OMUNAALA GW`OMUKUUMI

Transcription

OMUNAALA GW`OMUKUUMI
8
OMUNAALA GW’OMUKUUMI
AGU SITO 1 5, 201 3
A LANGI RI RA O BWAKABAKA BWA YAKUWA
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
SSEBUTEMBA 30–OKITOBBA 6
Mutukuziddwa
OLUPAPULA 3
125, 66
˙
ENNYIMBA:
OKITOBBA 7-13
‘Tonyiigiranga Yakuwa’
OLUPAPULA 10
119, 80
˙
ENNYIMBA:
OKITOBBA 14-20
Buli Omu Alowoozenga
ku Munne era
Amuzzeemu Amaanyi
OLUPAPULA 18
124, 20
˙
ENNYIMBA:
OKITOBBA 21-27
Osaanidde Kuba
Muntu wa Ngeri Ki?
OLUPAPULA 23
61, 43
˙
ENNYIMBA:
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
ˇ Mutukuziddwa
Ng’abaweereza ba Yakuwa, tutukuziddwa, oba twawuliddwawo okusobola okukola omulimu gwe. Mu kitundu kino tujja kwekenneenya Nekkemiya essuula 13. Tujja kulaba ebintu bina ebinaatuyamba okusigala
nga tuli batukuvu.
PAPUA NEW GUINEA
KU DDIBA: Ababuulizi nga babuulira
nnyumba ku nnyumba mu Erap,
ekyalo ekiri mu nsozi z’e Morobe mu
Papua New Guinea
ˇ ‘Tonyiigiranga Yakuwa’
Ekitundu kino kiraga ebintu bitaano ebiyinza okuleetera Omukristaayo
omwesigwa ‘okunyiigira Yakuwa.’ (Nge. 19:3) Ate era kiraga ebintu bitaano ebisobola okutuyamba okwewala okunenya Yakuwa olw’ebizibu
bye tufuna.
Abantu: 7,013,829
Ababuulizi: 3,770
Bapayoniya aba Bulijjo Bali nga: 367
ˇ Buli Omu Alowoozenga ku Munne era
Amuzzeemu Amaanyi
ˇ Osaanidde Kuba Muntu wa Ngeri Ki?
Ekitundu ekisooka ku bitundu bino kiraga ebintu ebiyinza okutuyamba
okuzzianamu amaanyi wadde nga twolekagana n’ebizibu ebitali
bimu. Ekitundu eky’okubiri kiraga ebintu ebiyinza okutuyamba okuziyiza ebikemo Sitaani by’akozesa okwonoona enkolagana yaffe ne Katonda.
Abayizi ba Bayibuli: 5,091
Abaaliwo ku Kijjukizo mu 2012:
28,909
Okuvvuunula: Ennimi 14
EBIRLALA EBIRI MU KATABO KANO
8
Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
9
Okutwalira awamu, buli mubuulizi
yaleeta abantu mukaaga ku mukolo
gw’Ekijjukizo
Yakuwa ‘Ansitulira Omugugu Gwange Buli Lunaku’
15 Abazadde—Mutendeke Abaana Bammwe Okuva
nga Bakyali Bawere
28
Erisa Yalaba Amagaali ag’Omuliro—Naawe Ogalaba?
31
8
OMUNAALA GW’OMUKUUMI
Etterekero Lyaffe
August 15, 2013
7
ALANGIRIRA OBWAKABAKA BWA YAKUWA
Magazini eno tetundibwa. Y’emu ku ebyo ebikozesebwa mu mulimu ogw’okuyigiriza abantu Bayibuli mu nsi yonna. Ssente
ezikozesebwa mu mulimu guno ziweebwayo kyeyagalire. Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ebijuliziddwa mu magazini eno
biggiddwa mu Bayibuli ey’Oluganda eya 1968; ekyawandiikibwa
bwe kiddirirwa ennukuta NW, kiba kiggiddwa mu New World
Translation of the Holy Scriptures-with References. Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani biggiddwa mu New World Translation of
the Christian Greek Scriptures ey’Oluganda. Enkyusa ya Bayibuli
endala bw’eba ejuliziddwa, kijja kulagibwa.
Vol. 134, No. 16 Semimonthly LUGANDA
The Watchtower (ISSN 0043-1087) is published semimonthly by Watchtower Bible and Tract Society of
New York, Inc.; L. Weaver, Jr., President; G. F. Simonis, Secretary-Treasurer; 25 Columbia Heights,
Brooklyn, NY 11201-2483, and by Watch Tower Bible
and Tract Society of South Africa NPC, 1 Robert Broom
Drive East, Rangeview, Krugersdorp, 1739. 5 2013
Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania.
All rights reserved. Printed in South Africa.
MUTUKUZIDDWA
“Munaaziddwa, mutukuziddwa.”—1 KOL. 6:11.
WANDIZZEEMU OTYA?
Lwaki tulina okwewala emikwano emibi?
Tuyinza tutya okuwagira omulimu gwa Yakuwa?
Kiki ekinaatuyamba okukulembeza ebintu eby’omwoyo mu
bulamu bwaffe n’okunywerera ku
mitindo gy’Ekikristaayo?
ABANTU b’omu Yerusaalemi ebintu bibasobedde. Lwaki?
Munnagwanga, omulabe wa Yakuwa, akkiriziddwa okusula mu kisenge kya yeekaalu. Abaleevi tebakyakola mirimu gyabwe. Mu kifo ky’okutwala obukulembeze mu kusinza okw’amazima, abakadde bali mu kukola bizineesi ku
lunaku lwa Ssabbiiti. Abaisiraeri bangi bafumbiriganwa
n’abantu abatali Bayudaaya. Ebyo bye bimu ku bintu Nekkemiya by’asanga ng’akomyewo mu Yerusaalemi.—Nek.
13:6.
2 Isiraeri lyali ggwanga eryewaddeyo eri Katonda. Mu
1513 E.E.T, Abaisiraeri beeyama okukola Yakuwa by’ayagala. Baagamba nti: “Ebigambo byonna Mukama by’ayogedde tulibikola.” (Kuv. 24:3) Bwe kityo, Katonda yabatukuza, oba yabalonda okuba abantu be. Ng’eyo yali nkizo ya
maanyi! Nga wayise emyaka 40, Musa yajjukiza Abaisiraeri nti: “Gw’oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo:
Mukama Katonda wo yakulonda okuba eggwanga ery’envuma gy’ali, okusinga amawanga gonna agali ku maaso
g’ensi.”—Ma. 7:6.
3 Eky’ennaku, eggwanga lya Isiraeri telyatuukiriza ekyo
kye lyeyama okukola. Wadde nga waaliwo Abayudaaya
abamu abaaweerezanga Katonda n’obwesigwa, Abayudaaya abasinga obungi tebaali beetegefu kukola Katonda by’ayagala. Beefuulanga okuba abatukuvu naye nga mu butuufu tebaali batukuvu. Nekkemiya we yakomerawo mu
Yerusaalemi omulundi ogw’okubiri, waali wayise emyaka
nga kikumi bukya Abayudaaya bakomawo okuva mu Babulooni okuzzaawo okusinza okw’amazima. Naye mu kiseera ekyo, okusinza okw’amazima Abayudaaya baali tebakyakutwala ng’ekintu ekikulu mu bulamu bwabwe.
4 Okufaananako Abaisiraeri, Abajulirwa ba Yakuwa
ng’ekibiina nabo Katonda abatukuzza. Abakristaayo abaafukibwako amafuta ‘n’ab’ekibiina ekinene’ bonna batukuvu era baweereza Yakuwa yekka. (Kub. 7:9, 14, 15; 1 Kol.
1. Nekkemiya bwe yakomawo e Yerusaalemi, biki bye yasanga?
(Laba ekifaananyi waggulu.)
2. Isiraeri yafuuka etya eggwanga ettukuvu?
3. Nekkemiya we yakomerawo mu Yerusaalemi omulundi ogw’okubiri, Abayudaaya baali batwala batya okusinza okw’amazima?
4. Bintu ki bye tugenda okulaba ebinaatuyamba okusigala nga
tuli batukuvu mu maaso ga Yakuwa?
3
6:11) Abaisiraeri baafiirwa enkolagana yaabwe ne Yakuwa olw’okuba baalemererwa
okusigala nga batukuvu. Tetwagala ekyo kututuukako. Kiki ekiyinza okutuyamba okusigala nga tuli batukuvu era nga tusiimibwa mu
maaso ga Yakuwa? Mu Nekkemiya essuula 13
tugenda kulaba ebintu bina ebinaatuyamba:
(1) Okwewala emikwano emibi; (2) okuwagira
omulimu gwa Yakuwa; (3) okukulembeza ebintu eby’omwoyo; ne (4) okunywerera ku mitindo gy’Ekikristaayo. Kati ka twetegereze ebintu ebyo.
OKWEWALA EMIKWANO EMIBI
Soma Nekkemiya 13:4-9. Olw’okuba twetooloddwa abantu ababi, si kyangu kusigala
nga tuli batukuvu. Lowooza ku Eriyasibu ne
Tobiya. Eriyasibu yali kabona asinga obukulu,
ate Tobiya yali Mwamoni era nga kirabika yali
muweereza wa kabaka wa Buperusi mu Buyudaaya. Emabegako, Tobiya ne banne baali bagezezzaako okuziyiza Nekkemiya okuzimba
bbugwe wa Yerusaalemi. (Nek. 2:10) Abaamoni baali tebakkirizibwa kusemberera yeekaalu. (Ma. 23:3) Kati olwo lwaki Eriyasibu yakkiriza Tobiya okukozesa ekisenge ekiriirwamu
mu yeekaalu?
6 Tobiya yali afuuse mukwano gwa Eriyasibu ow’oku lusegere. Tobiya ne mutabani we
Yekokanani baali bawasizza abakazi Abayudaaya, era Abayudaaya bangi baali boogera bulungi ku Tobiya. (Nek. 6:17-19) Omu
ku bazzukulu ba Eriyasibu yawasa muwala wa Sanubalaati, eyali gavana wa Samaliya,
ate nga Sanubalaati yali mukwano gwa Tobiya. (Nek. 13:28) Ebyo biyinza okuba nga bye
byaleetera Kabona Asinga Obukulu Eriyasibu okukkiriza omusajja ataali muweereza wa
Yakuwa era eyali aziyiza omulimu gw’abantu
ba Katonda okumukozesa ekintu ekikyamu.
Kyokka ye Nekkemiya yakiraga nti yali anyweredde ku mateeka ga Yakuwa bwe yasuula
ebintu bya Tobiya byonna ebweru.
5
5, 6. Eriyasibu ne Tobiya baali baani, era lwaki Eriyasibu yali mukwano gwa Tobiya?
4
Okuva bwe kiri nti twewaayo eri Katonda,
tulina okuba abeesigwa gy’ali okusinga okuba
abeesigwa eri omuntu omulala yenna. Okusobola okusigala nga tuli batukuvu mu maaso
ge, tulina okunywerera ku mitindo gye egy’obutuukirivu. Tetulina kukkiriza nkolagana gye
tulina n’ab’eanda zaffe kutuleetera kusambajja misingi gya Bayibuli. Abakadde bwe
baba balina kye basalawo, bafuba okumanya
endowooza Yakuwa gy’alina ku kintu ekyo mu
kifo ky’okukolera ku magezi gaabwe. (1 Tim.
5:21) Abakadde beewala okukola ekintu kyonna ekiyinza okubaleetera okufiirwa enkolagana yaabwe ne Katonda.—1 Tim. 2:8.
8 Tusaanidde okukijjukira nti “emikwano
emibi gyonoona empisa ennungi.” (1 Kol.
15:33) Abamu ku b’eanda zaffe bayinza
okutuleetera okukola ebintu ebibi. Mu kusooka Eriyasibu yali muntu mulungi era yayamba
nnyo Nekkemiya bwe yali azimba bbugwe wa
Yerusaalemi. (Nek. 3:1) Kyokka oluvannyuma, Tobiya n’abantu abalala baaleetera Eriyasibu okukola ebintu ebibi, ebyamufuula atali
mutukuvu mu maaso ga Yakuwa. Emikwano
emirungi gitukubiriza okukola ebintu ebirungi, gamba ng’okusoma Bayibuli, okugenda
mu nkuaana, n’okubuulira. Tusiima nnyo
ab’eanda zaffe abatukubiriza okukola ebintu ebirungi.
7
OKUWAGIRA OMULIMU GWA YAKUWA
Soma Nekkemiya 13:10-13. Kirabika Nekkemiya we yaddirayo e Yerusaalemi abantu baali tebakyawaayo kuwagira mirimu gya
yeekaalu. Olw’okuba Abaleevi baali tebakyaweebwa mugabo gwabwe, baasalawo okuva ku mirimu gyabwe ne bagenda okukola mu nnimiro zaabwe. Nekkemiya yanenya
abakulu olw’embeera eyo. Kirabika baali balagajjalidde omulimu gwabwe. Bayinza okuba
9
7. Kiki abantu ba Katonda bonna, nga mw’otwalidde n’abakadde, kye bafuba okukola okusobola
okusigala nga batukuvu mu maaso ga Yakuwa?
8. Bwe kituuka ku bantu be tufuula mikwano gyaffe, kiki ffenna kye tusaanidde okujjukira?
9. Lwaki emirimu gya yeekaalu gyali tegitambula
bulungi, era baani Nekkemiya be yanenya?
OMUNAALA GW’OMUKUUMI
nga baali tebakyakuaanya kimu kya kkumi oba nga tebakyakiweereza mu yeekaalu,
nga bwe baalina okukola. (Nek. 12:44) Bwe kityo, Nekkemiya yakola enteekateeka okulaba
nti ekimu eky’ekkumi kiddamu okukuaanyizibwa. Yalonda abasajja abeesigwa okulabirira amaterekero ga yeekaalu n’okukakasa
nti Abaleevi baweebwa omugabo gwabwe.
