Diorrhea Brochure Luganda
Transcription
Diorrhea Brochure Luganda
3. Mira Cotrimaxazole buli lunaku nga omusawo bw’akulagidde. Eddagala lino likuyamba okuziyiza ekiddukano n’endwadde endala. Bw’ogoberera emitendera gino osobola okuwangaala, okubeeera n’obulamu obulungi n’obaako ne ke w’ekolera. Bwenfuna Ekiddukano nnina kukijjanjaba ntya? • Nywa ebintu ebizza mu mubiri amazzi (ORS), caayi alimu sukaali, oba ebibala ebikamuliddwa bisobole okkuza mu mubiri amazzi agaguvaamu. Ebika by’ekiddukano ebisinga tebisobola kujjanjabibwa na ddagala • Bweweyongera obuteewulira bulungi, genda mu ddwaliro erikuli okumpi. Ojja kuweebwa eddagala okuyamba okutta obuwuka obukireeta (ekiddukano) • Akafuba kasobola okuziyizibwa n’okuwonyezebwa. Bw’oba olowooza nti ggwe oba omuntu gw’omanyi alina Akafuba, okukeberebwa kwokka kwekusobola okukakasa kino. Bw’okeberebwa n’ozuulibwa okuba n’Akafuba, osobola okuwona bw’ogoberera amagezi g’omusawo. Kakasa nti ogoberera amagezi g’omusawo era omaleyo doozi y’eddagala ly’owereddwa Biki bye Ndya nga Nnina Ekiddukano? Engeri ne biki by’olya n’onywa ng’olina ekiddukano bisobola okukuyamba okuwona. Ojja kusobola okwangganga bulungi ekiddukano singa: • Weyongera okulya emmere mu bigero ebitonotono nga ekyayokya • Olya mpolampola era n’ogaaya emmereyo bulungi • Onywa amazzi amayonjo, amalungi n’ebibala ebikamuddwa oba ebintu ebizza mu mubiri amazzi (ORS) mu bungi • Wewala emmere erimu buto, ebisiikisibwa ne sukaali ebiyittiridde • Wewala emmere nga ebijjanjaalo n’enva endiirwa ezimu nga emboga. Lya emmere efumbiddwa nga akalo, amatooke, omuceere, lumonde, amagi, enkoko oba ebyenyanja. MINISTRY OF HEALTH Nja Kusigala nga ndi Mulamu Mpangaale Yadde ekiddukano kisobola okujjanjabibwa, jjukira nti okuziyiza kyekisinga. Buli lw’ofuna ekiddukano, omubiri gwo gunafuyira ddala era negweyongera okuzibuwalirwa okulwanyisa endwadde endala. MINISTRY OF HEALTH Okumanya ebisingawo buuza omusawowo, genda w’olaba akabonero kano wammanga oba kuba ku simu y’eggwanga ey’eby’obulamu 0312-500-600 Nja Kwetangira Ekiddukano Wetangire Ekiddukano Ani Akatabo Kano Gwe kakoleddwa? Akatabo kano kaabo abantu abalina Akawuka ka Siriimu. Ekiddukano kye ki? Ekiddukano kwe kufuluma okwa buli kaseera. Ekiddukano kiyinza okuba eky’obulabe ennyo kubanga kileetera omubiri okuvaamu amazzi n’ebintu ebirala omubiri bye gwetaaga okubeerawo. Kino kiyitibwa okuggwaamu amazzi (dehydration). Abantu bangi abalina Akawuka ka Siriimu abafa ekiddukano. Nsobola ntya Okuziyiza Ekiddukano? Waliwo ebintu bingi by’oyinza okukola okwewala ekiddukano: 1. Nywa amazzi amalungi era amayonjo. N’amazzi agalabika nti malungi gayinza okubeeramu obuwuka obuleeta ekiddukano. Osobola okukakasa nti amazzi go ag’okunywa malungi nga: • Ogafumba n’egatokotera waakiri eddakiika taano. • Oba nga okozesa Waterguard - ow’amakerenda/ ow’amazzi, - Aquasafe ow’amakerenda oba ow’obuwunga. • Okuuma amazzi amalungi mu kiterekerwamu amazzi ekiyonjo era n’ogabikkako. Nkolagana ki eri wakati w’Ekiddukano n’Akawuka ka Siriimu? • Ng’ovudde mu kayu Abantu abalina Akawuka ka Siriimu batera okufuna ekiddukano kubanga Akawuka ka Siriimu kanafuya obusobozi bw’emibiri gyaabwe obw’okulwanyisa endwadde. Y’ensonga lwaki kyamugaso okuziyiza ekiddukano. Ki ekileeta Ekiddukano? Ekiddukano kileetebwa obuwuka obubeera mu mazzi ge tunywa oba emmere gye tulya. • Nga ogenda okulya ne nga omazze okulya 2. Okunaaba mu ngalo ne sabbuuni kyamugaso naddala mu biseera bino: • Nga ogenda okutegeka emmere
Similar documents
CBS @20 CBS @20 CBS @20 CBS @20
ogukulira mu naku musanvu Dr. Emma Naluyima Makerere University.
More information