi ga Mukama. Ekyo
kireetedde omuntu okugwa mu ngeri nnyingi.
Ekyokuddamu: Okumanya nti Katonda Amala mu Byonna
Mu nnima ya Katonda tetuwagira nkola ya kwemalirira, naye
tusanyukira okumalibwa kwa Katonda mu byonna ekitutuusa ku
kukola amagoba.
Ye nsibuko ya buli kintu kyonna era mu ye mwe tufuna
okweyongerako. Okumalibwa kwa Katonda mu byonna tekuggwa,
era tewali kigero kubiva mu tterekero lye.
•
2 Abakkolinso 9:8
Obuwanguzi bujja nga twenenyezza okwesigama ku muntu, nga
naffe ffenyini mwe twetwalidde, bwe tuva ku malala, twewombeeka,
ne twatula nti Ye nsibuko ya buli kintu kyonna kye twetaaga.
Twetaaga okuzibula amaaso gaffe tulabe ekituli mu maaso.
Okutegera okumala kwa Katonda kimenyawo ekikoligo
kyokwesigama ku bantu.
• 2 Ebyomumirembe 14:11
9
Okumala Kwa Katonda mu ggwe
• Ekyamateeka 8:18
Okumala kwa Katonda mu by’obulimi
• Olubereberye 2:15
Okumala kwa Katonda mu by’ettaka
Ettaka lyatuwebwa Katonda okulilabirira n’okulirima. Ssi lyaffe, lilye.
• 1 Abakkolinso 10:26
• Ebyabaleevi 25:23
Okumala kwa Katonda ku Nsigo
Katonda bwe yatonda ebimera, yabitonda nga biyinza okuzaala
ensigo yabyo.
Ensigo ezikyusiddwamu n’eziri mu buttonde bwazo
• Olubereberye 1:11-13
Okumala kwa Katonda ku bulangiti ya Katonda
Bulangiti ya Katonda oba ekibikka kya Katonda kyekimu ku bintu bya
Katonda ku bugabirizi bwe ebyewuunyisa ebireeta amagoba
amangi ddala era ag’omuwendo. Laba ensonga 20 mu maaso eyo
lwaki tukola bye tukola.
Okumala kwa Katonda ku bigyimusa:
(Obusa, Ettaka ly’ekiswa, Nnakavundira)
Okusobola okufuna amakungula amalungi, tuteekwa okukozesa
ebyo by’ebitulina okumpi.
Okumala kwa Katonda mu bikozesebwa
Mu kitabo ky’Okuva 4:2 Katonda abuuza Musa ekibuuzo: “Kikiky’olina
mu ngalo zo?” Musa n’addamu nti, “Muggo.”
Kiki kyetulina mu ngalo zaffe, okusobola okumenyawo ekikoligo
ky’obwavu, n’enjala eri ku lukalu lw’Africa?
Ekyokuddamu ye “Enkumbi.”
Okumalibwa kwa Katonda ku by’enkuba n’okwongeza: amakungula
Mu bugabirizi bwe, Katonda awa abaana be omukisa, era mu kyo,
n’ameza ensigo, era n’ayongeza amakungula.
10
Ekisumuluzo 4: Ky’osiga ky’okungula
Ekizibu:
Abantu bangi babeera mu bitundu ebitalina mukisa gwa
kulaakulana n’akatono. Abantu ab’engeri eyo beeweereddeyo
ddala okubeera n’akatono ako ke balina, olw’okubanga balina kye
balya nga tebateganye n’akatono ate nga kya bwereere. Bamativu
kubanga bamanyi nga waliwo ajja okubawa kyebeetaaga mu
biseera we bakyetaagira. Bwe tuneeyongera okwesigama ku muntu
obuntu, tujja kusendasenda abaavu okutunuulira ensibuko gye
balowooza nti mwe muva obugagga, omuntu ssonga tuteekwa
kwesiga Katonda yekka.
•
2 Abasessalonika 3:10 “Omuntu yenna bw’aganaanga
okukola emirimu, n’okulya talyanga.”
Okukola ssi kikolimo, wabula kya mukisa. Abantu abaavu abasinga
balina ettaka mu byalo byabwe lye batalina kye balikoleramu.
Africa emanyiddwa ng’ekibya ekisabiriza mu nsi yonna, kyokka
Katonda ayinza okukyusa embeera eyo, okuva mu mbeera
ey’ekibya ekisabiriza n’efuuka ekibbo ky’emmere.
Enkola ya Katonda eri nti abantu bakulaakulane okusinziira ku nnono
ze. Olwo nno balyoke baweerwe empeera mu bye basiga ne mu
bye bakungula, ne mu kubeera abeesigwa n’ebyo bye
baweereddwa.
Ekyokuddamu: Tuteekwa Okugaba Tulyoke Tuweebwe
Bwe tutegeera nti Katonda ye nsibuko y’ebintu byonna era nti ye
byonna mu byonna era nti atumala mu byonna, tutandika okulaba
okugaba nga kye kyokudamu ku kizibu kyo bwavu.
•
Ebikolwa 20:35 “Okugaba kwa mukisa okusinga okutoola.”
11
Okukyusa okuva mu ndowooza ey’okuweebwa ne tufuna
endowooza ey’okugaba kirina kinene kye kikola ku bulamu
bw’omuntu. Kituuka ne mu mawanga nga tubuulira enjiri ya Yesu
Kristo.
•
•
Lukka 6:38
Engero 28:19
Mu kulima tewali kyakulabirako kisinga ku nnono eyo mwe tugaba
buli kiseera n’okusiga ne tusiga tulyoke tufune amakungula. Tuteekwa
okusiga ensigo, ne tuteekamu ebijimusa, ne tukola n’amaanyi, ne
tuteekamu ebiseera, ne tulabirira emirimu gyaffe awamu
n’okuteekamu ensimbi.
Tetuyinza kuba nga buli kiseera tuggyamu buggya kyokka nga
tetulina kyetuteekamu. Baibuli egamba nti kyetusiga kyetukungula.
0X0 = 0, 0X100 = 0. Bwe tutasaamu bijimusa mu binnya 22,222, era
tetubaaako ne kyetufuna. Bw’otobaako ky’oteeka mu ttaka
eddungi, era tobaako ky’okungula
Engeri omuntu gy’ayinza okusigamu:
Ssiga mu Bungi
2 Abakkolinso 9:6 “Naye kye njogedde kino nti Asiga entono,
alikungula ntono; era asiga ennyingi, alikungula nnyingi.”
Ssiga na Magezzi
Mu bifo ebisinga mu Africa, ensonga enkulu ssi ya kubulwa kya kukola
oba okwesaasira, ereetera abantu okuba abaavu, wabula ssonga
ya butamanya.
•
Koseya 4:6 “ Abantu bange bazikiridde olw’okubulwa
okumanya.”
Ssiga n’Obwesigwa
Ekyama ekiri mu nnima ya Katonda kye kyama ky’okutandika mu
ngeri entono n’obeera omwesigwa mu kitono ekyo.
•
Lukka 16:10 “Aba omwesigwa ku kintu ekitono ennyo, ne ku
kinene aba mwesigwa;”
12
Ssiga n’essanyu
Endowooza gye tuba nayo nga tugaba nkulu nnyo.
•
•
2 Abakkolinso 9:7
Nekkemiya 8:10b
Okusooka byonna essanyu lyaffe lisibuka mu Mukama waffe, kyokka
essanyu eryo liteekwa okubuna mu buli kanyomero k’obulamu
bwaffe, awamu ne muu mirimu gy’emikono gyaffe.
13
Ekisumuluzo 5: Okuleeta Ekimu eky’ekkumi n’ebiweebwayo
eri Katonda
Bwe tulowooza ku mbala ya Katonda, n’obuyinza bwe, n’ebintu
byonna okuba ebibye, kisoboka kitya okumunyaga? Mu
byawandiikibwa mu Malaki 3, tunyaga Katonda bwe tutawaayo
ekimu eky’ekkumi kyaffe n’ebiweebwayo byaffe gy’ali.
ekyawandiikibwa kino kyawandiikirwa abalimi n’olw’embeera
y’omutima gw’abantu mu biro ebyo, era ekyo kirina kinene kye kikola
ku byobulimi.
•
Malaki 3:7-12
Newaakubadde ng’ekimu eky’ekkumi kiweebwayo mu kkanisa oba
ku nsonga endala yonna omuntu gy’aba ayitiddwa okuggiwa, kiba
kuddiza Katonda. Eky’amazima Katonda teyeetaaga bugagga
bwaffe, wabula kimulaga omutima gwaffe bwe guyimiridde mu
kumutegeera bwe tumuddiza nga bwe kitugwanidde.