10 Ekyo kituyigiriza ki? Kituyigiriza nti ffenna tulina enkizo okussaamu Yakuwa ekitiibwa nga tumuwa ku bintu byaffe eby’omuwendo. (Nge. 3:9) Bwe tubaako kye tuwaddeyo
okuwagira omulimu gwa Yakuwa, tuba tumuwadde ku bibye. (1 Byom. 29:14-16) Tuyinza
okulowooza nti tetulina kya maanyi kye tusobola kuwaayo, naye bwe tuba nga ddala twagala okubaako kye tuwaayo, ffenna tusobola
okubaako kye tuwaayo.—2 Kol. 8:12.
11 Okumala emyaka mingi, waliwo amaka agamu agaayanirizanga ow’oluganda omu
ne mukyala we bannamukadde era abaali baweereza nga payoniya ab’enjawulo okuliirangako awamu nabo emmere omulundi gumu
buli wiiki. Wadde nga mu maka ago mwalimu
abaana munaana, maama waabwe yateranga
okugamba nti, ‘Okuva bwe kiri nti mbadde
nfumba emmere ya bantu kkumi, okwongerako ey’abantu ababiri si kizibu.’ Ekyo kirabika ng’ekintu ekitono, naye bapayoniya abo
bateekwa okuba nga baasiima nnyo ab’omu
maka ago! Ab’omu maka ago nabo baaganyulwa mu kubeerangako awamu ne bapayoniya
abo. Ebyo bapayoniya abo bye baayogeranga
byayamba abaana b’omu maka ago okukulaakulana mu by’omwoyo. Oluvannyuma, abaana abo bonna baayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna.
12 Ekintu ekirala kye tuyiga kye kino: Okufaananako Nekkemiya, abo abatwala obukulembeze mu kibiina basaanidde okussaawo
ekyokulabirako ekirungi mu kuwagira omulimu gwa Yakuwa. Ekyo kiganyula nnyo abalala
10, 11. Tuyinza tutya okuwagira okusinza okw’amazima?
12. Kyakulabirako ki ekirungi abo abatwala obukulembeze mu kibiina kye bateekawo?
AGUSITO 15, 2013
Nekkemiya yalaga atya nti yali
anyweredde ku mateeka ga Yakuwa?
(Laba akatundu 5, 6)
mu kibiina. Mu kukola batyo, abakadde baba
bakoppa ekyokulabirako kya Pawulo. Yawagira okusinza okw’amazima era yawa bakkiriza
banne amagezi ku ngeri gye bayinza okukola enteekateeka okubaako kye bawaayo okuwagira okusinza okw’amazima.—1 Kol. 16:1-3;
2 Kol. 9:5-7.
OKUKULEMBEZA EBINTU EBY’OMWOYO
13 Soma Nekkemiya 13:15-21. Bwe tumalira ebiseera byaffe ku kulowooza ku by’obugagga oba ku kwenoonyeza eby’obugagga,
tusobola okufiirwa enkolagana yaffe ne Yakuwa. Okusinziira ku Okuva 31:13, Ssabbiiti eya
buli wiiki yajjukizanga Abaisiraeri nti baali
13. Abayudaaya abamu baakiraga batya nti baali
tebassa kitiibwa mu Ssabbiiti?
5
bantu abatukuziddwa. Olunaku lwa Ssabbiiti Abaisiraeri baalina okulukozesa okusinza
ng’amaka, okusaba, n’okufumiitiriza ku Mateeka ga Katonda. Naye Abaisiraeri abamu
abaaliwo mu kiseera kya Nekkemiya, olunaku lwa Ssabbiiti baali balutwala ng’olunaku olulala lwonna, nga balukolerako bizineesi. Okusinza Katonda si kye kintu kye baali
bakulembeza mu bulamu bwabwe. Bwe kityo, Nekkemiya yagoba abasuubuzi bonna
abagwira era n’alagira emiryango gy’ekibuga
giggalwe ng’olunaku lwa Ssabbiiti terunnatandika.
14 Kiki kye tuyigira ku Nekkemiya? Ekimu
ku ebyo bye tuyiga kiri nti singa tumala ebiseera bingi nga tunoonya ssente, tusobola okuwugulibwa okuva ku bintu eby’omwoyo. Omulimu gwaffe gusobola okutuwugula naddala
singa tuba tugwagala nnyo. Naye tusaanidde
okukijjukira nti Yesu yagamba nti tetusobola
kubeera baddu ba baami babiri. (Soma Matayo 6:24.) Nekkemiya yali asobola okukola ssente nnyingi ng’ali mu Yerusaalemi era yali
asobola okukola bizineesi n’Abatuulo oba n’abasuubuzi abalala. Naye yakozesa atya ebiseera bye? (Nek. 5:14-18) Yakozesa ebiseera bye
okuyamba baganda be n’okukola ebintu ebyandireetedde erinnya lya Yakuwa okutukuzibwa. Mu ngeri y’emu leero, abakadde n’abaweereza mu kibiina bakozesa ebiseera byabwe
n’amaanyi gaabwe okuyamba ekibiina, era
bakkiriza bannaabwe babaagala nnyo olw’omwoyo omulungi gwe balaga. N’ekivuddemu,
abantu ba Katonda baagalana, bali mu mirembe, era balina obukuumi.—Ez. 34:25, 28.
15 Wadde ng’Abakristaayo tekibeetaagisa
kukwata Ssabbiiti eya buli wiiki, Pawulo yagamba nti “wakyasigaddeyo ekiwummulo kya
ssabbiiti eri abantu ba Katonda.” Era yagattako nti: “Omuntu ayingidde mu kiwummulo
kya Katonda naye kennyini aba awumudde
emirimu gye, nga ne Katonda bwe yawummula egigye.” (Beb. 4:9, 10) Tusobola okuyingi-
ra mu kiwummulo kya Katonda nga tumugondera era nga tufuba okutuukanya obulamu
bwaffe n’ekigendererwa kye. Ggwe awamu
n’ab’omu maka go okusinza kw’amaka, okubaawo mu nkuaana, n’okubuulira, bye mukulembeza mu bulamu bwammwe? Bakama
baffe oba abo be tukola nabo bizineesi bayinza okuba ng’ebintu ebyo tebabitwala ng’ekikulu. Bwe kityo, kiyinza okutwetaagisa okuba
abavumu ne tubalaga nti ebintu eby’omwoyo
bye tutwala ng’ekintu ekisinga obukulu mu
bulamu bwaffe. Bwe tukola bwe tutyo, tuba
nga Nekkemiya eyagoba Abatuulo era n’aggala emiryango gy’ekibuga. Yakiraga nti Yakuwa
gwe yali akulembeza mu bulamu bwe. Okuva bwe kiri nti tuli bantu abatukuziddwa, buli
omu ku ffe asaanidde okwebuuza, ‘Ebyo bye
nkola biraga nti Yakuwa gwe nkulembeza mu
bulamu bwange?’—Mat. 6:33.
14, 15. (a) Kiki ekiyinza okututuukako singa tumala ebiseera bingi nga tunoonya ssente? (b) Tuyinza tutya okuyingira mu kiwummulo kya Katonda?
16. Mu kiseera kya Nekkemiya, kiki ekyali kige-
6
NYWERERA KU MITINDO GY’EKIKRISTAAYO
Soma Nekkemiya 13:23-27. Mu kiseera
kya Nekkemiya, abasajja Abaisiraeri baali bawasa abakazi ab’amawanga amalala. Ku mulundi Nekkemiya lwe yasooka okugenda e
Yerusaalemi, yakozesa abakadde bonna endagaano obutawasa bakazi ab’amawanga amalala. (Nek. 9:38; 10:30) Naye Nekkemiya bwe
yaddayo e Yerusaalemi omulundi ogw’okubiri, yasanga abasajja Abayudaaya bawasizza
abakazi abagwira era nga banaatera okufiirwa enkizo gye baalina ng’abantu ba Katonda ab’enjawulo. Era abaana be baali bazadde baali tebasobola kusoma Lwebbulaniya
wadde okulwogera. Abaana abo bwe bandikuze, bandibadde beetwala okuba Abaisiraeri? Oba bandibadde beetwala okuba Abasudodi, Abaamoni, oba Abamowaabu? Okuva
bwe kiri nti baali tebamanyi Lwebbulaniya,
bandisobodde okutegeera Amateeka ga Katonda? Bandisobodde batya okutegeera Yakuwa
era ne basalawo okumuweereza mu kifo ky’okuweereza bakatonda ab’obulimba bamaama
16
nda okuleetera Abaisiraeri okufiirwa enkizo gye
baalina ng’abantu ba Katonda ab’enjawulo?
OMUNAALA GW’OMUKUUMI
baabwe be baasinzanga? Nekkemiya alina kye
yakolawo mu bwangu okulaba nti Abaisiraeri
basigala nga batukuvu mu maaso ga Katonda.
—Nek. 13:28.
17 Leero, tulina okubaako kye tukolawo
okusobola okuyamba abaana baffe okuyiga amazima n’okuganywereramu. Abazadde,
mwebuuze, ‘Abaana bange bategeera bulungi
“olulimi olulongoofu,” nga gano ge mazima
agali mu Byawandiikibwa? (Zef. 3:9) Ebyo bye
banyumyako biraga nti bakulemberwa mwoyo gwa Katonda oba mwoyo gwa nsi?’ Toggwamu maanyi bw’okiraba nti abaana bo beetaaga
okubaako enkyukakyuka ze bakola. Kijjukire nti okuyiga olulimi kitwala ekiseera, naddala nga waliwo ebitawaanya. Mu nsi mulimu
ebintu bingi ebiyinza okuwugula abaana bammwe. N’olwekyo, mukozese ekiseera eky’Okusinza kw’Amaka oba akakisa akalala konna
okuyamba abaana bammwe okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. (Ma. 6:6-9)
Mubalage emiganyulo egiri mu kwewala okwefaananyiriza ensi ya Sitaani. (Yok. 17:15-17) Era
mufube okutuuka ku mitima gyabwe.
18 Kya lwatu nti buli mwana y’alina okwesalirawo obanga anaaweereza Katonda oba
nedda. Wadde kiri kityo, abazadde balina kinene kye basobola okukolawo okubayamba.
Abazadde basaanidde okuteerawo abaana
baabwe ekyokulabirako ekirungi, okubabuulira ebintu bye balina okwewala, era n’okubayamba okumanya ebizibu bye bayinza
okufuna singa basalawo bubi. Abazadde, buvunaanyizibwa bwammwe okuyamba abaana
bammwe okukulaakulana ne basobola okwewaayo eri Yakuwa. Mwetaaga okubayamba
okuyiga amazima n’okuganywereramu. Kya
lwatu nti ffenna twetaaga okukuuma ‘ebyambalo byaffe eby’okungulu,’ nga gino gye mitindo gy’empisa egitwawulawo ng’abagoberezi ba Kristo.—Kub. 3:4, 5; 16:15.
17. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana
baabwe okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa?
18. Lwaki abazadde Abakristaayo be balina obuvunaanyizibwa obusooka obw’okuyamba abaana
baabwe okukulaakulana ne beewaayo eri Yakuwa?
AGUSITO 15, 2013
Muyambe abaana bammwe okuba
n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa
(Laba akatundu 17, 18)
YAKUWA AJJA KUTUJJUKIRA
‘ATUKOLERE EBIRUNGI’
Nnabbi Malaki, omu ku bantu abaaliwo
mu kiseera kya Nekkemiya, yagamba nti Yakuwa ajjukira ‘abo abamutya era abalowooza
erinnya lye,’ era nti amannya gaabwe agateeka mu ‘kitabo eky’okujjukiza.’ (Mal. 3:16, 17)
Katonda tasobola kwerabira abo bonna abamutya era abaagala erinnya lye.—Beb. 6:10.
20 Nekkemiya yasaba nti: “Onzijukiranga,
ai Katonda wange, okunkola obulungi.” (Nek.
13:31) Okufaananako Nekkemiya, naffe amannya gaffe gajja kuwandiikibwa mu kitabo kya Katonda eky’okujjukiza singa tufuba
okwewala emikwano emibi, era singa tufuba okuwagira omulimu gwa Yakuwa, okukulembeza ebintu eby’omwoyo, n’okunywerera ku mitindo gy’Ekikristaayo. Ka tweyongere
‘okwekeberanga okulaba obanga tuli mu kukkiriza.’ (2 Kol. 13:5) Singa tufuba okusigala
nga tuli batukuvu mu maaso ga Yakuwa, ajja
kutujjukira era ‘atukolere ebirungi.’
19
19, 20. Bwe tuba twagala Yakuwa okutujjukira era
‘atukolere ebirungi,’ kiki kye tulina okukola?
7
EBIBUUZO EBIVA MU BASOMI
Kiba kituufu abazadde Abakristaayo okutuula awamu n’omwana
waabwe eyagobebwa mu kibiina nga bazze mu nkuaana?
ˇ Tewali nsonga lwaki tusaanidde okufaayo ennyo ku kifo ki omuntu eyagobebwa
mu kibiina w’atuula ng’azze mu nkuaana. Magazini eno emaze ebbanga ng’ekubiriza abazadde Abakristaayo okufuba
okuyamba abaana baabwe mu by’omwoyo
ababa bagobeddwa mu kibiina be bakyabeera nabo awaka, singa ekyo kiba kisaana. Nga bwe kiragibwa mu Watchtower eya
Noovemba 15, 1988, olupapula 19 ne 20,
abazadde basobola n’okuyigiriza Bayibuli
omwana waabwe aba agobeddwa mu kibiina akyabeera nabo awaka.1 Kisuubirwa
nti omwana ng’oyo asobola okuzzibwamu
amaanyi n’akyusa amakubo ge.
Tekiba kikyamu omwana aba agobeddwa mu kibiina okutuula awamu ne bazadde be mu nkuaana ng’asirise. Okuva bwe kiri nti si kya tteeka muntu aba
agobeddwa mu kibiina kutuula mabega
mu Kizimbe ky’Obwakabaka, tekiba kikyamu singa omwana eyagobebwa mu kibiina atuula wamu ne bazadde be wonna we baba batudde. Okuva bwe kiri
nti abazadde basaanidde okuyamba
omwana waabwe mu by’omwoyo, bafuba okulaba nti aganyulwa mu bujjuvu mu ebyo ebiyigirizibwa mu nkuaana. Omwana waabwe bw’atuula awamu
nabo, baba basobola okumuyamba okusinga bw’aba ng’atudde yekka.