•
Matayo 6:21
Ne bwe tuwaayo ekitono ennyo nga nnamwandu bwe yakola, oba
ne bwe tuwaayo obukadde bwa dola omwezi, ekyo tekikyusa
Katonda ky’ali. Amanyi kye tulina ne ndowooza gye tuba nayo nga
tumuddiza. Emirundi egisinga obungi bwe tuwaayo ekitono ng’ekya
nnamwandu, kyamuwendo okusinga obukadde bwa dola ze
tuwaayo mu nnyumba ya Mukama. Mukama amanyi embeera
y’emitima gyaffe nga tetunnaba na kuwaayo, era atugabirira
okusinzira ku mbeera y’omutima gwaffe, sso ssi ku muwendo gwe
tuwaddeyo.
Ekyewunyisa mu kuddiza Katonda kwe kumanya nti ffe tufunamu.
Tekyatekebwawo lwa kugyuza terekero naye okuwa omukisa oyo
awayo.Addiza Katonda aganyulwa mu ngeri ssatu:
1) Katonda atusuubiza nga bw’ajja okuggulawo enzigi z’eggulu
atuyiweko omukisa gwe okutuuka ne ku muyiika. Ngero 3:9
14
2) Katonda yennyini ajja kunenya omulabe, aleme okusaanyaawo
ebibala by’ettaka…
3) Katonda ajja kuleetera amawanga gonna okuyita aweereddwa
omukisa kubanga ojja kuganja mu maaso ge.
Okuddiza Mukama kumuwa kitiibwa n’okwatula mu ngeri ffe
ng’abantu gye tutayinza kutegeera. Okuddiza Mukama kituwaliriza
obuteelowoozaako ffekka na ffekka, era lwe lugendo lwe tutandika
okutambula mu kweweerayo ddala gy’ali, nga tusoosezza
Obwakabaka bwe.
Ekisumuluzo 6: Simbawo akati awo
Tulina okussa Katonda mu nsonga zonna ez’obulamu bwaffe, omwo
nga mwe muli ennimiro zaffe.Tuteekwa okununula ettaka lyaffe, ate
ng’ekyo kiyina okukolebwa bwe tutegeera nti tusinza ebifaananyi,
tusamira, era tuyiwa n’omusaayi ogutaliiko musango, n’engeri
endala ezituletede okubeera wansi w’ekikolimo.
•
Yakobo 5:16 “Okusaba kw’omuntu omutuukirivu kuyinza nnyo
mu kukola kwakwo.”
•
Engero 15:29 “Mukama aba wala ababi: naye awulira
okusaba kw’abatuukirivu.”
•
2 Ebyomumirembe 7:14 “Abantu bange abatumiddwa
erinnya lyange bwe baneetoowazanga ne basaba ne
banoonya amaaso gange ne bakyuka okuleka amakubo
gaabwe amabi; kale naawuliranga nga nsinziira mu ggulu ne
nsonyiwa okwonoona kwabwe ne mponya ensi yaabwe”
Ng’abantu abafuulibbwa abatuukirivu ba Katonda mu Yesu Kristo,
tuteekwa okusaba nga tukkiriza Katonda olw’ekigambo kye
n’olw’ebisuubizo bye, ennimiro zaffe n’ebyalo kwe tubeera biryoke
birabe omukisa.
15
Tusimbawo akati awo ng’abaana ba Katonda, nga tuteeka Yesu mu
buli nsonga ey’obulamu bwaffe. Yesu yatuyigiiza okusaba ng
‘atugamba nti, “… Obwakabaka bwo bujje, by’oyagala bikolebwe
mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu….”
Tusimbatutya akati (Tukyusa tutya okwatula kwafe)
•
•
•
•
•
•
Obwetoowaze (Yakobo 4:10) Okwetowaza kyekisooka
OKunoonya Mukama sso ssi Ebyamagero bye
(Ekyamateeka 4:29)
Okwatula ebibi n’Okubyenenya
Ssaba oliweebwa (Matayo 7:7 ne Yakobo 4:2)
Okusaba
Okuyimirira mu bwesimbu (Abaefeso 6:10 ne Abaruumi 8:37)
Katonda ali ku lwaffe, sso tatulwanyisa, era ayagala ennimiro zaffe
ziwebwe omukisa. Tweddize ekyo omulabe kye yatunyagako.
16
Enkola nga tugenda emu ku emu
Ekitundu kino kinnyonnyola enkola egobererwa emu ku emu gye
tugoberera okusobola okuteeka mu nkola n’okutuukiriza obulungi
Okulima mungeri ya Katonda ku ttaka lyo.
1) Ebyetaagisa
• Omuguwa
Omuguwa gukozesebwa okupima okulaba ng’ebimera biri mu
kigero kitufu. Ffuna omuguwa omuwanvu (tosuusa mita 50)
omugumu, nga tegunanuuka, ogwakolebwa mu nylon, oba
waya (wire) eŋŋumu ng’erina ennyingo. Ttema akati aka
sentimita nkaaga (60cm) okupima ng’olamba ku muguwa ogwo.
N’oluvannyuma osibe empulutulizo oluuyi n’oluuyi olw’omuguwa.
Empulutilizo emu ogisibe ku nkondo emu ku luuyi olumu,
n’empulutilizo eyookubiri ogisibe ku luuyi olulala, ng’omuguwa
oguleeze. N’oluvannyuma amabanga gali aga sentimita
enkaaga (60cm) ogasseeko obukyokolo. Kitegeeza nti
obukyokolo bujja kuba sentimita nkaaga (60cm) akamu ku ka
nnaako.
• Enkumbi
• Ebikopo ebipima
• Obuti obupima – 60cm ne 75cm
• Ebigimusa, oba nnakavundira, oba ettaka ly’ekiswa, oba
ekigimusa ky’amadduka
• Ensigo
• Akagiiko ka kyayi (ml5)
• Ekigiiko ekiwuuta ssupu (ml10)
• Ekikopo ekipima mililita 350 (ml350)
2) Okuteekateeka ettaka
• Ttandika okweteekerateekera okusimba ng’ebulayo emyezi ebiri
okusiga kulyoke kutandike
• Kkola kitono kyokka buli kintu ng’okikola ku mutindo ogwa
waggulu ddala. Ebigimusa by’olina bye biba bikuyamba
okuteekateeka ekifo w’onoosimba. Teekateeka ekifo okusinzira
ku bungi bw’ebigimusa by’olina.
• Totema mavunike.
• Toyokya bulangiti ya Katonda wadde okugyibikira mu taka.
17
•
•
Bw’oba ng’otandika okulima awantu awapya, ggyamu
enkonge, n’otereezeewo.
Ettaka bwe libaamu omuddo mungi, guwale buwazi, gufuuke
ebulangiti ya Katonda.
3) Tekawo empagi w’otandikira ez’enkalakkalira
• Ttandikira waggulu w’ennimiro.
• Tteeka omuguwa gwe wapimyeko sentimita enkaaga enkaaga
obukiika obwakaserengeto.
• Ppima diguli kyenda (ensonda entufu - 90 degrees) wakati
w’ensalo y’ennimiro yo oba ekkubo n’omuguwa guli ogwasoose.
(ensonda entuufu).-p
• Tteeka enkondo bbiri waggulu w’ennimiro.
• Ddira olupapula oteeke akati aka sentimita enkaaga (60cm) ku
ango eya diguli kyenda n’akati aka sentimita ensanvu mu
etaano (75cm).
4) Okusima ebinnya
Kasooli:
• Amabanga: sentimita nkaaga (cm 60) obugazi okuva ekinnya
ekimu okutuuka ku kinnya ekirala
• Obugazi bw’ekinnya: tukozesa obugazi bw’enkumbi sentimita
kkumi na bbiri (cm 12)
• Obuwanvu bw’ekinnya: sentimita kkumi na ttaano (cm 15) nga
tuteekamu ebigimusa ebyo butoonde.
• Obuwanvu bw’ekinnya: sentimita munaana (cm 8) nga
tuteekamu ebigimusa ebyamadduka nga DAP fertilizer.
• Ekinnya okisima otunudde ekyengulu ettaka ne liyiika
ekyemmanga.
18
Ekinya ky'okusimbamu
Enkumbi
ettaka ligenda
wansi wa kinya
Akaserengeto
Obuwanvu bwa kinya
cm15: ekigimusa ky'obutonde
cm8: ekigimusa ky'amadduka
•
•
•
Tteeka omuguwa ogwa sentimita enkaaga (60cm) ku lunyiriri
oluddirira, ng’odda ekyemmanga ng’okozesa akati aka sentimita
ensanvu mu etaano (75cm) okupima amabanga amatuufu.
Ssima ebinnya mu luniyiriri olwokubiri nga bwe wakoze waggulu,
era okole ekintu kye kimu ku lunyiriri oluddirira ng’okozesa obuti
buli obwa 60cm ne 75cm.
Ddira enkondo ez’eby’ebyuma oba eŋŋumu ddala oziteeke buli
nnyiriri kkumi oba amakumi abiri, okutegeerera ddala ennyiriri we
ziri.
Ebimera eby’ebika ebirala ng’ebijanjalo:
• Olw’okuba ng’ennyiriri nfunda nnyo, tetusima binnya, tusima
nsalosalo era omwo mwe tusimba.
• Omuguwa oguteeka ku lunyiriri, kyokka mu kifo ky’okuguteeka ku
binnya ebya sentimita enkaaga, tusima olusalosalo lwa sentimita
munaana (8cm) okukka wansi nga tudda ekyemmanga
w’ennimiro.
• Kebera mu’ndagiriro y’ensimba ey’ebimera
19
Enkondo
eyoluberera
esooka
Ntekateka y'ebinya n'ensalosalo
Omuguwa gwosimbirako (ebanga lya sentemita60)
Enkondo eyoluberera
eyokubiri
ekipapula oba ekitabo
Akati ka sentemita75
Akaserengeto
Ekinya
Etakka libera wansi wa kinya
75cm wakati wa lunyriri
Akati ka sentemita75
Enyiriri zikirira akaserengeto
75cm wakati wa lunyriri
Akati ka sentemita75
Akati ka sentemita75
Ebijanjalo, kawo, omuwemba n'obulo bigenda mu lusalosalo
Enkondo
Enkondo
etakka libera wansi wa lusalosalo
Omuguwa oguserengeta
5) Okukendeza okukaawa kw’ettaka
• Mu bifo enkuba gy’etera okutonnya ennyingi, ettaka erimyufu
liba likaawa era liziyiza ebimera okufuna ebyomugaso bye
byetaaga okubikuza.
• Layimu ow’ebirime ayamba okukendeeza okukaawa okwo, era
ekyo ne kiyamba ebyomugaso okuyingira obulungi mu mirandira
gy’ebirime.
• Ddira akajiiko akatono akajjudde obulungi layimu (ml 5) okayiwe
mu buli kinnya.
• Okyayinza okukozesa evvu; tekamu ekijiiko ekiwuta supu nga
kijjudde bulunji oba tabulamu ensawo biri mu’ntumo ya
nakavundira.
6) Ebigimusa
Ebika bibiri: ebyobutonde n’ebitali byabutonde.
•
•
•
•
Ebyobutonde
Nnakavundira, obusa, oba ettaka ly’ekiswa.
Okozese ekikopo ekya ml350 oba omukebe ogw’ekipimo kye
kimu.
Oyiwe mu kinnya kyenkanyi.
Singa tukozessa obusa tufuna taani 3-5 ya kasooli buli hekiteya
(Ha 1= yika 2.5), taani 2-5 nga tukozesa nakavundira, taani 1-3
nga tukozesa etaka ely’ekiswa.
20
•
•
•
•
•
•
•
•
•
Muu kusimba ebijanjalo, ddira ebigimusa ml 350 oteeke mu
lusalosalo oluvannyuma lwa buli sentimita nkaaga (cm 60).Buli
kikopo kimala sentemita 60.
Bwe guba omuwemba oba obulo, buuka amabanga ga mita
emu (m1) mu kifo kya sentimita enkaaga mu lusalosalo.
Ebitali byabutonde (Eby’amadduka)
Ebika bibiri: eby’omu kinnya nga tonnasimba, ne by’oteekako
ng’ekimera kikula.
Ku by’omu kinnya kwe kuli DAP oba NPK.
Eby’omu kinnya biteekebwa ku ntobo y’ekinnya.
Okufuna amakungula amalungi ddala tuteeka 12ml oba ekijiko
kiwuta supu ekijjudde DAP ku ntobo y’ekinnya.
Bwe biba ebijanjalo tuteeka akajiiko akajjudde (5ml) DAP mu
lusalosalo mu mabanga aga sentimita nkaaga (60cm).
Ebika By’ombi
Bwe tumala okusaamu ebigimusa, tubikkako ettaka lya sentimita
nga ssatu. Singa tulimukusimba kasooli tulekawo ebanga erya
sentemita 5 ku mutwe gwe kinya; tulekawo ebanga erya
sentimita 3 ku mutwe gwo lusalosalo bwe tuba tusimba bijanjalo.
N’oluvannyuma tulindirira enkuba ewere bulungi.
7) Okusiga
• Ennimiro eteekwa okuba entegeke ng’ekyabulayo wiki nga ssatu
tulyoke tusige. Mu Uganda tutera okusiga mu mwezi ogwa
Mugulansigo (Omwezi gw’okusatu) ne mu Mutunda (Omwezi
Ogwo’mwenda).
• Ekisinga kwe kukozesa ensigo ezobutonde kubanga zidamu ne
zisimbibwa.
• (Kasooli) Tuteeka ensigo ssatu mu buli kinnya, kyokka ne tuggyako
embala emu ne tusigaza bbiri mu buli kinnya
• Ensigo tuzisiga mu lunyiriri wansi mu kinnya.
• Obuwanvu ki ensigo bwelina okutula mu kinnya: kasoli 5cm,
ebijanjalos 3cm, engano 2cm.
• Bwe tusimba ebijanjalo, buli nsigo tugissa sentimita kkumi okuva
ku ginnaayo mu lusalosalo.
• N’oluvannyuma tubikkako bulungi ettaka erimulunguse obulungi
kyokka ng’ettaka eryo teririimu bifunfugu wadde amayinja
newaakubadde bulangiti ya Katonda.
21
•
Ekyo bwe kiggwa, tubikkako bulangiti ya Katonda okubuna
ennimiro yonna.
Ggenderera kino: Ensigo entono ng’eza kaloti, ne dodo,
tetuzibikkako bulangiti ya Katonda okutuusa ng’embala
zivuddeyo bulungi.
8) Okukoola Omuddo
• Omuddo gukendeza kinene nnyo ku makungula, kubanga
gulwana n’ebibala ku kufuna ammazi, ebigimusa, ekitangala
n’ebanga.
• Koola nga omudo gukyali mumpi. Hecta emu (Yika 2.5) esobola
okukoolebwa mu naku musanvu ommudo bwe guba gukyali
wansi wa nyingo emu. Naye bwolinda omudo ne gutuka ku futi
emu kigya kukutwalira wiki biri okukoola.
• Bwoba omaze okukoola omudo guba guzewo munaku kumi.
Kino kitegeza nti bwotandika ngomudo guli ku nyingo emu oba
olina enaku satu okuwumula. Naye bwolinda omudo ne guweza
futi emu toli gumala.
• Tukoola nga tudda kyennyumannyuma, nga tuwalabuwazi.
• Omuddo ogulanda gwetaaga kukuulamu bukuuzi ne gusulibwa
wabweru wenimiro. Oba ne tugufuyira ne ddagala nga tewali
ndokwa mu nimiro.
• Tokkiriza muddo kuzalira nsigo mu nnimiro yo.
9) Okutoola ku mbala (Okutira)
• Tutoola ku mbala (okutira) oluvannyuma lwa wiki ssatu nga
zivuddeyo mu ttaka, nga ziri okuva ku sentimita 20 okutuuka ku
sentimita 30 obuwanvu.
• Tutoolako nga tugeerageeranya mbala biri mu buli kinya.
Tutunuulira ebinnya bisatu, sso ssi kimu, ne tulyoka tukendeeza
embala ne ziba mukaaga buli binnya bisatubisatu:
22
Gyamu ekimera ekinafu oba ekya wakati singa ebisatu byona
bimera mu kinya kimu
Gyamu ekya wakati
gyamu ekinafu
gyamu ekinafu
Ebimeze ebissatu bileke nga ekimu kimeze mu kinya ekiddako
nga nebibiri bimeze mukinya ekidako, nga mu binya bisatu
ofunamu ebimera mukaaga
Ebimera musanvu mu binya bisatu, gyamu kimu mu kinya ekirimu
ebisatu
Gyamu ekinafu oba ekya wakati
10) Ekigimusa ekiteekebwa ku ngulu kwetaka nga sambye kasoli
• Okufuna ekisingirayo ddala okuba ekirungi, kyetaaga okussaako
ekigimusa ekya Ammonium Nitrate (AN) oba Urea emirundi ebiri:
Mu kusooka tussaako nga wayiseewo wkiki bbiri oba ssatu
ng’embala kye zijje ziveeyo:
• Tukozesa akajiko aka 8ml
• Tusssa ekyengulu sentimita musanvu okuva ku kikolo
Ku mulundi ogwokubiri tusaako nga anatera okumulisa:
• Tukozesa akajiko aka 5ml
• Tussa ekyengulu sentimita kkumi okuva ku kikolo
23
11) Okukoola nga tunatera okukungula
• Ebikoola bya kasooli nga bitandika okukala, ekitangaala kiyitamu
ne kituuka wansi, ekyo ne kireetera omuddo omutono okukula.