Watya singa omwana eyagobebwa mu
kibiina aba takyabeera wamu na bazadde
be? Kiba kitegeeza nti aba tasobola kutuula wamu na bazadde be nga bali mu nkuaana? Magazini y’Omunaala gw’Omu1 Omwana ayogerwako mu kitundu kino y’oyo atannaweza myaka 18.
8
kuumi ezze eraga engeri Abakristaayo gye
basaanidde okuyisaamu ab’eanda zaabwe ababa bagobeddwa mu kibiina naye
nga tebabeera nabo waka.1 Kyokka, omuntu aba agobeddwa mu kibiina okutuula awamu n’ab’eanda ze mu nkuaana
ng’asirise kya njawulo nnyo ku kukolagana naye nga tekyetaagisa. Bwe kiba nti
ab’eanda z’omuntu oyo abeesigwa bafuba okukolera ku bulagirizi obuli mu Byawandiikibwa obukwata ku ngeri y’okukolaganamu n’abo ababa bagobeddwa mu
kibiina, tewali nsonga lwaki twandifuddeyo ku kifo ki omuntu oyo ky’atuulamu
ng’azze mu nkuaana.—1 Kol. 5:11, 13;
2 Yok. 11.
Omuntu eyagobebwa mu kibiina bw’atuula okumpi n’ow’eanda ze oba okumpi n’ow’oluganda omulala yenna mu kibiina, tekiba kikyamu, kasita omuntu oyo
aba ng’akolera ku bulagirizi obukwata ku
abo ababa bagobeddwa mu kibiina. Okugaana omuntu okutuula wonna w’aba ayagadde ng’azze mu nkuaana, kiyinza
okuleetawo obuzibu obutali bumu. Bwe
kiba nti abo bonna ababa bazze mu nkuaana, nga mw’otwalidde n’ab’eanda
z’omuntu eyagobebwa mu kibiina abeesigwa, bafuba okukolera ku misingi gya
Bayibuli egikwata ku ngeri y’okuyisaamu omuntu aba agobeddwa mu kibiina
era nga tewali muntu yenna gwe beesittaza, tewabaawo nsonga lwaki twandifuddeyo nnyo ku kifo omuntu w’alina okutuula
ng’azze mu nkuaana.2
1 Laba Watchtower eya Ssebutemba 15, 1981, olupapula 29 ne 30.
2 Kino kikyusa mu ebyo ebyafulumira mu Watchtower eya Apuli 1, 1953, olupapula 223.
OMUNAALA GW’OMUKUUMI
Nnazaalibwa mu 1956, era nnazaalibwa nnina ekizibu ku nkizi, ekintu
ekyakosa ennyo obusimu bwange obw’omubiri. Ekyo kyandeetera okuba
nga sisobola kutambula bulungi era ne kindeetera n’obulwadde obulala
obw’amaanyi.
Bazadde bange baatandika okuyiga Bayibuli n’abaminsani Abajulirwa ba
Yakuwa nga sinnazaalibwa. Nnakulira mu kibuga Usakos ekya Namibia. Mu
kiseera ekyo waaliyo Abajulirwa batono nnyo. Bwe kityo ebintu ebyalinanga
okusomebwa mu nkuaana twabisomeranga waka. Bwe nnali wa myaka
musanvu, abasawo bannongoosa ne bampummulamu ekituli nsobole okufulumya omusulo. Bwe nnali wa myaka 14, nnalwala obulwadde bw’ensimbu. Okuva bwe kiri nti essomero lya siniya mwe nnali nnyinza okusomera
lyali wala nnyo okuva awaka, ate nga nnali nneetaaga bazadde bange okundabirira buli kiseera, saamalako misomo gyange.
Wadde kyali kityo, nnafuba okunyweza enkolagana yange ne Yakuwa. Mu
kiseera ekyo ebitabo byaffe ebisinga obungi tebyali mu Afrikaans, olulimi
lwange. Bwe kityo, nnatandika okuyiga okusoma Olungereza nsobole okusoma ebitabo byaffe byonna. Bwe nnali wa myaka 19, nnafuuka omubuulizi era ne mbatizibwa. Mu myaka ena egyaddirira, nnatawaanyizibwa nnyo
obulwadde era ne mpulira nga nnennyamidde. Ate era, olw’okuba mu kitundu gye twali tubeera abantu baali bammanyi nnyo, okutya abantu kwannemesa okubuulira n’obunyiikivu.
Bwe nnali sinnaweza myaka 25, twava e Namibia ne tugenda okubeera
mu South Africa, era twatandika okukuaana awamu n’ekibiina. Nnasanyuka nnyo okutandika okukuaana awamu n’ekibiina! Kyokka, nnaddamu
okulongoosebwa. Ku mulundi guno abasawo bampummula ekituli eky’okufulumizaamu obubi.
Lumu omulabirizi w’ekitundu bwe yakyalira ekibiina kyaffe, yatukubiriza
okulowooza ku ky’okuweereza nga bapayoniya. Bye yayogera byankwatako
nnyo. Nnali nkimanyi nti engeri gye nnina obulwadde obw’amaanyi, tekyandinnyanguyidde kuweereza nga payoniya. Naye olw’okuba nnali ndabye
engeri Yakuwa gye yali annyambyemu mu biseera ebizibu, nnasalawo okujjuza foomu esaba okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Kyokka, olw’okuba
abakadde baali bamanyi embeera y’obulamu bwange, baasooka kugaana
okunzikiriza.
Wadde kyali kityo, nnafuba okwongera ku biseera bye nnali mmala nga
mbuulira. Maama awamu n’ab’oluganda abalala bannyamba nnyo ne nsobola okubuulira essaawa ng’eza bapayoniya okumala emyezi mukaaga.
Ekyo kyalaga nti nnali mmaliridde okuweereza nga payoniya era nti obulwadde bwange bwali tebusobola kunnemesa. Nnaddamu okujjuza foomu esaba okuweereza nga payoniya, era ku luno abakadde banzikiriza. Nga Ssebutemba 1, 1988, nnatandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo.
Yakuwa annyambye nnyo nga mpeereza nga payoniya. Okumala ebiseera
bingi nga njigiriza abantu amazima, kinnyambye obutamalira birowoozo byange ku bulwadde bwange era kinnyambye okukulaakulana mu by’omwoyo.
Ndi musanyufu nnyo okuba nti nsobodde okuyamba abantu bangi okukulaakulana ne beewaayo eri Yakuwa era ne babatizibwa.
Nkyatawaanyizibwa obulwadde. Naye Yakuwa ‘ansitulira omugugu gwange buli lunaku.’ (Zab. 68:19) Ng’oggyeko okunnyamba okugumira obulwadde bwange, Yakuwa annyambye okufuna essanyu!
AGUSITO 15, 2013
Maretha du Raan
Yakuwa
‘Ansitulira
Omugugu
Gwange Buli
Lunaku’
Wadde nga nnina obulwadde obw’amaanyi, Kitaffe ow’omu ggulu annyambye nnyo. Kati mazze
emyaka egisukka mu 20
nga mpeereza nga payoniya, era ekyo kindeetedde
essanyu lingi.
9
‘ TONYIIGIRANGA
YAKUWA’
“Obusirusiru bw’omuntu bwe buvuunika
ekkubo lye; n’omutima
gwe gunyiigira Mukama.”—NGE. 19:3.
WANDIZZEEMU OTYA?
Kiki ekiyinza okutuleetera ‘okunyiigira Yakuwa’?
Bintu ki ebitaano ebiyinza okutuyamba okwewala ‘okunyiigira
Yakuwa’?
Bwe tufuna ebizibu, kiki kye tusaanidde okujjukira?
10
LOWOOZA ku musajja amaze emyaka mingi mu bufumbo era nga ye ne mukyala we bakolagana bulungi.
Lumu akomawo awaka n’asanga ng’ebintu eby’omu
nnyumba ye byonna byonooneddwa. Emmeeza n’entebe bimenyesemenyese era amasowaani n’ebikoppa
byatiseyatise. Olowooza ayinza okugamba nti mukyala
we y’akoze ekintu ekyo? Nedda. Lwaki? Kubanga aba
akimanyi nti mukyala we omwagalwa tayinza kwonoona bintu byabwe.
2 Leero, ensi eyonooneddwa nnyo, era ejjudde ettemu n’ebikolwa eby’obugwenyufu. Bayibuli etuyambye
okukitegeera nti Yakuwa si y’aleeta ebizibu ebiri mu
nsi. Yatonda ensi eno ng’ayagala ebeere olusuku olulabika obulungi ennyo. (Lub. 2:8, 15) Yakuwa ye Katonda
ow’okwagala. (1 Yok. 4:8) Ebyawandiikibwa biraga nti
Sitaani Omulyolyomi ye ‘mufuzi w’ensi’ eno era nti ye
nsibuko y’ebizibu ebisinga obungi ebiri mu nsi leero.
—Yok. 14:30; 2 Kol. 4:4.
3 Kyokka, tetusobola kunenya Sitaani olw’ebizibu
byonna ebiri mu nsi. Lwaki? Kubanga ebizibu ebimu
biva ku nsobi ze tukola. (Soma Ekyamateeka 32:4-6.)
Tuyinza okugamba nti ekyo tukimanyi. Kyokka olw’okuba tetutuukiridde, oluusi bwe tufuna ebizibu tuyinza
okufuna endowooza enkyamu, ekintu eky’akabi ennyo
gye tuli. (Nge. 14:12) Mu ngeri ki? Mu kifo ky’okwenenya oba okunenya Sitaani olw’ebizibu bye tuba tufunye, tuyinza okutandika okunenya Yakuwa. Mu butuufu, tuyinza ‘n’okunyiigira Yakuwa.’—Nge. 19:3.
4 Ddala tusobola ‘okunyiigira Yakuwa’? Okunyiigi1, 2. Lwaki tetusaanidde kunenya Yakuwa olw’ebizibu ebiri mu
nsi? Waayo ekyokulabirako.
3. Bwe tufuna ebizibu, ndowooza ki enkyamu gye tuyinza okufuna?
4, 5. Omukristaayo ayinza atya ‘okunyiigira Yakuwa’?
OMUNAALA GW’OMUKUUMI
ra Yakuwa tekisobola kutuviiramu kalungi
konna. (Is. 41:11) Omuwandiisi w’ebitontome omu yagamba nti: ‘Tewali asobola
kulwana na Katonda n’amuwangula.’ Kyo
kituufu nti tuyinza obutayogera nti tunyiigidde Yakuwa. Naye Engero 19:3 wagamba
nti: “Obusirusiru bw’omuntu bwe buvuunika ekkubo lye; n’omutima gwe gunyiigira Mukama.” Ekyo kiraga nti omuntu asobola okunyiigira Katonda mu mutima gwe.
Kino kiyinza okweyolekera mu bintu omuntu by’akola. Ng’ekyokulabirako, omuntu
bw’anyiigira Yakuwa, asobola okuddirira
mu buweereza bwe oba okulekera awo okugenda mu nkuaana.
5 Kiki ekiyinza okutuleetera ‘okunyiigira
Yakuwa’? Tuyinza tutya okwewala ‘okunyiigira Yakuwa’? Twetaaga okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo, kubanga ekyo kijja kutuyamba okukuuma enkolagana yaffe
ne Yakuwa Katonda.
KIKI EKIYINZA OKUTULEETERA
‘OKUNYIIGIRA YAKUWA’?
Kiki ekiyinza okuleetera omuweereza
wa Yakuwa omwesigwa okutandika okwemulugunya ku Katonda? Mu kitundu kino
tugenda kulaba ebintu bitaano ebiyinza
okutuleetera okunyiigira Yakuwa, era tulabe n’ebyokulabirako eby’abamu ku bantu aboogerwako mu Bayibuli abaagwa mu
mutego ogwo.—1 Kol. 10:11, 12.
7 Ebigambo ebimalamu amaanyi. (Soma
Ekyamateeka 1:26-28.) Lowooza ku bintu
Yakuwa bye yakolera Abaisiraeri. Yaleeta ebibonoobono kkumi ku Misiri era oluvannyuma n’azikiriza Falaawo n’eggye lye
mu Nnyanja Emmyufu, bw’atyo n’anunula Abaisiraeri okuva mu buddu. (Kuv. 12:
29-32, 51; 14:29-31; Zab. 136:15) Abantu
ba Katonda baali banaatera okuyingira mu
Nsi Ensuubize. Kyokka mu kiseera ekyo,
6
6, 7. Kiki ekyaleetera Abaisiraeri abaaliwo mu kiseera kya Musa okwemulugunya ku Yakuwa?
AGUSITO 15, 2013
Abaisiraeri baatandika okwemulugunya ku
Yakuwa. Kiki ekyabaleetera obutaba na kukkiriza? Abakessi ekkumi baayogera bubi
ku nsi gye baali bava okuketta era ekyo
ne kitiisa nnyo Abaisiraeri ne baggwaamu amaanyi. (Kubal. 14:1-4) Biki ebyavaamu? Yakuwa teyakkiriza mulembe ogwo
kuyingira mu ‘nsi ennungi.’ (Ma. 1:34, 35)
Ekyo kituyigiriza ki? Kituyigiriza nti ebigambo ebimalamu amaanyi abalala bye boogera bisobola okunafuya okukkiriza kwaffe
ne bituleetera okutandika okwemulugunya
ku ngeri Yakuwa gy’akulemberamu abantu be.
8 Ebizibu bye tufuna biyinza okutumalamu amaanyi. (Soma Isaaya 8:21, 22.) Mu
kiseera kya Isaaya, abantu b’omu Yuda
beesanga mu mbeera enzibu. Baali beetooloddwa abalabe, tebaalina mmere emala, era bangi baali balumwa enjala. Kyokka baalina n’ekizibu ekirala eky’amaanyi
ennyo. Baali balumwa enjala ey’eby’omwoyo. (Am. 8:11) Mu kifo ky’okusaba Yakuwa
abayambe okuvvuunuka ebizibu bye baalina, baatandika ‘okukolimira’ kabaka waabwe ne Katonda waabwe. Baanenya Yakuwa olw’ebizibu bye baalina. Naffe bwe
tufuna ebizibu tutandika okunenya Yakuwa nga tugamba nti, ‘Yakuwa yali ludda wa
mu kiseera we nnali mwetaagira?’