• Tuddamu ne tukoola omulundi ogusembayo mu kiseera kino,
okulaba ng’ennimiro yaffe tebaamu muddo. Omuddo
ogw’omwaka guno guleetera ebimera eby’omwaka ogujja
obutakula bulungi.
12) Okumenyako oluyange
• Kasooli ng’akulidde ddala bulungi, tutemako oluyange, kasooli
akale mangu. Bye tutemyeko tubisuula muu nnimiro omwo
mwennyini, ne tubikozesa nga bulangiti ya Katonda (Okubikka).
13) Okukungula
• Twetaaga okukungula kasooli ng’akulidde ddala bulungi, gamba
ng’oluvannyuma lw’emyezi ebiri ngoluyange lufulumye,
ng’amazze okubunduka. Mu kiseera ekyo kasooli aba akyalimu
nga bitundu amakumi asatu ku kikumi eby’amazzi (30%).
• Eminwe giteekwa okwongera okukalira mu kifo kasooli
mw’aterekeddwa obulungi okutuusa ng’amazzi kumpi
gaweereddemu ddala (13%).
14) Okusamba ebikolo ng’okukungula kuwedde
• Tukisamba ne kimenyekera wansi ne kigwa mu lunyiriri.
• Kyongera ku bulangiti ya Katonda ne kikendeza ku mudo.
• Zindiwulira eziba zasigala mu kikolo zifa.
24
Ensonga amakumi abiri kyetuva tukola bye
tukola
Ebiyimirirwako mu kulima mungeri ya Katonda…
Toyokya newaakubadde okubikka bulangiti ya Katonda mu
ttaka; totema amavunike, Tosimba ensigo emu mu kifo
kimu buli sizoni
Toyokya…..
Bulangiti ya Katonda oba okubikka kulina amaanyi agatagambika,
mu kutuukiriza ebisuubizo bya Katonda mu nnimiro zaffe. Kikamyawo
obutonde bwe taka olwo etaka ne liryoka liwona.
Totema amavunike…..
Mu biro bya Baibuli, abantu balimisanga ebifumu obutatankulanga
ttaka, kyokka nga lisigala ligonvu, obutaka wansi, era omwo nga
mwe basiga.
Tosimba ensigo emu mu kifo kimu buli sizoni…..
Ekyo kiyamba ettaka okusigala nga likyali ggimu era nga n’ebirime
nabyo bifuna bye bisinga okwetaaga okuva mu lyo.
Emigaso gy’okulima ngeri ya Katonda gyogerebwako wansi:
Ebifunibwamu ebyawamu
1) Obutafiirwa mazzi
Mu nnima eya bulijjo: ebitundu kyenda ku kikumi (90%)
eby’amazzi ge gakulukuta ng’enkuba ettonye, ne gatayingira
mu ttaka.
Mu kulima ngeri ya Katonda: ebitundu mukaaga ku kikumi (6%)
byokka eby’amazzi ge gakulukuta ng’enkuba ettonye
25
2) Ettaka eritwalibwa mukoka ttono
Mu nnima eya bulijjo: obuzito bwa ttani 55 -250 ez’ettaka ze
tufiirwa okuva ku buli hectare buli mwaka mu Africa.
Mu kulima mungeri ya Katonda: ettaka ttono nnyo eritwalibwa
mukoka okuva ku buli hectare buli mwaka.
3) Okusobozesa amazzi okuyingira mu ttaka
Mu nnima eya bulijjo: enkuba buli bw’ettonya, amatondo
g’enkuba, gakola ekifunfugu, era n’ekivaamu mu ekyo, 10% ku
mazzi g’enkuba ge gayingira mu ttaka.
Mu kulima mungeri ya Katonda: Bulangiti ya Katonda ekuuma
ettaka nga ggonvu, amatondo ago ne gatakola ekifunfugu, 94%
ku mazzi ng’enkuba ge gayingira mu ttaka.
4) Okukendeeza okufuumuka kw’amazzi
Mu nnima eya bulijjo: 10% ku mazzi ag’omu ttaka ge gafuumuka
okuva mu ttaka, olw’okufula ettaka. Ekyo kiretera ettaka
okubuguumirira ennyo n’ekivaamu, kwe kufuumuka kw’amazzi
ago.
Mu kulima ngeri ya Katonda: Bulangiti ya Katonda ebikka ettaka,
ne girikuuma nga goonvu era nga n’amazzi tegafuumuka.
5) Obunnyogovu mu ttaka buyamba nnyo mu kukuuza endokwa
Mu kulima mungeri ya Katonda, embala zilwawo okuvaayo,
kyokka bwe wayitawo wiki nga ssatu, nga zivuddeyo, endokwa
ezo ziwangaala nnyo, era ziyisa na ziri ezivudde mu nsimba eya
bulijjo. Ettaka erinnyogovu lye lisinga obulungi ku kukuza obulungi
emirandira, awamu n’okukuza obulungi ebimera.
6) Obutagayaalirira enkuba esooka
Mu nnima eya bulijjo: Abantu batera okulinda ekire ekisooka
eky’enkuba okuttonnya nga tebannakabala, n’oluvannyuma ne
basiga ng’ekire ekyokubiri kiyiise.
Mu kulima ngeri ya Katonda: Tuteekateeka ennimiro ng’ekire
ekisooka eky’enkuba tekinnattonnya. Ekire ky’enkuba ekisooka
we kijjira, ne tulyoka tusimba.
7) Okukendeeza Omuddo mu nnimiro
Mu nnima eya bulijjo: Okukabala n’okulimaalima kuletera
omuddo okumeera.
Mu kulima mungeri ya Katonda: Tewali kukabala era tubikka
kikumi ku kikumi okulaba nga tukendeeza kinene ku kumera
26
kw’omuddo. Okubikka enyo y’engeri yokka ekakasibbwa nti
ekuuma ennimiro nga teriimu muddo, na ddala omuddo
ogulanda
Emigaso egiva mu ttaka erirabiriddwa obulungi
8) Okwongera ku Mazzi agaterekebwa mu Ttaka
Ettaka eritakabalibwa liringa ekyangwe mu kutereka amazzi. Ekyo
kitegeeza nti ettaka lisobola okugumira ekyeya ne libala
amakungula manji.
9) Okwongera ku bugimu
Emyaka bwe gigenda giyita, bulangiti ya Katonda egenda
yeeyongera okuvunda, olw’omulimu gw’ebiwuka n’ebitonde
ebirala ebiri mu ttaka. Ekyo kireetera ettaka okufuna
ebyomugaso bingi, ne kyongera ne ku bugimu bwalyo.
10) Okuteeka Nitrogen mu ttaka olw’okukyusakyusa ebirime
Obugimu bw’ettaka bweyongera bwe tukyusakyusa ebirime
gamba ng’ebijanjalo oba soya oba ebinyebwa ebiteeka
Nitrogen mu ttaka. Nitrogen ateekeddwamu aba aja
kukozesebwa ebirime ku mulundi ogw’okusimba oguddako.
11) Okukendeeza obukalubo bw’ettaka
Mu nnima eya bulijjo: Ettaka erikabale likubibwa nnyo amatondo
g’enkuba, ekyo ne kireetera obutuli omuyita empewo mu ttaka
okuziba. Okukabala kuleetera ettaka okwekatira awamu.
Ekivaamu kwe kufuna obukalubo obwa sentimita nga amakumi
abiri oba asatu (20-30cm) mu kukka kwe taka.
Mu kulima mungeri ya Katonda: Ettaka ligenda lyeyongera mu
bungi bwalyo, nga lirimu emikutu emikadde egirekeddwawo
ebimera ebyavaamu edda okusobola okukuza obulungi ebimera
eby’emyaka egiddirira.
12) Emikutu gy’empewo mu ttaka
Ettaka okufaanana ng’ekyangwe nga sirikabale, nga mulimu
n’emikutu ebiwuka mwe biyita, nga n’emirandira givunda
bulungi, kireetera emirandira okussa obulungi, obudde ne bwe
buba nga bw’amataba.
27
13) Obuwuka bw’omu ttaka
Waliwo ebika bibiri eby’obuwuka obwo: obukozesa *oxygen
n’obutakozesa oxygen *(omuka abantu gwebassa guyitibwa
oxygen).
Mu nnima eya bulijjo: Bwe tukabala tuziika obuwuka obukozesa
oxygen ne budda mu kifo kya buli obutakozesa oxygen, ate
obutakozesa oxygen ne budda mu kifo kya buli obukozesa
oxygen. Ekivaamu kwe kufa kw’obuwuka obwo bwonna.
Mu kulima ngeri ya Katonda: Kyokka bwe tutayokya bulangiti ate
ne tutakabala, embeera ey’omu taka esigala nga bwe
yatondebwa Katonda, nga ne ttaka linnyogovu bulungi era nga
linnyuukirivu. Etaka egimu letaka edamu.
Emigaso mu by’enfuna
14) Okuziyiza Ebiwuka n’Endwadde
Ebimera ebifuna amazzi amatono oba ebiriisa ebitono birina
ekitangaala kye bireeta, era ekiva mu ekyo kwe kulumbibwa
ebiwuka n’endwadde.
Mu kulima ngeri ya Katonda ebimera birama ne bikula nga bijimu
bulungi. Etaka liba ddamu bulungi, era kizibu obulwadde
okuwangaaliramu ne bubuna ebimera. Okukyusakyusa ebimera
nakyo kiziyiza endwadde okubuna..
15) Okukendeeza ebbanga n’ensimbi bye tumala nga tutegeeka
ennimiro
Mu nnima eya bulijjo, kitwalira omulimi ebbanga ddene n’ensimbi
nnyingi okuteekateeka ennimiro ye, na ddala bw’aba
ng’akozesa ebyuma ebirima nga tulaketa n’ebirala. Oluusi
kitwalira omulimi wiki kkumi okweteekerateekera okusimba.
Kyokka mu kulima mu ngeri ya Katonda, omulimi asiima busiimi
binnya mu wiki mukaaga zokka nga yeteekerateekera okusimba.
16) Ebigimusa bitono bye tufiirwa
Buli mwaka ebigimusa bingi nnyo nnyini mu miliyooni za ttani
ebitwalibwa mukoka. Kyokka mu nnima ya Katonda, mukoka
abeera mutono ddala, era n’ebigimusa ebiteekebwamu
tebitwalibwa mukoka, bisigala mu ttaka ne biyamba
n’emirandira okuwanirira obulungi ebimera mu binnya byabyo.
28
17) Obumalirivu bw’ettaka Okuwona Ekyeya nokukendeza obubenje
Ettaka lisobola okuwona ekyeya okusinzira ku bintu bisatu:
• Obungi bwa bulangiti ya Katonda (obungi bw’ebisubi bye
tubissa ennimiro)
• Ettaka eriyiika obuyisi sso ssi erikutte awamu
• Omuwendo gw’ebiramu ebiri mu ttaka
Kiba kirungi okukyusakyusa ebirime mu ngeri y’ekimu kya kusatu
buli mwaka Kiyamba mukukendeza obubenje bwe waba
embeera mbi egudewo ng’ ekyeya oba endwade.
18) Kukundeze ku beyi y’okufukirira
Bwe tulima ngeri ya Katonda tufukirira kitono ddala olw’amazzi
agabeera mu ttaka olwa bulangiti ya Katonda egakuumiramu
nolwobutafuula taka.
19) Ebibala Bikula nga Tebirirna kufuba bufubi
Ebirime tebifuna buzibu bwe bisimbibwa mu ngeri ya Katonda
kubanga biyita mu kugezesebwa ne bikula bulungi nnyo.
Emirandira gimera mu bulangiti ya Katonda, teginoonya nnyo
byamugaso wansi mu buziba mu ttaka. Bulangiti eba evunda
nga n’ekimera bwe kifuna ebigimusa byonna.
20) Okubisamu okwa Amakungula
Taata wa Dickson yafunanga ensawo ssatu buli mwaka. Dickson
bw’asikira ettaka eryo, yakyusa ennima ye okuva mu ya bulijjo
n’adda ku nnima ng’eri ya Katonda era ebyavaamu bye bino
wansi.
Dickson:
Omwaka ogusooka, ensawo ttaano;
Omwaka ogwokubiri, ensawo amakumi ana mu ttaano;
Omwaka ogwokusatu, ensawo amakumi ataano mu nnya;
Omwaka ogwokuna, ensawo nkaaga mu mwenda
Yusufu: yatandikira ku nsawo musanvu, omwaka gugenda
okugwako ng’akungula ensawo nsanvu.
George: Yafunamu yakubisamu emirundi mwenda okuva ku kiri
kye yasooka okufuna.
29
Endabirira
Ekigenderwa ekikulu mu kulima ngeri ya Katonda kwe kufuna
amagoba ag’enkalakkalira. Tulina engeri nnyingi gye tuyinza okulaba
nga tutereka ebyobugagga bye tuggya mu kulima ngeri ya
Katonda, gamba nga ettaka, amazzi, ebiriisa ebiri mu ttaka, ebiseera
bye tumala nga tweteekerateekera okusimba, n’ensimbi. Kyokka
ennima eyo bw’eba ey’okuba ey’omugaso eri omulimi era
n’emutuusa ku ssa ey’okuganyulwa endabirira eteekwa
okulongooka.
Ebisumuluzo 3 eby’endabirira mu Kulima mungeri ya
Katonda kwe kukola ebintu mu kiseera, ku mutindo ogwa
waggulu ate nga tetwonoona
Ekisumuluzo 1: Mu Kiseera
•
•
•
•
•
•
•
Olubereberye 1:14-19 Katonda bwe yatonda ensi kyatuwa kwe
tutandikira okutegeera ebiseera.
Katonda yatonda ennaku, n’emyezi, n’emyaka n’ebiro.
Omubuulizi 3:11 “Yafuula buli kintu okuba ekirungi mu kiseera
kyakyo.”
Okuteekateeka ennimiro mu biseera ebitali bya kusiga.
Okukuŋŋaanya ebigimusa, ne bulangiti ya Katonda n’ensigo.
Okuteekateeka nnakavundira ebiseera eby’okusiga nga
tebinnatuuka.
Okusiga mu kiseera. Wano mu Uganda tuteekwa okuteekateeka
ennimiro mu Gatonnya ne Mukutulansanja ng’aggwako
okwetegekera enkuba ya Mugulansigo, ate ne tuddamu
okuteekateeka ennimiro mu Muwakanya ne tusimba mu
Mutunda.
Okukoola mu kiseera.
30
Ekisumuluzo 2: Ku Mutindo Ogwa Waggulu
Buli kintu Katonda ky’akola akikola ku mutindo ogwa waggulu.
Omutindo ogwo Katonda yasooka okugwolesa ng’atonda ensi mu
kitabo ky’Olubereberye essuula 1. Bwe yamala okutonda ensi
n’alaba nga ky’akoze kirungi
•
•
•
•
•
•
•
•
Omuguwa ogupima – ennyiriri entereevu nga n’amabanga gali
nga bwe gateekwa okuba.
Enkondo ezoluberera - okusimba mu binnya bye bimu buli
mwaka.
Ebinnya biba sentimita nkaaga ku sentimita nsanvu mu ttaano
(60x75), n’okukka okusinzira ku bigimusa ebiteekeddwamu
(kasooli).
Okusimba ensigo ssatu mu lunnyiriri mu buli kinnya (kasooli).
Tuteekwa okuba n’ebikolo bya kasooli 44,444 buli hekiteya (yika
2.5), nga tumaze okulamu.
Okulaba ng’ennimiro nga nkoole bulungi omwaka gwonna.
Okulaba nga bulangiti ya Katonda ebisse wonna kikumi ku kikumi.
Okuteekamu ebigimusa mu bipimo byabyo.
Ensonga etusimbisa mu binnya bye bimu buli mwaka:
• Ebiriisa ebiba bisigaddemu okuva ku mwaka oguyise biyamba
nnyo ebimera ebijja eby’olusimba oluddako.
• Ettaka lyeyongera okugonda.
• Emirandira egiba givunze egy’ebimera ebivuddemu byongera ku
bugimu bw’ettaka era ne gikola n’emikutu emirandira emiggya
mwe giyita okufuna amazzi obulungi.
• Okulinnyirira ettaka kubaawo mu mabanga mwokka.