9 Tetumanyi byonna bizingirwamu.
Olw’okuba Abaisiraeri abaaliwo mu kiseera kya Ezeekyeri baali tebamanyi byonna
bizingirwamu, baatandika okulowooza
nti amakubo ga Yakuwa ‘tegenkanankana.’ (Ez. 18:29) Bwe kityo, baali ng’abeeteereddewo emitindo egyabwe ku bwabwe
egy’obwenkanya era nga beefudde abalamuzi abalamula Yakuwa nga basinziira ku
8. Kiki ekyaleetera abantu ba Katonda abaaliwo
mu kiseera kya Isaaya okutandika okunenya Yakuwa olw’ebizibu bye baalina?
9. Lwaki Abaisiraeri abaaliwo mu kiseera kya
Ezeekyeri baafuna endowooza enkyamu?
11
Okuwuliriza ebigambo ebimalamu amaanyi kiyinza okukuleetera okunyiigira Yakuwa
(Laba akatundu 7)
mitindo gyabwe egyo. Singa wabaawo ekintu kye tuba tusomye mu Bayibuli ne tutakitegeera bulungi oba singa tuba tetutegeera nsonga lwaki ebintu ebimu bitutuukako,
naffe tunaatandika okulowooza nti amakubo ga Yakuwa si ga bwenkanya era nti ‘tegenkanankana’?—Yob. 35:2.
10 Okunenya abalala olw’ebibi bye tukola n’ensobi ze tukola. Omusajja eyasooka, Adamu, bwe yakola ekibi, yasalawo
okunenya Katonda. (Lub. 3:12) Wadde nga
Adamu yali amanyi bulungi ebyandivudde
mu kumenya etteeka lya Katonda, yasalawo okulimenya ate oluvannyuma n’anenya
Yakuwa. Mu ngeri endala, Adamu yali ng’agamba nti Yakuwa yamuwa omukazi omubi. Okuva olwo, wabaddewo abantu bangi
abeeyisizza nga Adamu ne banenya Katonda olw’ensobi ze bakola. Kati buli omu ku
ffe asaanidde okwebuuza, ‘Bwe nkola ensobi, ntandika okulowooza nti emitindo gya
Yakuwa mizibu okutambulirako?’
11 Okwerowoozaako ennyo. Yakuwa
10. Omuntu ayinza atya okweyisa nga Adamu?
11. Kiki kye tuyigira ku Yona?
12
bwe yalaga ekisa abantu b’e Nineeve, ekyo
nnabbi Yona tekyamusanyusa. (Yon. 4:1-3)
Lwaki? Oboolyawo yatya okuswala ng’ebintu bye yali ayogedde ku Nineeve tebituukiridde. Yona yeerowoozaako nnyo n’alemwa
okukwatirwa ekisa abantu b’e Nineeve
abaali beenenyezza. Kyandiba nti naffe
oluusi twerowoozaako nnyo ne tutuuka
‘n’okunyiigira Yakuwa’ olw’obutaleeta nkomerero mu bwangu? Bwe kiba nti tumaze
emyaka mingi nga tubuulira abantu nti olunaku lwa Yakuwa luli kumpi, tunaalekera
awo okuba abagumiikiriza nga waliwo abatuvumirira olw’okubabuulira ekyo Bayibuli
ky’egamba?—2 Peet. 3:3, 4, 9.
EBINAATUYAMBA ‘OBUTANYIIGIRA YAKUWA’
Kiki kye tuyinza okukola singa tutandika okulowooza nti engeri Yakuwa gy’akolamu ebintu si ntuufu? Tusaanidde okukijjukira nti si kya magezi okulowooza bwe
tutyo. Engero 19:3 walaga nti obutamanya busobola okutuleetera okunenya Yaku12
12, 13. Singa tutandika okulowooza nti engeri Yakuwa gy’akolamu ebintu si ntuufu, kiki kye tulina
okukola?
OMUNAALA GW’OMUKUUMI
wa olw’ebizibu bye tuba twereetedde. Kati
ka tulabe ebintu bitaano ebiyinza okutuyamba okwewala okunyiigira Yakuwa.
13 Okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa. Okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa kituyamba okwewala
okumunyiigira. (Soma Engero 3:5, 6.) Tusaanidde okwesiga Yakuwa. Era tetusaanidde kwetwala kuba ba magezi oba okwerowoozaako ennyo. (Nge. 3:7; Mub. 7:16)
Ekyo kijja kutuyamba obutanenya Yakuwa
olw’ebizibu bye tufuna.
14 Obutatwalirizibwa bigambo ebimalamu amaanyi. Abaisiraeri abaaliwo mu kiseera kya Musa baalina ensonga nnyingi
ezandibaleetedde okuba abakakafu nti Yakuwa yali asobola okubatuusa mu Nsi
Ensuubize. (Zab. 78:43-53) Naye ebigambo
ebimalamu amaanyi abakessi ekkumi abataali beesigwa bye baayogera byabaleetera
‘obutajjukira mukono’ gwa Yakuwa. (Zab.
78:42) Okufumiitiriza ku bintu ebirungi
enkumu Yakuwa by’atukoledde, kijja kutuyamba okunyweza enkolagana yaffe
naye. N’ekinaavaamu, ebigambo ebimalamu amaanyi abalala bye boogera tetujja kubikkiriza kutwawukanya ne Yakuwa.—Zab.
77:11, 12.
15 Watya singa tuba n’endowooza enkyamu ku bakkiriza bannaffe? Ekyo kiyinza
okutuleetera okufiirwa enkolagana yaffe ne
Yakuwa. (1 Yok. 4:20) Ng’ekyokulabirako,
Alooni bwe yalondebwa okuba kabona asinga obukulu, Abaisiraeri beemulugunya.
Naye Yakuwa yakitwala nti baali beemulugunya ku ye. (Kubal. 17:10) Mu ngeri y’emu,
singa tutandika okwemulugunya ku abo
Yakuwa b’alonze okutwala obukulembeze
mu kitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kye,
tuba twemulugunya ku Yakuwa.—Beb. 13:
7, 17.
Okukijjukira nti ebizibu bye tufuna
Yakuwa si y’abireeta. Wadde ng’Abaisiraeri abaaliwo mu kiseera kya Isaaya baali
bavudde ku Yakuwa, yali akyayagala okubayamba. (Is. 1:16-19) Ka tube nga tufunye kizibu ki, kituzzaamu amaanyi okukimanya nti Yakuwa atufaako era mwetegefu
okutuyamba. (1 Peet. 5:7) Mu butuufu,
asuubiza okutuwa amaanyi ge twetaaga
okusobola okugumira ebizibu bye tufuna.
—1 Kol. 10:13.
17 Yobu yabonaabona wadde nga yali
mwesigwa eri Yakuwa. Bwe tuba tubonaabona, tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa si y’aba atuleetedde okubonaabona. Yakuwa “ayagala obutuukirivu n’amazima.”
(Zab. 33:5) Tusaanidde okuba nga mukwano gwa Yobu, Eriku, eyali akimanyi nti Katonda tasobola ‘kukola bintu bibi era nti tasobola kukola bintu bitali bya butuukirivu.’
(Yob. 34:10) Yakuwa si y’atuleetera ebizibu.
Mu kifo ky’ekyo, atuwa “buli kirabo ekirungi na buli kitone ekituukiridde.”—Yak. 1:
13, 17.
18 Okwesiga Yakuwa. Yakuwa atuukiridde era ebirowoozo bye bya waggulu nnyo
ku byaffe. (Is. 55:8, 9) Okuba abeetoowaze kijja kutuyamba okukijjukira nti tetumanyi buli kimu. (Bar. 9:20) Emirundi egisinga tuba tetumanyi byonna bizingirwa mu
ekyo ekiba kibaddewo. Oyinza okuba nga
naawe okirabye nti ebigambo bino bituufu: “Oyo asooka okwanjula ensonga ayinza
okulabika ng’omutuufu, okutuusa omulala lw’ajja n’amulumiriza.”—Nge. 18:17, New
International Version.
19 Singa tuba ne mukwano gwaffe gwe
twesiga naye n’akola ekintu kye tutategedde oba ekitali kya bulijjo, twandyanguye
okulowooza nti ekintu ky’akoze kikyamu?
14, 15. Kiki ekinaatuyamba obutatwalirizibwa bi-
18, 19. Lwaki tusaanidde okwesiga Yakuwa? Waa-
gambo ebimalamu amaanyi abalala bye boogera?
yo ekyokulabirako.
AGUSITO 15, 2013
16
16, 17. Kiki kye tusaanidde okujjukira nga tufunye
ebizibu?
13
ekyo atuwadde ebintu ebisobola okutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. N’olwekyo, bwe tukola ensobi ne tufuna ebizibu, tetusaanidde kunenya Mutonzi waffe.
21 Kya lwatu nti ebizibu byonna bye tufuna tebiva ku nsobi ze tukola. Ebimu tubifuna olw’okuba “ebiseera n’ebigambo” ffenna
bitugwira bugwizi. (Mub. 9:11) Ate era tusaanidde okukijjukira nti ebizibu ebisinga
obungi ebiri mu nsi, Sitaani Omulyolyomi
y’abireeta. (1 Yok. 5:19; Kub. 12:9) Sitaani
ye mulabe waffe, so si Yakuwa!—1 Peet. 5:8.
ENKOLAGANA YO NE YAKUWA GITWALE
NGA YA MUWENDO
Bw’ofuna ebizibu, jjukiranga Yoswa
ne Kalebu. Obutafaananako abakessi ekkumi, Yoswa ne Kalebu baayogera bulungi ku
Nsi Ensuubize. (Kubal. 14:6-9) Baakiraga nti
baalina okukkiriza okw’amaanyi mu Yakuwa. Wadde kyali kityo, baalina okubundabundira mu ddungu okumala emyaka 40
awamu n’Abaisiraeri abalala. Yoswa ne Kalebu beemulugunya oba baanyiiga nga bawulira nti ekyo tekyali kya bwenkanya? Nedda. Beesiga Yakuwa, era yabawa emikisa.
Wadde ng’Abaisiraeri abasinga obungi baafiira mu ddungu, Yakuwa yasobozesa Yoswa ne Kalebu okuyingira mu Nsi Ensuubize. (Kubal. 14:30) Mu ngeri y’emu, Yakuwa
ajja kutuwa emikisa singa tufuba okukola
by’ayagala.—Bag. 6:9; Beb. 6:10.
23 Bw’owulira ng’oweddemu amaanyi
olw’ebizibu by’olina, olw’ensobi z’okola,
oba olw’ensobi z’abalala, kiki ky’osaanidde
okukola? Fumiitiriza ku ngeri za Yakuwa
ez’ekitalo. Lowooza ku ssuubi Yakuwa ly’atuwadde. Weebuuze, ‘Obulamu bwange
bwandibadde butya awatali Yakuwa?’ Bulijjo weeyongere okunyweza enkolagana yo
ne Yakuwa era tomunyiigiranga!
22
Yoswa ne Kalebu baafuna
emikisa olw’okwesiga Yakuwa
(Laba akatundu 22)
Nedda. Mu kifo ky’ekyo, twandikitutte nti
oboolyawo tetumanyi byonna bizingirwamu. Bwe kiba nti tuli beetegefu okukwata
mikwano gyaffe abatatuukiridde mu ngeri
eyo, olowooza tetwandisinzeewo nnyo
okwesiga Kitaffe ow’omu ggulu, Oyo alina
ebirowoozo n’amakubo ebisingira ewala ku
byaffe.
20 Okunenya oyo asaanidde okunenyezebwa. Tusaanidde okukijjukira nti ebiseera ebimu ebizibu bye tufuna ffe tuba tubyereetedde. (Bag. 6:7) Togezaako kunenya
Yakuwa olw’ebizibu by’oba ofunye. Lwaki
tosaanidde kumunenya? Lowooza ku kyokulabirako kino: Singa omuntu aba avuga emmotoka n’asalawo okuweta ekkoona
ku sipiidi ey’amaanyi era n’afuna akabenje, aba mutuufu okunenya oyo eyagikola?
Nedda! Mu ngeri y’emu, Yakuwa atuwadde
eddembe ly’okwesalirawo. Okugatta ku
20, 21. Lwaki tetusaanidde kunenya Yakuwa
olw’ebizibu bye tufuna?
14
22, 23. Bwe tuwulira nga tuweddemu amaanyi
olw’ebizibu bye tufuna kiki kye tusaanidde okujjukira?
OMUNAALA GW’OMUKUUMI
BAYIBULI egamba nti: “Laba! Abaana busika okuva eri Yakuwa; ekibala ky’olubuto mpeera okuva gy’ali.” (Zab. 127:3,
NW ) N’olwekyo, tekyewuunyisa nti abazadde Abakristaayo basanyuka nnyo nga bazadde omwana.
Wadde ng’okuzaala omwana kireeta essanyu, abo ababa
bamuzadde bafuna obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. Omwana bw’aba ow’okukula obulungi, aba yeetaaga okulyanga
emmere erimu ekiriisa. Mu ngeri y’emu, omwana bw’aba ow’okunywerera mu mazima, bazadde be baba balina okumuliisa
obulungi mu by’omwoyo n’okumutendeka. Balina okumuyigiriza emisingi egiri mu Kigambo kya Katonda. (Nge. 1:8) Abazadde basaanidde kutandika ddi okutendeka abaana baabwe,
era bayinza kubatendeka batya?
Abazadde
Mutendeke
Abaana Bammwe
Okuva nga
Bakyali Bawere
ABAZADDE BEETAAGA OBULAGIRIZI
Lowooza ku Manowa, eyali abeera mu kibuga Zola
ekya Isiraeri era eyalina omukyala omugumba. Malayika wa Yakuwa yalabikira mukyala we n’amugamba
nti yali agenda kuzaala omwana ow’obulenzi. (Balam. 13:2, 3) Manowa ne mukyala we bateekwa okuba nga baasanyuka nnyo okuwulira ebigambo ebyo.