• Ettaka teritawaanyizibwa nnyo era n’omuddo ogwandimezeemu
tegukula mangu.
Buli kintu ekyogeddwako ku nsonga ey’omutindo ogwa waggulu
kiriwo kutuyamba, sso ssi kutuukiriza mukolo. Ensonga ezo
zalowoozebwako era ne zekkenyezebwa okulaba ng’omulimi afuna
amagoba agasingirayo ddala okuba amangi.
•
Abakkolosaayi 3:23 “Buli kye munaakolanga mukolenga
n’omwoyo, nga ku bwa Mukama waffe sso ssi ku lw’abantu”
31
Ekisumuluzo 3: Nga Tetwonoona
Mu Baibuli tulaba ekyokulabirako ekirungi ennyo eky’obutayonoona,
Yesu kye yalaga ng’amaze okuliisa abantu enkumi taano (Matayo
14:14-21)
Ebyokulabirako ebiraga Katonda bw’atayonoona:
• Enkozesa y’amazzi; gatonya ne gafumuuka ne gakola ekire ne
gadamu okutonya
• Enkozesa y’eby’omu taka, munsi ne mu banga
Okwonoona Kwa Bantu:
• Okutema ebibira
• Okusaawa n’okwokya nga tulima
• Mukoka atwala etaka ery’okungulu
• Amazzi amangi agakulukuta ne gagenda obugenzi
• Okulima ebibangirizi ebinene kyokka ng’amagoba agavaamu
matono ddala nakyo kiraga okwonoona
Okulima mungeri ya Katonda kitukubiriza obutayonoona nga tukola
ebintu bino wa mmanga:
• Nga tukendeza obwetaavu bwe ttakka nga twongera ku bunji
bwa makungula mu kifo kyekimu.
• Okulabirira ettaka
• Enkuba bw’etonnya eyingira bulungi mu ttaka
• Okuziyiza mukoka
• Okukuumira amazzi mu ttaka
• Obugimu bw’ettaka obwo buttonde
• Amabanga amatufu gayamba ebikoola okwatagana ne bibika
ettaka
• Ebigimusa bikozesebwa bulungi
• Ebiseera n’ensimbi birokolebwa
32
Okufundikira
Kyewuunyisa nnyo okulaba nga bwe tuteeka mu nkola, ebisumuluzo
ebyo ebisatu ebyogeddwako waggulu, kituwa essanyu lingi nnyo mu
milimu gye mikono gyaffe. Jjukira nti bw’osiga mu ssanyu, okukungula
mu ssanyu. Kyokka bw’osiga nga wemulugunya, okungula
wemulugunya.
• 2 Abakkolinso 9:7 “Buli muntu akolenga nga bw’amaliridde mu
mutima gwe; ssi lwa nnaku, newaakubadde olw’okuwalirizibwa:
kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.”
Amagoba ge tufuna mu kukola no’bwegendereza kyakubiri ku
kuyitibwa abaana ba Katonda. Twetaaga okukola buli kintu nga
abakolera Mukama, n’ebibala byonna eby’Omwoyo Omutukuvu
nga bujulizi mu kukyusibwa kwobulamu bwaffe.
33
Okukola Nnakavundira
Ennyanjula
•
•
•
•
•
•
•
Nnakavundira bye bintu eby’omu ttaka ebivunze nga
bikoleddwako obuwuka obw’omu ttaka.
Mu kifo ky’okukozesa ebigimusa, nnakavundira asinga. Abalimi
bwe bakozesa nnakavundira bafuna ekigendererwa kye kimu,
oba n’okusingawo na ddala bwe bakikozessa mu banga
gwanvu.
Kiyamba okuzawo obutoonde bwe ttaka no kuzza obbuja
obuwuka obwo muttaka.
Tuwebwa amagezzi okola entuumo mu bipimo ebituukidde
ddala; obuwanvu mita bbiri n’obugazi mita bbiri n’obugulumivu
mita bbiri.
Entuumu eyo bw’eba ekoleddwa bulungi, emala bulungi mu eka
emu eya kasooli.
Okubirizibwa obutakendeza bipimo wansi wa mita 1.5 ne mita 1.5
ne mita 1.5.
Tutandika okukuŋŋaanya ng’enkuba etonnya, ng’ebikoola bya
kiragala.
Ebikozesebwa
Nnakavundira akolebwa ebintu ebikulu bisatu: Nitrogen, n’ebiramu
byonna ebya kiragala n’ebintu ebikaze obulungi byonna.
1) Nitrogen Component
• Ku ntuumo yonna, tuteekako ebitundu kkumi ku kikumi (10%), oba
ensawo eza kilo ataano ataano, kkumi na ttaano eza kalimbwe
obo obusa.
• Singa obusa tebufunika, kozesa ebisimbe bya enva endirwa nga
bikola entumo ya m3 4.
• Nitrogen oyo ge mafuta agaleetera entuumu eyo okuvunda
n’okukola nnakavundira.
2) Ebiramu ebya kiragala
• Ku ntuumu yonna, tuteekako ebitundu amakumi ana mu bitaano
ku kikumi (45%).
• Buli kitemebwa nga kyakilagala ne bwe kikala kikola.
34
3) Ebintu ebikaze obulungi
• Ku ntuumo yonna, tuteekako ebitundu amakumi ana mu ttaano
ku kikumi (45%).
• Ebintu ebikaze ng’ebikongoliro, n’ebitiiti by’embaawo bikola
bulungi nnyo bye bisikiriza obuwuka n’ebiringa ebyo okwongera
ku kuvunza.
• Essubi, n’ebikoola ebikaze, n’omuddo gwe tukoola mu nnimiro
byongera kubunene bw’entuumo.
Ebikozesebwa biteekwa okukuŋŋaanyizibwa mu ntuumo ez’enjawulo
okutuusa nga biweredde ddala bulungi.
Okukola entuumo emu
•
•
•
•
•
Okusigaza ebipimo ebituufu kikulu nnyo.
Tuteekwa okukola entuumo emu ennene nga tukozesa bye
twayogeddeko waggulu eby’emirundi esatu mu mitendera.
Tuteekwa okunnyika ebya kiragala n’ebintu ebikaze mu mazzi
amangi nga tetunnabiteeka ku ntuumo.
Tutandika nomutendera gwa sentimita amakumi abiri ez’ebyo
ebikaze (20cm), ne tuzaako ogwa sentimita amakumi abiri
ez’ebya kiragala (20cm), ne tusembyayo obusawo bubiri obwa
kilo amakumi ataano obw’obusa oba kalimbwe.
Yongera okudiŋŋanamu emitendera okutussa bwotuka mita 2
obuwanvu.
35
Ensawo biri ey'obusa
Omutenderagw'ekilagala cm 20
Omutendera gw'ebintubikalukalu n'obutititi cm20
Ensawo biri ey'obusa
Omutenderagw'ekilagala cm 20
Omutendera gw'ebintubikalukalu n'obutititi cm 20
Ensawo biri ey'obusa
Omutenderagw'ekilagala cm 20
Kiw
Omutendera gw'ebintu bikalukalu n'obutititi cm20
Ensawo biri ey'obusa
Omutenderagw'ekilagala cm 20
Omutendera gw'ebintubikalukalu n'obutititi cm20
Ebbugumu oba obunnyogovu
• Ebbugumu ly’entuumo liteekwa kubeera wakati wa 55°C ne 68°C
sentiguleedi.
• Ebbugumu eryo liteekwa okukuumibwa okumala ennaku ssatu,
okutta ensigo n’endwadde zonna.
• Tuteekwa okukozesa ekipima okumanyira ddala ekituufu.
• Engeri ennyangu kwe kukoseza oluuma olugazi oluli milimita
munaana (8mm), nga luwanvu bulungi (futi 4). Bw’oluteeka mu
ntuumo ne lumalamu edakiika, nooba ng’osobola okulukwatako
okumala obutikitiki butaano. Bw’oba ng’osobola okulukwata
okumala obutikitiki butano kitegeeza nti ebbugumu likyaali wansi
wa 68°C. Naye bw’oba nga tosobola ku lukwata, kitegeeza nti
ebugumu lituuse ku 70°C otekwa okufuula entuumo.
36
•
•
Ebbugumu bwe lisukka ku nsanvu (70°C) litta obuwuka
obwobutoonde ne bumalamu amanyi mu nakavundira.
Nnakavundira aba akula nga nokuwola awola bwe wayitawo
wiki 6-8.
Okufuula entuumo
• Okufuula okusooka kubaawo mu nnaku ssatu ezisooka,
ng’ebbugumu terinnasuka ku nsanvu.
• Entuumo ekyusibwa n’eteekebwa mu bbanga eriri awo okumpi
nalyo ng’obuwanvu lya mita bbiri n’obugazi nga lya mita bbiri.
Tukozesa enkumbi ey’amannyo oba enkumbi eya bulijjo,
ebibadde ebweru w’entuumo tubissa munda, ate ebibadde
munda ne tubissa ebweru.
• Enfuula eno ekuuma ebugumu etuufu, n’etabula ebikozessebwa,
ne leeta ebyebweru munda ne bifuuna ebugumu, ne kileetera
omuka munda ne kisobozesa okukebera obubisi bwa
nakavundira.
• Entuumo bwe tafulibwa kigireetera okuvunda obubi, n’ekivaamu
kwe kuwunya obubi, n’okufuna nnakavundira omubi.
• Endagiriro ennyangu kwe kufuula entuumo eno omurundi gumu
buli luvanyuma lwa nnaku ssatu okumala ennaku mwenda.
Oluvannyuma nofuula emirrundi ena oba etaano mu buli nnaku
kumi.
• Oluvannyuma lwe’myezi ebiri, okufuula kuba kuwedde.
• Okufuula bwe kuggwa, nnakavundira tumuleka okumala emyezi
emirala ena nafuuka ekigimusa.
Amazzi agalimu
• Amazzi gakalira olw’ebbugumu, era twetaaga okwongeramu.
• Gezaako okukuma obungi bw’amazzi nga buli ku bitundu ataano
ku kikumi (50%).
Kino kigezzesebwa bwe tukamula nnakavundira.
Amazzi bwe gatonnya, ekyo kitegeeza nti nnakavundira mubisi
nnyo. Kyokka bwe mutavaamu ttondo lya mazzi ne nakavundira
ayikayika kitegeeza nti amazzi matono, wetaaga okwongeramu.
Naye bwokamula nga temuva ttondo naye nakavundira yekutte
ekitole kitegeza amazzi gamala.
• Ku ngulu essubi oba omukeeka mungeri ya kaserengeto
obutaleka mazzi okulegamako, entuumu ereme okunnyogoga
ennyo.
37
Ebiraga nga Nnakavundira Mulungi
• Erangi aya katakketakke
• Aba awunya bulungi sso ssi ng’ekivundu
• Aba akukumuka
• Muteekwa okubaamu obuwuzi obweru obulaga ebivunza
Nnakavundira ayinza okuterekebwa okumala emyaka mingi, nga
tayononese. Ate okumukola kyetaga manyi goka.
Nnakavundira gwe tuteekwa okukozesa ku buli nnimiro, nga tulaga
nga bwe tuli abeesigwa n’ebyo Katonda by’atuwadde era nti
Katonda amala mu byonna.
38
Okubera n'obutonde by’enjowulo mu nimiro
nga tukyusakyusa ebirime
Mukulima mungeri ya Katonda twagala obazamu amanyi abalimi
okubeera nebitonde by’engyawulo mu nimiro zabwe nga
bakyusakysa ebirime, okusimba ensigo nga tonaba kukungula
ezibaze, n’okusimba ebimera ebileeta obugyimu mutakka n’ebibika.
Okukyusakyusa ebirime
•
•
Okukyusakyusa ebirime kuteekwa okubeerawo buli luvannyuma
lw’emyaka esatu.
Ennimiro yeetaaga okugabanyamu ebitundu bisatu
ebyenkanankana; ebitundu ebisooka ebibiri tusimbamu ekirime
nga kasooli, ate ekitundu ekyokusatu ne tusimbamu ekirime kye
tukyusakyusa, gamba ebijanjalo.
Omwaka
Ekitundu 1
Ekitundu 2
Ekitundu 3
•
•
1
Kasooli
Kasooli
Bijanjalo
2
Bijanjalo
Kasooli
Kasooli
3
Kasooli
Bijanjalo
Kasooli
Kimu kyakusatu eky’ennimiro kibeeremu ekirime ky’okyusakyusa.
Okukyusakyusa kulwanyisa endwadde n’ebiwuka ebibi; kyongera
ku bulungi bwe ttaka n’obugimu bw’alyo, kiwa amaka
eby’okulya ebyomugaso nga ebigimusa ne bibala ne kiyamba
ne kunfuna y’ensimbi mu maka.
Ebigobererwa ebya bulijjo:
• Kyusa kyusa ebifo mwosimba emere otekewo enva endirwa.
Nawabadde Enva endirwa simbawo emere.
• Mu nnimiro tussaamu ebimera ebiteeka nitrogen mu ttaka
gamba ng’ebijanjalo, soya, kawo, ebinyeebwa, n’enkolimbo.
Kiyamba bwe tuteekamu ne lumonde oba enva endiirwa nga
dodo oba emboga.
• Ekitundu ky’enva kisobola okusalibwamu ne kitusobezesa
okusimba enva za mirundi mingi. Ekileeta endya enuungi mu
maka.
39
Entekateka y'enyimiro ennene
akaserengeto
Enkondo
1
Omuguwa gwosimbirako (ebanga lya cm60)
Enkondo
2
ENIMIRO 1
KASOLI
Enyiriri 10
oba m7.5
Enkondo
4
Enkondo
3
ENIMIRO 2
KASOLI
Enkondo
5
Enyiriri 10
oba m7.5
Enkondo
6
Enyiriri 10
oba m7.5
ENIMIRO 3
ENVA ENDIRWA
Enkondo
8
Enkondo
7
Kyakulabirako nga tukyusakyusa ebilime
Okuzamu
Okuzamu kwe kusimba omurundi ogwokubiri nga ebimera ebisooka
bikuze naye nga tonaba okubikungula. Kilungi okolebwa mu bifo
ebirina obusobozi nga ettaka elirimu amazzi ate nga gimu bulungi.
Wegendereze obutayanguyiriza kuzzamu nga ekisooka tekinakula
kubanga ekisooka tekijjakubala bulungi.
Ekyokulabirako eky’okuzamu kwe kusimba enkolimbo mu kasooli nga
akuze.
Okuzamu si kyekimu nokutabulatabula ebimera ebyenjowulo mu
niimiro emu nga abatabula ebijanjalo wakati mu kasooli. Tetuwagira
okugatagata ebimera
40
Ebimera ebisimbibwa olwokukuuma nokwongera obugimu
mu ttaka
Ebimera bino bikozesebwa okumala emyaka mingi era nebisangibwa
nga birungi. Byongera ku kubika kwe taka, bikola obugimu mu taka
(Nitrogen), bikuuma ettaka nga gimu, biziyiza omudo okumera,
biziyiza mukoka, ne bikola emere enungi eyensolo, byongera kunfuna
ate ne bikola ng’emere y’abantu.
Okusimba bino obanga akola nakavundira naye nga tokozesa
amaanyi mangi wadde amazi nga byokozesa ngokola nakavundira.
Mu Uganda tuwebwa’magezi okubisimba mu nkubu eyokubiri.
Ekyokulabirako kyebibala binno:
• Ebika by’ebijanjalo (bikola ibizimbe ku malandira): Lab-lab,
Makuna, Kawo, Alfa Alfa.
• Ebika ebiwembawemba: ngano (wheat), rye, oats.
Kawo ne ngano bikozesebwa ne mu kuzamu.
Endagiriro y’ebirime eby’enjowulo :
Endagiriro y’ebirime eby’enjowulo (mu’nkuba >600mm) mu hekiteya
Ebirime
Kasoli
Engeri yokusimba
Obuungu b’wensigo
Amabanga
Obuwanvu bwo’kusimba
Sanifulawa
Pamba
Omuwemba
Ebinya ebinkalakalira
Soya
Kawo
Ebinyebwa
Nsalosalo
kg/ha
30
6
25
10
160
60
80
Wakata wa lunyiriri
75
75
75
75
75
75
Split to 37.5
Mu lunyinriri
60
60
60
10
5
10
8
5
2
2
2
1.5
2
3
1
cm
Simba
Empeke/kinya
3
3
5
1
1
1
Tolu ku mbala ofune
Empeke/kinya
2
2
1-2
1
1
1
1
44 444
44 444
33 333
133 333
266 667
133 333
333 333
Obungi bwensigo
Amakungula gosubia
embala/ha
5-7
2-2.5
2-2.5
2-2.5
1.5-2
1.5-2
1.5-2
Nnakavundira/obusa/ Obuneni bwe kikopo (ml)
ettaka l’akiswa Ensawo y 50kg/ha
350
350
350
350/m
350/m
350/m
350/m
156
156
156
94
Obunene bwe kikopo (ml)
12
8
8
293
196
196
1) Obunene bwe kigiiko ml
8
Ekigyimusa
2) Obunene bwe kigiiko ml
5
ekigenda wagulu
Obungi kg/ha
246
5
5
12
94
94
136
Ekigyimusa kya’madduka
Evvu
Layimu y’enimiro
tani/ha
Obungi kg/ha
Obunene bwe kikopo (ml)
Obungi kg/ha
Obunene bwe kikopo (ml)
Obungi kg/ha
94
94
8/m
5/m
117
73
188
8/m
147
12
12 /m
203
122
243
5
5/m
5/m
133
80
160
41
12 /m
Okugaziya
Okuloota ekirooto ekye’nima ya katonda kuyamba abaavu
okulabanga bagibwako ikikolimo kyobwavu ne bazuula ekyo
Katonda kye yabategekera.