Wadde kyali kityo, waliwo ekintu ekyali kibeeraliikiriza. Manowa yasaba Yakuwa nti: “Ai Mukama, nkwegayirira, omusajja wa Katonda gwe watuma ajje gye
tuli olw’okubiri, atuyigirize bwe tulikola omwana agenda okuzaalibwa.” (Balam. 13:8) Manowa ne mukyala we baali baagala okumanya engeri y’okukuzaamu
omwana gwe baali bagenda okuzaala. Tewali kubuusabuusa nti omwana waabwe, Samusooni, baamuyigiriza amateeka ga Yakuwa, era kirabika naye yagakolerako. Bayibuli eraga nti Samusooni bwe yali
aweereza ng’omulamuzi mu Isiraeri, omwoyo gwa Yakuwa gwamusobozesa okukola ebintu eby’amaanyi
bingi.—Balam. 13:25; 14:5, 6; 15:14, 15.
Abazadde basaanidde kutandika ddi okutendeka
abaana baabwe? Maama wa Timoseewo, Ewuniike,
ne jjajjaawe, Looyi, baamuyigiriza ‘ebyawandiikibwa
ebitukuvu okuva mu buwere.’ (2 Tim. 1:5; 3:15) Timoseewo yatandika okutendekebwa ng’akyali muwere.
Kikulu nnyo abazadde Abakristaayo okusaba Katonda abawe obulagirizi era n’okukola enteekateeka
ezeetaagisa basobole okutendeka omwana waabwe
“okuva mu buwere.” Engero 21:5 wagamba nti: “Ebirowoozo eby’omunyiikivu bireeta [bulungi] bwereere.” Omwami n’omukyala ababa basuubira okuzaala
omwana, basaanidde okweteekateeka obulungi. Bayinza n’okukola olukalala lw’ebintu bye bajja okwetaaga okugulira omwana waabwe. Kyokka era kikulu
nnyo abazadde okulowooza ku ngeri gye banaayigirizzaamu omwana waabwe ebikwata ku Yakuwa.
Basaanidde okufuba okulaba nti batandika okutendeka omwana waabwe amangu ddala nga yaakazaalibwa.
Ekitabo ekimu ekyogera ku ngeri omwana gy’akulamu kigamba nti, emyezi egisooka ng’omwana y’akazaalibwa, obwongo bwe buba busobola okukwata
ebintu bingi mu bwangu. N’olwekyo kikulu nnyo abazadde okukozesa ekiseera ekyo okuyigiriza omwana waabwe ebintu ebikwata ku Yakuwa n’emitindo
gye!
16
Ng’ayogera ku muwala we omuto, mwannyinaffe
omu aweereza nga payoniya owa bulijjo yagamba nti:
“Nnatandika okutwala muwala wange mu buweereza bw’ennimiro nga wa mwezi gumu. Wadde nga yali
tategeera bigenda mu maaso, ndi mukakafu nti ekyo
kyamuyamba nnyo. We yaweereza emyaka ebiri, yali
asobola bulungi okugabira abantu tulakiti nga taliimu kutya.”
Abazadde bwe batandika okutendeka abaana
baabwe okuva mu buto, kivaamu emiganyulo mingi.
Kyokka okuyigiriza abaana abato ebikwata ku Katonda ebiseera ebisinga tekiba kyangu.
‘MUKOZESE BULUNGI BULI KAKISA KE
MUFUNA’
Ekimu ku bintu ebikifuula ekizibu eri abazadde
okuyigiriza abaana baabwe, kwe kuba nti abaana bawugulwa mangu. Abaana baba baagala okulaba buli
kimu ekibasala mu maaso. Kiki abazadde kye bayinza okukola okuyamba abaana baabwe okussaayo
omwoyo ku ebyo bye baba babayigiriza?
Lowooza ku ekyo Musa kye yagamba. Ekyamateeka 6:6, 7 wagamba nti: “Ebigambo bino bye
nkulagira leero binaabanga ku mutima gwo: era
onoonyiikiranga okubiyigiriza abaana bo, era onoobyogerangako bw’onootuulanga mu nnyumba yo, era
bw’onootambuliranga mu kkubo, era bw’onoogalamiranga, era bw’onoogolokonga.” Ebigambo “onoonyiikiranga okubiyigiriza” bitegeeza okuyigiriza ng’oddiana ensonga. Omwana omuto alinga omuti
omuto oguba gwetaaga okufukirirwa buli kiseera.
Okuva bwe kiri nti okuddiana ensonga kiyamba
abantu abakulu okugijjukira, tewali kubuusabuusa
nti kiyamba n’abaana abato!
Abazadde beetaaga okuwaayo ebiseera okusobola okuyigiriza abaana baabwe amazima. Kyokka ekyo
si kyangu mu nsi eno omuli eby’okukola ebingi. Naye
omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo ‘okukozesa obulungi buli kakisa ke bafuna’ okwenyigira mu
bintu eby’omwoyo. (Bef. 5:15, 16) Ekyo bayinza kukikola batya? Ow’oluganda omu aweereza ng’omukadde ate nga mukyala we aweereza nga payoniya owa bulijjo, yalina okukola enteekateeka okulaba
nti tagwa lubege bwe kituuka ku kutendeka omwana waabwe, okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe mu
kibiina, n’okukola omulimu gwe. Bandisobodde batya okufuna ebiseera okutendeka muwala waabwe?
OMUNAALA GW’OMUKUUMI
Manowa yasaba
Katonda amuwe
obulagirizi ku ngeri
y’okukuzaamu
omwana gwe
bandizadde
Ow’oluganda agamba nti: “Buli ku makya nga sinnagenda ku mulimu, nze ne mukyala wange tumusomera ekitundu okuva mu Kitabo Kyange eky’Engero za
Bayibuli oba ekyawandiikibwa ky’olunaku. Era tukola kye kimu n’akawungeezi nga tanneebaka, era tugenda naye okubuulira. Twagala okukozesa obulungi
ekiseera kino ng’akyali muto okumutendeka.”
‘ABAANA BALINGA OBUSAALE’
Twagala abaana baffe bakule bafuuke abantu
ab’obuvunaanyizibwa. Kyokka ensonga esinga obukulu lwaki tubatendeka eri nti twagala okubayamba okwagala Katonda n’omutima gwabwe gwonna.
—Mak. 12:28-30.
Zabbuli 127:4 wagamba nti: “Ng’obusaale bwe
buli mu mukono gw’omuzira, abaana ab’omu buAGUSITO 15, 2013
vubuka bwe bali bwe batyo.” Abaana bageraageranyizibwa ku busaale obulina okulasibwa obulungi
okusobola okukuba ekintu omuntu ky’aba ayagala okukuba. Omuntu bw’aba alasa akasaale abeera
nako mu ngalo okumala akaseera katono era aba tasobola kukakomyawo kasita kava mu mutego gwe.
Mu ngeri y’emu, abazadde babeera n’abaana baabwe okumala ekiseera kitono. Ekiseera ekyo basaanidde okukikozesa obulungi okuyigiriza abaana baabwe emisingi gya Katonda.
Ng’ayogera ku abo be yayamba okuyiga amazima,
omutume Yokaana yawandiika nti: “Tewali kisinga kunsanyusa ng’okuwulira nti abaana bange batambulira mu mazima.” (3 Yok. 4) Abazadde Abakristaayo
nabo basobola okufuna essanyu ng’eryo bwe balaba
abaana baabwe nga “batambulira mu mazima.”
17
BULI OMU
ALOWOOZENGA
KU MUNNE ERA
AMUZZEEMU
AMAANYI
“Ka buli omu ku ffe
alowoozenga ku munne, okumukubiriza
okwagala n’okukola
ebikolwa ebirungi.”
—BEB. 10:24.
WANDIZZEEMU OTYA?
‘Okulowooza ku balala’ kitegeeza ki?
Tuyinza tutya ‘okukubiriza abalala okwagala n’okukola ebikolwa
ebirungi’?
Tuyinza tutya ‘okuzzianamu
amaanyi’?
SSEMATALO II bwe yali anaatera okuggwa, Abanazi baayisa ekiragiro okutta abasibe bonna abaali mu nkambi
z’abasibe. Abasibe abaali mu nkambi y’e Sachsenhausen
baali ba kutwalibwa ku myalo egy’enjawulo babatikke ku
mmeeri oluvannyuma ezandibbidde bafe.
2 Mu basibe abaali mu nkambi y’e Sachsenhausen,
33,000 ku bo baali ba kutambula olugendo lwa mayiro 155
¨
okugenda e Lubeck, ogumu ku myalo egiri mu Bugirimaani. Mu bantu abo mwalimu n’Abajulirwa ba Yakuwa 230
okuva mu nsi mukaaga. Bonna baali banafuye olw’enjala
n’obulwadde ebyali bibaluma. Baganda baffe abo baasobola batya okutambula ne batuuka? Omu ku bo yagamba
nti: “Buli omu yazzangamu munne amaanyi.” Okwagala
buli omu kwe yalina eri munne awamu ‘n’amaanyi agasinga ku ga bulijjo’ Katonda ge yabawa, byabayamba obutafiira mu kkubo.—2 Kol. 4:7.
3 Leero, tetutambula lugendo ng’olwo, naye naffe tufuna ebizibu bingi. Obwakabaka bwa Katonda bwe bwatandika okufuga mu 1914, Sitaani yagobebwa mu ggulu
n’asuulibwa ku nsi, ng’alina “obusungu bungi ng’amanyi nti alina akaseera katono.” (Kub. 12:7-9, 12) Nga Kalumagedoni agenda yeeyongera okusembera, Sitaani atuleetera ebizibu ebitali bimu ng’ayagala okutunafuya mu
by’omwoyo. Okugatta ku ekyo, waliwo ebintu bingi ebitweraliikiriza mu bulamu. (Yob. 14:1; Mub. 2:23) Oluusi
ebizibu bye tufuna biyinza okutumalamu ennyo amaanyi
ne kiba nti ebintu byonna bye tukola okusobola okuddamu amaanyi tuwulira nga tebituyamba. Ng’ekyokulabirako, waliwo ow’oluganda omu eyali ayambye ab’oluganda
bangi okuddamu amaanyi era ekyo yali amaze emyaka mingi ng’akikola. Kyokka, bwe yagenda akaddiwa, ye
ne mukyala we baalwala era ekyo kyamumalamu nnyo
amaanyi. Ekyo kiraga nti ffenna twetaaga “amaanyi agasi1, 2. Kiki ekyayamba Abajulirwa ba Yakuwa 230 obutafiira mu
kkubo nga batwalibwa ku myalo egy’enjawulo?
3. Lwaki twetaaga okuzzianamu amaanyi?
18
OMUNAALA GW’OMUKUUMI
nga ku ga bulijjo” agava eri Yakuwa era twetaaga okuzzianamu amaanyi.
4 Bwe tuba ab’okuzzaamu abalala amaanyi, twetaaga okukolera ku bigambo omutume Pawulo bye yawandiikira Abakristaayo Abebbulaniya. Yagamba nti: “Ka buli omu
ku ffe alowoozenga ku munne, okumukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi,
nga tetulekaayo kukuaananga wamu ng’abamu bwe bakola, naye nga tuzzianamu
amaanyi naddala nga bwe mulaba nti olunaku lusembedde.” (Beb. 10:24, 25) Tuyinza tutya okukolera ku bigambo ebyo?
‘BULI OMU ALOWOOZENGA KU MUNNE’
‘Okulowooza ku balala’ kitegeeza okufaayo ku byetaago byabwe. Tetusobola kumanya byetaago bya baganda baffe singa
tukoma ku kubabuuza bubuuza nga tuzze mu nkuaana oba ku kwogera nabo
ku bintu ebitali bikulu nnyo. Kya lwatu nti
tetwagala ‘kweyingiza mu nsonga z’abalala.’ (1 Tim. 5:13; 1 Bas. 4:11) Wadde kiri kityo, bwe tuba twagala okuzzaamu bakkiriza bannaffe amaanyi twetaaga okubategeera
obulungi. Twetaaga okumanya embeera y’obulamu bwabwe, engeri zaabwe, bye basobola okukola ne bye batasobola kukola, era
twetaaga okumanya n’embeera yaabwe ey’eby’omwoyo. Beetaaga okukimanya nti tuli mikwano gyabwe era nti tubaagala. Ekyo okusobola okukikola, twetaaga okubeerako awamu
nabo, ne mu biseera ebirala, so si mu biseera
ebyo byokka nga balina ebizibu oba nga baweddemu amaanyi.—Bar. 12:13.
6 Bayibuli egamba nti abakadde balina
‘okulundanga ekisibo kya Katonda ekyabakwasibwa’ kyeyagalire. (1 Peet. 5:1-3) Abakadde basobola batya okutuukiriza obulungi
5
4. Bwe tuba ab’okuzzaamu abalala amaanyi, biga-
mbo ki eby’omutume Pawulo bye tulina okukolerako?
5. ‘Okulowooza ku balala’ kitegeeza ki, era ekyo
tuyinza kukikola tutya?
6. Kiki ekisobola okuyamba omukadde ‘okulowooza’ ku bakkiriza banne?
AGUSITO 15, 2013
obuvunaanyizibwa bwabwe obwo singa baba
tebamanyi bulungi kisibo? (Soma Engero
27:23.) Abakadde bwe bawaayo ebiseera okubeerako ne bakkiriza bannaabwe era ne bakiraga nti baagala nnyo okubeerako awamu
nabo, bakkiriza bannaabwe kijja kubanguyira okubatuukirira nga beetaaga obuyambi.
Ate era kijja kubanguyira okubuulira abakadde ebizibu byabwe n’ebintu ebibeeraliikiriza. Bwe kityo, abakadde bajja kusobola okubayamba.
7 Pawulo yakubiriza ab’oluganda mu Ssessaloniika “okuyamba abanafu.” (Soma
1 Abassessaloniika 5:14.) Mu abo mwe muli
abantu “abennyamivu” n’abo ababa baweddemu amaanyi. Engero 24:10 wagamba nti:
“Bw’ozirika ku lunaku olw’okulabirako obuyinike, amaanyi go nga matono.” Omuntu
aba aweddemu amaanyi oluusi ayogera ebigambo “eby’okwanguyiriza.” (Yob. 6:2, 3) Tusaanidde okukijjukira nti ebigambo omuntu aba aweddemu amaanyi by’ayogera
oluusi aba tabitegeeza. Rachelle, alina maama we eyennyamira ennyo, kino yakyerabirako. Agamba nti: “Emirundi mingi maama
yayogeranga ebigambo ebirumya. Naye bwe
yabyogeranga nnafubanga okulowooza ku
ngeri ennungi maama z’alina, gamba ng’okwagala, ekisa, n’okuba nti mugabi. Nnakiraba nti omuntu aba yennyamidde ebiseera
bingi ayogera ebintu by’atategeeza. Omuntu
ng’oyo bw’ayogera naawe obubi, tekiba kya
magezi naawe okwogera naye obubi.” Engero 19:11 wagamba nti: “Okuteesa kw’omuntu
kwe kumulwisaawo okusunguwala; era okusonyiwa ekyonoono kye kitiibwa kye.”
8 Tuyinza tutya okulaga nti tufaayo ku
muntu aba aweddemu amaanyi olw’ekibi
kye yakola? Wadde nga yeenenya mu bwesimbu, omuntu ng’oyo ayinza okuba ng’akyawulira obuswavu olw’ebyo bye yakola.
7. Twanditutte tutya ebigambo “eby’okwanguyiriza” abo ababa baweddemu amaanyi bye boogera?
8. Okusingira ddala baani abeetaaga okulagibwa
nti tubaagala, era lwaki?
19
Buulirako n’ab’oluganda abalala
Ng’ayogera ku mwonoonyi omu mu kibiina
ky’Ekkolinso eyali yeenenyezza, Pawulo yagamba ab’oluganda nti: “Mubeere beetegefu
okumusonyiwa n’okumubudaabuda, aleme
kusaanyizibwawo olw’okunakuwala ennyo.
N’olwekyo, mbakubiriza okumulaga okwagala.” (2 Kol. 2:7, 8) Ow’oluganda aba yeenenyezza tasobola kukitegeera nti tumwagala
era nti tumufaako okuggyako nga tukimulaze
mu bigambo ne mu bikolwa.
“OKUMUKUBIRIZA OKWAGALA N’OKUKOLA
EBIKOLWA EBIRUNGI”
9 Pawulo yagamba nti: “Ka buli omu ku
ffe alowoozenga ku munne, okumukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi.”
Ekyo tukikola nga tuyamba bakkiriza bannaffe okwoleka okwagala n’okukola ebintu ebirungi. Ng’ekyokulabirako, omuliro bwe guba
gwaka naye nga tetwagala guzikire, tuba tulina okuguseesaamu. (2 Tim. 1:6) Mu ngeri
y’emu, waliwo ebintu bye tusobola okukola
okuyamba baganda baffe okwongera oku-
9. Kitegeeza ki ‘okukubiriza abalala okwagala n’o-
kukola ebikolwa ebirungi’?
20
Kubiriza abalala okwagala n’okukola ebintu ebirungi
weereza Yakuwa n’obunyiikivu. Ekimu ku bintu ebyo kwe kubasiima olw’ebirungi bye bakola.
10 Ffenna twetaaga okusiimibwa, ka tube
nga tuweddemu amaanyi oba nedda. Ow’oluganda omu aweereza ng’omukadde yagamba
nti: “Sijjukira mulundi na gumu taata lwe yansiima nga nnina ekintu ekirungi kye nkoze.
Bwe kityo, nnakula ndowooza nti sirina kintu
kirungi kyonna kye nsobola kukola. . . . Wadde nga kati nnina emyaka 50, kinsanyusa
nnyo abalala bwe bansiima olw’ebintu ebirungi bye nkola mu kibiina. . . . Ekyo kinnyambye okukiraba nti kikulu nnyo okusiima
abalala era nfuba okukikola.” Buli omu, k’abe
payoniya, nnamukadde, oba oyo aba anafuye, addamu amaanyi abalala bwe bamusiima.
—Bar. 12:10.
11 ‘Abo abalina ebisaanyizo eby’eby’omwoyo bwe baba bagezaako okutereeza
omuntu aba akutte ekkubo ekyamu,’ okumu10, 11 . (a) Baani abeetaaga okusiimibwa?
(b) Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri okusiima
omuntu gye kiyinza okumuyamba okutereeza amakubo ge?
OMUNAALA GW’OMUKUUMI
tumuswaza, nga tumugeraageranya ku balala, oba nga tumuleetera okuwulira obubi
olw’okukola ekitono mu buweereza bwe, kiyinza okumuleetera okwongera ku buweereza bwe, naye ekyo ayinza obutakikola kumala
kiseera kiwanvu. Engeri esingayo obulungi ‘ey’okukubirizaamu’ bakkiriza bannaffe
okwoleka okwagala n’okukola ebintu ebirungi kwe kubasiima n’okubayamba okukiraba
nti okwagala Katonda ye nsonga esinga obukulu eyanditukubirizza okukola ekisingayo
obulungi mu buweereza bwaffe.—Soma Abafiripi 2:1-4.
‘OKUZZIANAMU AMAANYI’
Funayo ebiseera okubeerako awamu
ne bakkiriza banno
siima olw’ebintu ebirungi bye yakola mu biseera eby’emabega kiyinza okumuyamba
okutereeza amakubo ge. (Bag. 6:1) Ekyo kyennyini kye kyayamba mwannyinaffe ayitibwa Miriam. Agamba nti: “Nnayisibwa bubi
nnyo nga mikwano gyange bagobeddwa mu
kibiina ate mu kiseera kye kimu taata n’afuna obulwadde obw’amaanyi. Nnennyamira nnyo. Nnasalawo okufuna omusajja atali
mukkiriza nga ndowooza nti ekyo kyandinnyambye okuvvuunuka embeera eyo enzibu gye nnalimu.” Kyokka ekyo kyamuleetera okuwulira nga takyasaanira mu maaso ga
Yakuwa, era n’alowooza ne ku ky’okuva mu
mazima. Naye omukadde bwe yamujjukiza
ebintu ebirungi bye yali akoze emabega, kyamuyamba okuddamu amaanyi. Abakadde
baamukakasa nti Yakuwa yali akyamwagala.
N’ekyavaamu, mwannyinaffe oyo yaddamu
okwagala Yakuwa. Yeekutula ku musajja atali mukkiriza ne yeeyongera okuweereza Yakuwa.
12 Okugezaako okukubiriza omuntu nga
12. Kiki ekiyinza okubaawo singa tugezaako okukubiriza bakkiriza bannaffe mu ngeri enkyamu?
AGUSITO 15, 2013
13 Twetaaga ‘okuzzianamu amaanyi naddala nga bwe tulaba nti olunaku lwa Yakuwa lusembedde.’ Tusobola okuzzaamu abalala amaanyi nga tubakubiriza okweyongera
okuweereza Katonda. Okukubiriza abalala
okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi kiyinza okugeraageranyizibwa ku kuseesa mu
muliro oguba gunaatera okuzikira, ate okuzzaamu abalala amaanyi kisobola okugeraageranyizibwa ku kwongera enku mu kyoto
omuliro gusobole okweyongera okwaka.
Okuzzaamu abalala amaanyi kizingiramu
okubudaabuda abo ababa baweddemu amaanyi. Bwe tufuna akakisa okuzzaamu abantu ng’abo amaanyi, tusaanidde okwogera nabo mu ngeri ey’ekisa era ey’okwagala.
(Nge. 12:18) Ate era, tusaanidde ‘okuba abangu okuwuliriza’ era nga ‘tulwawo okwogera.’ (Yak. 1:19) Singa tuwuliriza bulungi bakkiriza bannaffe, tujja kusobola okutegeera
ebintu ebyabamalamu amaanyi era tujja kumanya ebintu bye tusaanidde okwogera okusobola okubazzaamu amaanyi.
14 Lowooza ku ngeri omukadde omu
gye yayambamu ow’oluganda eyali amaze
13. Kiki kye tuyinza okukola okusobola okuzzaamu abalala amaanyi? (Laba ekifaananyi ku lupapula 18.)
14. Omukadde omu yayamba atya ow’oluganda
eyali aweddemu amaanyi?
21
Wuliriza bulungi omuntu aba
yeetaaga okuzzibwamu amaanyi
(Laba akatundu 14, 15)
emyaka egiwerako nga tabuulira. Omukadde
bwe yawuliriza ow’oluganda oyo, yakiraba nti
yali akyayagala Yakuwa. Yali asoma buli magazini y’Omunaala gw’Omukuumi era ng’afuba okubaawo mu nkuaana obutayosa. Kyokka, waliwo ab’oluganda abamu mu kibiina
abaali bakoze ebintu ebyamunyiiza ne bimumalamu amaanyi. Omukadde yamuwuliriza bulungi, n’agezaako okutegeera ensonga
ye, era n’amukakasa nti ab’oluganda mu kibiina baali bamwagala nnyo. Oluvannyuma lw’ekiseera, ow’oluganda oyo yatandika
okukiraba nti yali akkirizza ebintu ebyayita
okumulemesa okuweereza Katonda we gwe
yali ayagala. Omukadde yakola enteekateeka
okubuulirako n’ow’oluganda oyo. N’ekyavaamu, ow’oluganda oyo yaddamu okubuulira
era oluvannyuma lw’ekiseera yaddamu okuweereza ng’omukadde.
15 Oluusi omuntu aba aweddemu amaanyi ayinza obutayanguwa kuddamu maanyi
ne bwe tuba nga tufubye okumuyamba. Kiyi15. Bwe kituuka ku kuzzaamu amaanyi abo ababa
banafuye, tuyinza tutya okukoppa Yakuwa?
22
nza okutwetaagisa okumala ekiseera ekiwerako nga tumuyamba. Pawulo yagamba nti:
“Mweyongere okuwanirira abanafu, mube
bagumiikiriza eri buli omu.” (1 Bas. 5:14,
An American Translation) Mu kifo ky’okukoowa amangu okuyamba abantu ababa banafuye, tusaanidde ‘okweyongera okubawanirira’
n’okubayamba. Mu biseera by’edda, Yakuwa
yayoleka obugumiikiriza eri abaweereza be
abaali baweddemu amaanyi. Ng’ekyokulabirako, Katonda yagumiikiriza nnyo Eriya era
yalaga nti yali afaayo ku nneewulira ye. Yamuwa byonna bye yali yeetaaga okusobola
okweyongera okumuweereza. (1 Bassek. 19:
1-18) Olw’okuba Dawudi yeenenya mu bwesimbu, Yakuwa yamusonyiwa. (Zab. 51:7, 17)
Ate era Katonda yayamba omuwandiisi wa
Zabbuli 73, eyali abulako akatono okulekera awo okumuweereza. (Zab. 73:13, 16, 17)
Yakuwa atulaga ekisa era atugumiikiriza, naddala bwe tuba nga tuweddemu amaanyi.
(Kuv. 34:6) Ekisa kye kidda ‘buggya buli
nkya,’ era “tekiggwaawo.” (Kung. 3:22, 23)
Yakuwa ayagala tumukoppe nga tulaga ekisa
abo ababa baweddemu amaanyi.
BULI OMU AKUBIRIZE MUNNE OKUSIGALA
MU KKUBO ERY’OBULAMU
Ku basibe 33,000 abaava mu nkambi
y’e Sachsenhausen, nkumi na nkumi baafiira mu kkubo. Kyokka Abajulirwa ba Yakuwa
230 abaava mu nkambi eyo bonna baawonawo. Ekyo kyali kityo kubanga bazzianamu
amaanyi nga bali ku lugendo olwo olwafiiramu abantu abangi ennyo.
17 Leero, tuli mu ‘kkubo eridda mu bulamu.’ (Mat. 7:14) Mu kiseera ekitali kya wala,
abaweereza ba Yakuwa bonna bajja kuyingira mu nsi empya ey’obutuukirivu. (2 Peet. 3:
13) Ka ffenna tube bamalirivu okuyambagana tusobole okweyongera okutambulira mu
kkubo eridda mu bulamu.
16
16, 17. Ng’enkomerero y’enteekateeka ya Sitaani egenda esembera, kiki kye tulina okukola, era
lwaki?
OMUNAALA GW’OMUKUUMI
OSAANIDDE
KUBA MUNTU
WA NGERI KI?
“Mube bantu abalina
empisa entukuvu era
abakola ebikolwa
eby’okwemalira ku Katonda!”—2 PEET. 3:11.
WANDIZZEEMU OTYA?
Okusobola okusiimibwa mu maaso ga Katonda, tusaanidde kuba
bantu ba ngeri ki?
Sitaani alimbalimba atya abantu?
ABANTU bangi bafaayo nnyo ku ekyo abalala kye babalowoozaako. Naye ffe Abakristaayo tusaanidde okufaayo ennyo ku ngeri Yakuwa gy’atutwalamu. Ekyo kiri
kityo kubanga Yakuwa ye Muyinza w’Ebintu Byonna
era ye “nsibuko y’obulamu.”—Zab. 36:9, NW.
2 Omutume Peetero yakiraga nti okusobola okusiimibwa mu maaso ga Yakuwa, tulina okuba abantu abalina “empisa entukuvu era abakola ebikolwa eby’okwemalira ku Katonda.” (Soma 2 Peetero 3:
11.) “Empisa” zaffe okusobola okuba entukuvu tulina okuba abayonjo mu birowoozo, mu mpisa, ne mu
by’omwoyo. Ate era tulina okuba ‘n’ebikolwa eby’okwemalira ku Katonda’ nga tumwagala nnyo era nga
tumussaamu ekitiibwa. Bwe kityo, okusobola okusiimibwa mu maaso ga Katonda tulina okufaayo ku mpisa zaffe ne ku ekyo ekiri mu mitima gyaffe. Okuva bwe
kiri nti Yakuwa akebera emitima, amanyi bulungi obanga tulina empisa entukuvu era obanga tumwemaliddeko.—1 Byom. 29:17.
3 Omulabe waffe, Sitaani Omulyolyomi, tayagala
tube nga tusiimibwa mu maaso ga Katonda. Mu butuufu, akola kyonna ekisoboka okulaba nti ayonoona
enkolagana yaffe ne Yakuwa. Sitaani akozesa obulimba okugezaako okutusendasenda okuva ku Katonda
waffe gwe tusinza. (Yok. 8:44; 2 Kol. 11:13-15) N’olwekyo, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza: ‘Sitaani
alimba atya abantu? Kiki kye nnyinza okukola okusobola okukuuma enkolagana yange ne Yakuwa?’