Omusingi Gwa Baibuli
Oyinza okwebuuza nti, “Nze ani Mukama?” Muli baana ba Katonda
Ali Waggulu Ennyo. Yesu agamba nti, “Nga bwe ndaba Kitange
bw’akola, nange bwe nkola. Nga bwe mpulira Kitange bw’ayogera,
nange bwe njogera.” Twetaaga kugondera bugondezi Yesu Kristo
ky’atulagira era ky’atulaze. Yajja kuweereza, n’okulaga abaavu
ekkubo, awamu n’abalwadde endwadde ez’omwoyo n’ez’omubiri,
n’okubalokola bafune obulamu obujjuvu. Tulina omukisa
ogwewunyisa okukola kino nga tuyita mu kozesa ekikozesebwa kino
eky’Enima ya Katonda. Nga tutukiriza okuyitibwa kwa Katonda mu
Isaya 58; okusiiba katonda kweyalonda. Mukola ekyo tufuna
omukisa okuweereza Kabaka nga mu Matayo 25:35 bwe kigamba,
ne tubeera mu mikisa gye nga tuyamba abaavu ne abanaku.
(Zabbuli 41:1-3).
Enjiri eyo bigambo ne bikolwa esoobola okutekebwa munkola ku
lukalu lw’Africa okumenya ekikolimo kyo’ bwavu no kujjawo
ekikooligo kyo kunyigirizibwa. Abantu ba Katonda bayinza
okwekolamu ekibinja ekimala okuleeta obubaka buno obwesuubi eri
abatalina suubi.
Kitandika naawe
Bw’onooba wa kuba mulimi alima mu ngeri ya Katonda, oteekwa
okutendekebwa era n’ossa mu nkola ebyo by’oyize. Kiba kirungi
okutandika mu ngeri entono n’oluvannyuma n’oyongerako mu
kukiriza. Weyongere mukutendekebwa mu misomo gino
egy’enjawulo egibaawo, okwongera okunyweza ekyo ky’oyize.
Bwoba wandyagadde okufuuka omusomesa omutendeke akirizibwa
okusomesa Enima ya Katonda oba weetaga okwewayo mu
kutendekebwa ne mu engeri yo kweyisamu nabantu.
42
Bino birimu:
• Okwegata mukutendekebwa ekitono enyo emirundi essatu.
• Okusimba nokulabirira ennimiro yo Enfukirire Obulungi kubwa
luutu emu.
• Okwenyigira mu buweereza nokulabanga oyamba abalaala
mw’ekyo.
• Omu kubakadde b’enima ya Katonda bwa’namatiranga oyize
ojjakukirizibwanga okutendeka abalala ngo’kolagana
na’bakadde.
Jjukiranga Enima ya Katondo ssi kitongoloe wabula ekikozesebwa
ekyawebwa omubiri gwa Kristo. Tetugezaako kukizimba mu Nima ya
Katonda wabula okutendeka nkozesa Enima ya Katonda. Twagala
kusindika nkuumi nenkuumi z’abasomesa basobole okugaziya
obubaka buno obwe suubi wansi wa makanisa ne bitongoole.
Okukozesa Enimiro Enfukirire Obulungi Mukugaziya
Enimiro Enfukirire Obulungi yengeri enungi mukugaziya Enima ya
Katonda. Enimiro zino entono (mita 6 ku mita 6) zisobozesa
okutendekebwa nokukola abagoberezi abalimi mu bitundu byabwe.
Tekyetagisa ssente nnyingi ate kitwala obudde bwa sawa 2-3
okumaliriza. Wadde nga entono, zimala okutendeka abalimi b’Enima
ya Katonda okussa m’unkola mu nimiro zabwe. Nga bwe kisobozesa
abalimi okulaba obulungi bwokundiganamu nomukisa gwokubikola
bo benyini. Ngeri nungi eyokwenyigiramu ate nga kinyuma eri abo
abenyigiramu.
Okweyongera okumanya ebikwatagana n’Enimiro Enfukirire Obulungi
funa akatambi (DVD) ak’Enima ya Katonda oba ofune ekitabo
kyebayita Endagiriro yaBayigiriza.
Ebyama ebyomugaso okutekamunkola mu bitindu byaffe
•
•
•
•
Okwewayo okumala emyaka etaano oba mukaaga
ng’odinganamu mukutendekebwa.
Funa omuntu omwesiga mukitundu kyo anakuyambanga
okubissa munkola.
Kilabo kyabuwa – tososola.
Kuuma enimiro eyokulabirako (Enimiro Enfukirire Obulungi)
mubugazi obwogedwako (mita 6 ku mita 6).
43
•
•
•
•
•
Bwoba obera kumpi ne kitundu kyogenda kusomesamu
amasomo gateke mubumpimpi basobole okutegeera obulungi
nga bagendera muntegeka ya kimu ku kimu.
Kakasa ng’osomesa mu kyeya.
Tegeka abalimi mu bubiinja obutonotono.
Togulirira bantu kukozesa nima enno. Tobawa nsigo n’ebigimusa
bya bwerere.
Saba
Okumaliriza
Ng’Okulima mungeri ya Kantonda kweyongera mu mawanga,
okubazamu amanyi kwaffe kwe kuno- temwelabiranga nti ABAAVU
betusako esiira. Balina ekifo ky’enjowulo mu mutima gwa Katonda,
naffe tulina okulaba nga tubawereza ne mitima jaffe gyona.
Katutwale obubaka buno mu buwombefu nga tugondera ekigambo
kya Katonda, ng’emizi tugisimbye mu kisa kya Kristo era tubuweyo mu
kwagala okungi eri balunkupe basobole okusumululwa.
44
Ebikozesebwa
•
Ku Yintaneti: www.farming-gods-way.org
•
Obutambi Obutendeka (mu Luzungu ne Luswahili)
Obutambi buno ebulaga ebisumuluzo bya Baibuli wamu ne
nokukola kw’obukugu n’endabirira. Mulimu okunyonyola
kwebifanaani era obutambi buno bukwatibw mubifo ebilungi
ennyo. Obutambi buno bumala essawa omusanvu ate
bumenyidwamu mubutundu bw’enjowulo, bujjakutwala omulabi
mukuvumbula obutonde bwa Katonda obwewunyisa, okubikula
ekilabo ky’akulima mungeri ya Katonda.
•
Akatabo Akalungamya Abatendesi (mu Luzungu)
Kano akatabo kamugaso nyo eri abo abalagala okugaziya
amagezi gabwe mu Kulima mungeri ya katonda. Katekwa okuba
mu’ngalo za buli omu atendeka mu kulima mungeri ya Katonda.
•
Enima ya Katonda (Okulima mu ngeri ya Katonda) Endagiriro ye
Nimiro Akatabo Kano y’Endagiriro ye Nimiro ekozesebwa
mukutendeka mu bitundu. Kasobola okuwanulibwa ku yintanet
okuva mukitundu eky’Ebikozisibwa (Resources) ku
www.farming-gods-way.org . Envunula ya katabo kano
ejjakubawo mukuwanula okuva mukifo ky’Ebikozesebwa mukutu
gwa Enima ya Katonda nga bamaliriza.
•
Ebibuuzo ebyo lwatu: [email protected]
45

Similar documents

How You Can Help Your Child With Cerebral Palsy

How You Can Help Your Child With Cerebral Palsy Buno bukosa entuula, entambula, enyimirira, okwogera oba empuliziganya, endya, buleta okwesika, bukosa okuyiga wamu ne neyisa.

More information

CBS @20 CBS @20 CBS @20 CBS @20

CBS @20 CBS @20 CBS @20 CBS @20 ng’okozesa amagezi ag’ekikugu ng’okulimira ku mazzi, mu busenge ate n’ofuna kinene. Dr. Mukiibi – MUK

More information