SITAANI ALIMBA ATYA ABANTU?
Kiki ky’oyinza okukola okusobola
okukuuma enkolagana yo ne Yakuwa?
Yakobo yagamba nti: “Buli muntu agezesebwa ng’atwalirizibwa era ng’asendebwasendebwa okwegomba
4
1, 2. Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okusiimibwa mu
maaso ga Katonda?
3. Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?
4. Okusobola okwonoona enkolagana yaffe ne Katonda, kiki Sitaani ky’agezaako okukola, era lwaki?
23
Sitaani agezaako okutuleetera okufuna okwegomba okubi mu mitima gyaffe. Omutume Yokaana yalaga “ebintu”
bisatu “ebiri mu nsi” Sitaani by’akozesa:
(1) “okwegomba kw’omubiri,” (2) “okwegomba kw’amaaso,” ne (3) “okweraga
olw’ebintu omuntu by’alina mu bulamu.” Sitaani yakozesa ebintu ebyo ng’akema Yesu mu ddungu. Olw’okuba Sitaani amaze emyaka mingi ng’akozesa ebintu
ebyo, kati alina obumanyirivu bwa maanyi nnyo mu kubikozesa, era amanyi kintu ki ku bintu ebyo ky’asobola okukozesa
ku buli muntu. Nga tetunnaba kulaba kye
tuyinza okukola okusobola okwekuuma
enkwe za Sitaani, ka tusooke tulabe engeri
Omulyolyomi gye yasobola okulimba Kaawa naye n’atasobola kulimba Mwana wa
Katonda.
6
Sitaani yakozesa “okwegomba
kw’omubiri” okulimba Kaawa
(Laba akatundu 7)
“OKWEGOMBA KW’OMUBIRI”
kwe. Oluvannyuma okwegomba bwe kuba
olubuto kuzaala ekibi; ate ekibi bwe kimala okukolebwa kireeta okufa.” (Yak. 1:14,
15) Okusobola okwonoona enkolagana yaffe ne Katonda, Sitaani agezaako okwonoona omutima gwaffe, omusibuka okwegomba kwaffe.
5 Kiki Sitaani ky’akozesa okugezaako
okwonoona omutima gwaffe? Bayibuli egamba nti “Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.” (1 Yok. 5:19) Ekimu ku bintu Sitaani by’akozesa bye ‘bintu ebiri mu
nsi.’ (Soma 1 Yokaana 2:15, 16.) Okumala emyaka nkumi na nkumi Omulyolyomi abadde akozesa ensi ye okulimbalimba
abantu. Okuva bwe kiri nti tuli mu nsi eno
embi, tulina okwekuuma enkwe za Sitaani.—Yok. 17:15.
5, 6. (a) Kiki Sitaani ky’akozesa okugezaako
okwonoona omutima gwaffe? (b) Bintu ki ebisatu
Sitaani by’akozesa okutuleetera okufuna okwegomba okubi mu mitima gyaffe, era bumanyirivu ki
bw’alina mu kukozesa ebintu ebyo?
24
7 Buli muntu yeetaaga okulya emmere okusobola okuba omulamu. Omutonzi waffe yatonda ensi ng’esobola okubala emmere mu bungi. Kyokka Sitaani
asobola okukozesa eby’okulya okutuleetera okumenya amateeka ga Katonda. Ka tulabe engeri gye yabikozesaamu okulimbalimba Kaawa. (Soma Olubereberye 3:1-6.)
Sitaani yagamba Kaawa nti yali asobola
okulya ku ‘muti ogw’okumanya obulungi
n’obubi’ n’atafa. Era yamugamba nti bwe
yandiridde ku muti ogwo, yandibadde nga
Katonda. (Lub. 2:9) Bwe kityo, Omulyolyomi yali ng’agamba nti Kaawa yali teyeetaaga kugondera Katonda okusobola okuba omulamu. Ng’obwo bwali bulimba bwa
maanyi! Omulyolyomi bwe yamala okuteeka ekirowoozo ekyo mu Kaawa, Kaawa yali
asobola okukola ebintu bibiri: Yali asobola okweggyamu ekirowoozo ekyo, oba okusigala ng’alowooza ku kibala ekyo, n’ale-
7. Sitaani yakozesa atya “okwegomba kw’omubiri”
okukema Kaawa?
OMUNAALA GW’OMUKUUMI
ka okwegomba okubi okukula mu mutima gwe. Wadde nga waaliwo emiti emirala mingi Kaawa gye yali asobola okulyako, yasalawo okusigala ng’alowooza ku
muti ogwali wakati mu lusuku. N’ekyavaamu ‘yanoga ku bibala byagwo n’alya.’ Sitaani yaleetera kaawa okwegomba ekintu
Omutonzi we kye yali amugaanye.
8 Sitaani yakozesa akakodyo ke kamu
ng’agezaako okukema Yesu mu ddungu.
Yesu bwe yali amaze ennaku 40 ng’asiiba, Sitaani yagezaako okumukema ng’akozesa eby’okulya. Sitaani yagamba Yesu
nti, “Bw’oba oli mwana wa Katonda, gamba ejjinja lino lifuuke emmere.” (Luk.
4:1-3) Yesu yali asobola okukola ebintu
bibiri: Yali asobola okusalawo okukozesa amaanyi ge okwefunira eky’okulya oba
obutagakozesa. Yesu yali akimanyi nti tekyali kituufu kukozesa maanyi ge kwenoonyeza bibye. Wadde ng’enjala yali
emuluma, okuba n’enkolagana ennungi ne
Yakuwa kye kyali kisinga obukulu gy’ali
okusinga eby’okulya. Yesu yagamba Sitaani nti: “Kyawandiikibwa nti, ‘Omuntu taba
mulamu na mmere yokka, naye na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Yakuwa.’ ”
—Mat. 4:4.
“OKWEGOMBA KW’AMAASO”
9 Ekintu ekirala Yokaana kye yayogerako kwe ‘kwegomba kw’amaaso.’ Ebigambo ebyo biraga nti omuntu asobola okutandika okwegomba ekintu oluvannyuma
lw’okukitunuulira. Sitaani yakozesa okwegomba kw’amaaso okusendasenda Kaawa.
Yamugamba nti: ‘Amaaso gammwe gajja
kuzibuka.’ Kaawa gye yakoma okutunuulira ekibala ekyagaanibwa, gye yakoma oku-
8. Sitaani yagezaako atya okukozesa “okwegomba
kw’omubiri” okukema Yesu, naye lwaki teyasobola
kumuleetera kujeemera Katonda?
9. Ebigambo “okwegomba kw’amaaso” biraga ki,
era Sitaani yakozesa atya okwegomba okwo okusendasenda Kaawa?
AGUSITO 15, 2013
Yesu teyeerabira ekyo ekyali kisinga obukulu
(Laba akatundu 8)
kyegomba. N’ekyavaamu, Kaawa yalaba
ng’omuti “gusanyusa amaaso.”
10 Sitaani yakozesa atya “okwegomba
kw’amaaso” okukema Yesu? Sitaani “[yalaga Yesu] obwakabaka bwonna obw’omu
nsi; n’amugamba nti: ‘Nja kukuwa obuyinza ku bwakabaka buno bwonna n’ekitiibwa kyabwo.’ ” (Luk. 4:5, 6) Yesu teyalaba bwakabaka bwonna obw’omu nsi
na maaso ge, naye yalaba ekitiibwa kyabwo mu kwolesebwa. Sitaani ateekwa okuba nga yali alowooza nti ebyo Yesu bye
yali alabye mu kwolesebwa byandimusikirizza. Yagamba Yesu nti: “Singa ovunnama n’onsinza, bwonna bujja kuba bubwo.”
(Luk. 4:7) Yesu yagaana okukola ekyo Sitaani kye yamugamba okukola. Amangu
ddala yamuddamu nti: “Kyawandiikibwa
nti, ‘Yakuwa Katonda wo gw’olina okusinza era ye yekka gw’olina okuweereza.’ ”
—Luk. 4:8.
10. Sitaani yakozesa atya “okwegomba kw’amaa-
so” okukema Yesu, era Yesu yamuddamu atya?
25
Misingi ki egy’omu Byawandiikibwa egisobola okukuyamba mu mbeera zino?
(Laba akatundu 13, 14)
“OKWERAGA OLW’EBINTU OMUNTU
BY’ALINA MU BULAMU”
Ekintu eky’okusatu Yokaana kye yayogerako kwe ‘kweraga olw’ebintu omuntu by’alina mu bulamu.’ Adamu ne Kaawa bwe baali nga be bantu bokka abali ku
nsi, baali tebalina muntu yenna gwe bayinza kweragirako. Naye baayoleka amalala.
Sitaani bwe yali akema Kaawa yamuleetera okulowooza nti Katonda yalina ebintu
ebirungi bye yali amukwese. Omulyolyomi
yamugamba nti bwe yandiridde ku ‘muti
ogw’okumanya obulungi n’obubi, yandibadde nga Katonda ng’amanyi ekirungi n’ekibi.’ (Lub. 2:17; 3:5) Sitaani yali ayagala
Kaawa alowooze nti asobola okubeerawo
awatali bulagirizi bwa Yakuwa. Amalala
gayinza okuba nga ge gaaleetera Kaawa
okukkiriza ebyo Sitaani bye yamugamba.
Yalya ku kibala ekyali kigaaniddwa, ng’alowooza nti teyandifudde. Nga yali mukyamu nnyo!
12 Obutafaananako Kaawa, Yesu yali
mwetoowaze. Sitaani yagezaako okumukema akole ekintu ekyandireetedde abalala okumutendereza naye nga kigeze11
11. Sitaani yasendasenda atya Kaawa?
sa Katonda. Ekyo Yesu yagaana okukikola
olw’okuba kyandibadde kikolwa ekyoleka
amalala. Mu kifo ky’ekyo, Yesu yaddamu
Sitaani nti: “Kyagambibwa nti, ‘Tokemanga Yakuwa Katonda wo.’ ”—Soma Lukka
4:9-12.
TUYINZA TUTYA OKUKUUMA ENKOLAGANA
YAFFE NE YAKUWA?
Ne leero, Sitaani akema abantu ng’akozesa ebintu bye bimu nga bye yakozesa
okukema Kaawa ne Yesu. Akozesa “okwegomba kw’omubiri” okuleetera abantu
okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu n’okwemalira ku kulya n’okunywa. Akozesa “okwegomba kw’amaaso” okuleetera
abantu okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu, naddala ku Intaneeti. Era akozesa
‘okweraga olw’ebintu omuntu by’alina mu
bulamu’ okuleetera abantu okuba ab’amalala, okwagala okwefunira obuyinza, ettutumu, n’eby’obugagga.
14 Sitaani akozesa “ebintu ebiri mu nsi”
okutusendasenda ng’omuvubi bw’akozesa ensirianyi okusikiriza eky’ennyanja.
Ensirianyi esobola okusikiriza eky’ennyanja naye nga tekimanyi nti eri ku ddobo. Sitaani akozesa ebintu ebirabika ng’e13
12. Sitaani yagezaako atya okukema Yesu, era
13, 14. Sitaani agezaako atya okutubuzaabuza
Yesu yamuddamu atya?
leero?
26
OMUNAALA GW’OMUKUUMI
byetaagisa mu bulamu okutusendasenda
okumenya amateeka ga Katonda. Ayagala tulowooze nti okukola ku byetaago byaffe n’okuba mu bulamu obulungi kikulu
nnyo okusinga okukola Katonda by’ayagala. Onokkiriza Sitaani okukubuzaabuza?
15 Sitaani yalimba Kaawa naye teyasobola kulimba Yesu. Ku buli mulundi Sitaani
lwe yagezaako okukema Yesu, Yesu yamuddangamu nti: “Kyawandiikibwa nti” oba,
“Kyagambibwa nti.” Bwe tufuba okwesomesa Bayibuli, tujja kutegeera bulungi
Ebyawandiikibwa era tujja kusobola okubijjukira n’okubikolerako nga tukemebwa.
(Zab. 1:1, 2) Okujjukira ebyokulabirako
by’abaweereza ba Katonda abaali abeesigwa aboogerwako mu Bayibuli, kijja kutukubiriza okubakoppa. (Bar. 15:4) Bwe tussa
ekitiibwa mu Yakuwa, ne twagala by’ayagala era ne tukyawa by’akyawa, kijja kutuyamba okuziyiza ebikemo.—Zab. 97:10.
16 Omutume Pawulo yatukubiriza okukozesa “amagezi” gaffe kituyambe okuba abantu abalina endowooza ya Katonda, so si
ey’ensi. (Bar. 12:1, 2) Pawulo yakiraga nti kikulu nnyo okufaayo ku bintu bye tulowoozaako. Yagamba nti: “Tusiguukulula endowooza enkyamu na buli kintu ekigulumivu
ekiwakanya okumanya okukwata ku Katonda; era tuwangula buli kirowoozo ne tukifuula kiwulize eri Kristo.” (2 Kol. 10:5) Ebyo
bye tulowooza birina kinene kye biyinza
okutukolako. N’olwekyo twetaaga ‘okulowoozanga’ ku bintu ebizimba.—Baf. 4:8.
17 Okusobola okuba abatukuvu, tulina
okwewala ebirowoozo ebibi n’okwegomba
okubi. Tulina okwagala Yakuwa ‘n’omutima omulongoofu.’ (1 Tim. 1:5) Kyokka
omutima mulimba, era oluusi tuyinza n’obutakimanya nti “ebintu ebiri mu nsi” bi15. Okufaananako Yesu, tuyinza tutya okuziyiza
ebikemo bya Sitaani?
16, 17. Okukozesa “amagezi” kiyinza kutuyamba
kitya?
AGUSITO 15, 2013
tutwalirizza nnyo. (Yer. 17:9) N’olwekyo,
kikulu nnyo ‘okwekebera okulaba obanga
tuli mu kukkiriza, n’okwegezesa tumanyire ddala ekyo kye tuli.’ Ekyo tuyinza okukikola nga tufuba okulaba obanga ebyo bye
tulowooza ne bye twegomba bituukagana n’ebyo bye tusoma mu Bayibuli.—2 Kol.
13:5.
18 Ekintu ekirala ekiyinza okutuyamba
obutatwalirizibwa ‘bintu ebiri mu nsi’ kwe
kukuumira mu birowoozo ebigambo by’omutume Yokaana bino: “Ensi eggwaawo
n’okwegomba kwayo, naye oyo akola Katonda by’ayagala abeerawo emirembe gyonna.” (1 Yok. 2:17) Enteekateeka ya Sitaani erabika ng’ejja okubeerawo emirembe
gyonna. Naye lujja kukya lumu nga tekyaliwo. Okukijjukira nti buli kintu ekiri mu
nteekateeka ya Sitaani kinaatera okusaanawo, kijja kutuyamba obutalimbibwalimbibwa Mulyolyomi.
19 Omutume Peetero atukubiriza okuba
abantu abasiimibwa mu maaso ga Katonda ‘nga tulindirira era nga tukuumira mu
birowoozo byaffe okujja kw’olunaku lwa
Yakuwa, eggulu mwe ligenda okwokebwa
omuliro lisaanuuke n’ebintu byonna bisaanuuke olw’ebbugumu eringi!’ (2 Peet. 3:12)
Mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa ajja
kuleeta olunaku lwe azikirize ensi ya Sitaani yonna. Naye ng’ekyo tekinnabaawo, Sitaani ajja kweyongera okukozesa “ebintu
ebiri mu nsi” okutukema, nga bwe yakema Kaawa ne Yesu. Tetusaanidde kuba nga
Kaawa eyeerowoozaako yekka. Singa tuba
nga Kaawa tuba tukkirizza Sitaani okuba
katonda waffe. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okuba nga Yesu. Tusaanidde okuziyiza
ebikemo wadde nga biyinza okuba nga bisikiriza. N’olwekyo, ka buli omu ku ffe afube okuba omuntu asiimibwa mu maaso ga
Yakuwa.
18, 19. Lwaki tusaanidde okufuba okuba abantu
abasiimibwa mu maaso ga Yakuwa?
27
Erisa Yalaba Amagaali ag’Omuliro
NAAWE OGALABA?
Kabaka wa Busuuli yali anoonya nnabbi wa Katonda Erisa ng’ayagala okumukwata. Yakitegeerako nti
Erisa yali mu Dosani, ekibuga ekyali waggulu ku lusozi era nga kiriko bbugwe. Ekiro, kabaka wa Busuuli yasindika endogoyi, amagaali, n’abasajja abalwanyi e Dosani. Obudde we bwakeerera, eggye lye lyali
lyetoolodde ekibuga.—2 Bassek. 6:13, 14.
Omuddu wa Erisa bwe yafuluma ebweru, yalaba
eggye ly’abalabe. Yatya nnyo era n’agamba nti: “Zitusanze, mukama wange! Tunaakola tutya?” Erisa yamuddamu nti: “Totya: kubanga abali naffe bangi okusinga
abali nabo.” Oluvannyuma Erisa yasaba Yakuwa ng’agamba nti: ‘Yakuwa, nkwegayiridde, muzibule amaaso
ge alabe.’ Bayibuli egamba nti: “Awo Mukama n’azibula
amaaso g’omulenzi; n’alaba: awo, laba, olusozi nga lujjudde embalaasi n’amagaali ag’omuliro ageetoolodde
Erisa.” (2 Bassek. 6:15-17) Kiki kye tuyigira ku ebyo
ebyaliwo ku olwo awamu n’ebintu ebirala ebyaliwo mu
bulamu bwa Erisa?
Wadde nga Erisa yali yeetooloddwa eggye lya Busuuli, yasigala nga mukkakkamu olw’okuba yali yee-
28
siga Yakuwa era yali mukakafu nti yali amukuuma.
Tetusuubira nti Yakuwa ajja kutukuuma mu ngeri
ey’ekyamagero leero, naye tuli bakakafu nti Yakuwa
akuuma abantu be ng’ekibiina. Naffe tulinga abeetooloddwa embalaasi n’amagaali ag’omuliro. Bwe
‘tulaba’ ebintu ebyo n’amaaso gaffe ag’okukkiriza
era nga twesiga Katonda, tujja kuba “mu mirembe”
era Yakuwa ajja kutuwa emikisa. (Zab. 4:8) Kati ka tulabe bye tuyigira ku bintu ebirala ebyaliwo mu bulamu bwa Erisa.
ERISA ATANDIKA OKUWEEREZA ERIYA
Lumu, Erisa bwe yali ng’alima, nnabbi Eriya yajja
gy’ali n’amusuulako ekyambalo kye. Erisa yategeera
ekyo Eriya kye yali ategeeza. Bwe kityo, Erisa yateekateeka embaga, n’asiibula kitaawe ne nnyina, n’ava
awaka waabwe n’agenda okuweereza Eriya. (1 Bassek. 19:16, 19-21) Olw’okuba Erisa yali mwetegefu
okuweereza Katonda mu bujjuvu, Yakuwa yamukozesa okukola ebintu bingi era oluvannyuma yamulonda
okuba nnabbi eyadda mu bigere bya Eriya.
OMUNAALA GW’OMUKUUMI
Erisa yaweereza Eriya, oboolyawo okumala emyaka mukaaga. Mu kiseera ekyo, ye ‘yafukiriranga
amazzi mu ngalo za Eriya.’ (2 Bassek. 3:11) Mu biseera by’edda, abantu baaliisanga ngalo. Oluvannyuma lw’okulya emmere, omuweereza yafukiriranga mukama we amazzi mu ngalo. Ekyo kiraga nti
emirimu egimu Erisa gye yakolanga gyali gya wansi.
Kyokka, Erisa yagitwala nga nkizo okuweereza Eriya.
Okufaananako Eriya, Abakristaayo bangi leero,
beetegefu okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna obutali bumu. Ekyo bakikola olw’okuba beesiga
Yakuwa era baagala okumuwa ekyo ekisingayo obulungi. Ng’ekyokulabirako, abamu bava ewaabwe okusobola okuweereza mu maka ga Beseri n’okuyamba
mu kuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka, emirimu bangi gye batwala okuba egya wansi. Kyokka tewali Mukristaayo n’omu asaanidde kutwala mirimu ng’egyo
okuba egya wansi kubanga Yakuwa agitwala nga gya
muwendo.—Beb. 6:10.
ERISA YANYWERERA KU BUWEEREZA BWE
Katonda bwe yali ‘tannalinnyisa Eriya mu ggulu,’
yagamba nnabbi oyo okuva e Girugaali agenda e Beseri. Eriya bwe yagamba Erisa okusigala, Erisa yamuddamu nti: “Sijja kukuleka.” Bwe baali bagenda,
emirundi ebiri, Eriya yagamba Erisa obutamugoberera naye Erisa n’agaana. (2 Bassek. 2:1-6) Nga Luusi
bwe yanywerera ku Nawomi, ne Erisa yanywerera ku
Eriya. (Luus. 1:8, 16, 17) Erisa yagitwala nga nkizo ya
maanyi okuweereza Eriya, kubanga yali amaanyi nti
Katonda ye yali amuwadde omulimu ogwo.
Erisa yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Bwe
tufuna enkizo yonna mu kibiina kya Katonda, tujja
kugitwala nga ya muwendo singa tukijjukira nti tuweereza Yakuwa. Tewali nkizo esinga eyo ey’okuweereza Yakuwa.—Zab. 65:4; 84:10.
“SABA KYE NNAAKUKOLERA”
Bwe baali batambula, Eriya yagamba Erisa nti:
“Saba kye nnaakukolera nga sinnaba kukuggibwako.” Okufaananako Sulemaani, Erisa yasaba ekintu
ekyandimuyambye okuweereza obulungi Yakuwa. Yasaba ‘emigabo ebiri egy’omwoyo gwa Eriya gibeere
ku ye.’ (1 Bassek. 3:5, 9; 2 Bassek. 2:9) Mu Isiraeri,
omwana ow’obulenzi omubereberye yaweebwanga
emigabo ebiri egy’obusika. (Ma. 21:15-17) Bwe kityo,
Erisa yali asaba okufuuka omusika wa Eriya oba okudda mu kifo kye nga nnabbi. Ate era, Erisa yali ayagaAGUSITO 15, 2013
la okuba omuvumu era omunyiikivu nga Eriya.—1 Bassek. 19:13, 14.
Eriya yaddamu atya omuweereza we oyo? Yamugamba nti: ‘Ekintu ky’osabye kizibu nnyo. Naye bw’onondaba nga nkuggibwako kinaaba bwe kityo; naye
bw’otondabe tekiibe bwe kityo.’ (2 Bassek. 2:10)
Ebyo Eriya bye yamuddamu biyinza okuba nga byalina amakulu ga mirundi ebiri. Biyinza okuba nga byali bitegeeza nti Katonda yekka ye yali alina okusalawo obanga Erisa aweebwa ekyo kye yali asabye. Oba
biyinza okuba nga byali bitegeeza nti Erisa okusobola okufuna ekyo kye yali asabye, yalina okunywerera
ku Eriya mu mbeera zonna.
ERISA KYE YALABA
Yakuwa yawa Erisa ekyo kye yali asabye? Bayibuli
egamba nti: “Awo olwatuuka nga bakyatambula nga
balojja, laba, ne walabika eggaali ery’omuliro n’embalaasi ez’omuliro ne zibaawula bombi; Eriya n’alinnya mu ggulu n’embuyaga. . . . Era Erisa n’akiraba.”1 Bw’atyo Yakuwa bwe yaddamu okusaba kwa
Erisa. Erisa yalaba Eriya ng’atwalibwa, yaweebwa
emigabo ebiri egy’omwoyo gwa Eriya, era yadda mu
kifo kya Eriya nga nnabbi.—2 Bassek. 2:11-14.
Erisa yalonda ekyambalo kya Eriya ekyali kimuvuddeko ne kigwa wansi, n’akyambala. Abantu bwe
baalaba Erisa ng’ayambadde ekyambalo ekyo, baakitegeera nti yali afuuse nnabbi wa Katonda. Ekirala ekyalaga nti yali alondeddwa okuba nnabbi kwe
kuba nti yakuba ku mazzi g’Omugga Yoludaani ne
geeyawulamu.
Ebyo Erisa bye yalaba nga Eriya atwalibwa embuyaga, biteekwa okuba nga byamukwatako nnyo. Ekyo
kiri kityo, kubanga si kya bulijjo okulaba eggaali
ery’olutalo ery’omuliro n’embalaasi ez’omuliro! Yakiraba nti Yakuwa yali azzeemu okusaba kwe. Katonda bw’addamu essaala zaffe, tetulaba ggaali lya
lutalo ery’omuliro n’embalaasi ez’omuliro. Naye tulaba obukakafu obw’enkukunala obulaga nti Yakuwa akozesa amaanyi ge amangi okutuyamba n’okukakasa nti ebyo by’ayagala bikolebwa. Ate era bwe
tulaba engeri Yakuwa gy’awaamu omukisa ekitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kye, tuba ‘ng’abalaba’
eggaali lye nga litambula.—Ez. 10:9-13.
1 Eriya teyagenda mu ggulu Yakuwa awamu ne bamalayika gye
babeera. Laba Watchtower eya Ssebutemba 15, 1997, olupapula 15.
29
Waliwo ebintu bingi ebyayamba Erisa okukiraba
nti Yakuwa alina amaanyi mangi nnyo. Mu butuufu, omwoyo gwa Katonda gwamusobozesa okukola ebyamagero 16, nga bikubisaamu emirundi ebiri
ebyo Eriya bye yakola.1 Omulundi ogw’okubiri Erisa
lwe yalaba embalaasi n’amagaali ag’olutalo ag’omuliro, yali Dosani nga yeetooloddwa eggye lya Busuuli,
nga bwe twalabye ku ntandikwa y’ekitundu kino.
ERISA YEESIGA YAKUWA
Wadde nga yali yeetooloddwa abalabe e Dosani,
Erisa yasigala nga mukkakkamu. Lwaki? Kubanga
yalina okukkiriza okw’amaanyi mu Yakuwa. Naffe
twetaaga okuba n’okukkiriza okw’amaanyi. N’olwekyo, ka bulijjo tusabe Katonda atuwe omwoyo gwe
omutukuvu gutuyambe okwoleka okukkiriza n’engeri
endala eziri mu kibala ky’omwoyo.—Luk. 11:13; Bag.
5:22, 23.
1 Laba Watchtower eya Agusito 1, 2005, olupapula 10.
Ebyo ebyaliwo e Dosani era byayamba Erisa okwongera okwesiga Yakuwa awamu n’eggye lye erya
bamalayika. Katonda yatuma bamalayika be ne
beetooloola ekibuga ekyo era ne baziba amaaso g’abalabe ba Erisa. Bw’atyo Yakuwa yawonyaawo Erisa n’omuweereza we. (2 Bassek. 6:17-23) Mu kiseera ekyo ekyali ekizibu ennyo, nga bwe kyali ne
mu biseera ebirala byonna, Erisa yakiraga nti yalina
okukkiriza okw’amaanyi era nti yali yeesiga nnyo Yakuwa.
Okufaananako Erisa, naffe tusaanidde okwesiga
Yakuwa Katonda. (Nge. 3:5, 6) Bwe tunaakola bwe
tutyo, ‘Katonda ajja kutusaasira era ajja kutuwa emikisa.’ (Zab. 67:1) Kyo kituufu nti tetwetooloddwa
mbalaasi na magaali ag’omuliro. Naye tuli bakakafu
nti mu kiseera ‘ky’ekibonyoobonyo ekinene,’ Yakuwa
ajja kutukuuma ffenna ng’ekibiina. (Mat. 24:21; Kub.
7:9, 14) Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, ka bulijjo
tukijjukire nti “Katonda kye kiddukiro” kyaffe.—Zab.
62:8.
EGIMU KU MISANGO GYE TWAWANGULA
Bufalansa Yazza Ddoola 8,200,000
243
Ssente (mu ddoola z’Amerika) gavumenti ya Bufalansa ze
yaddiza Abajulirwa ba Yakuwa nga Ddesemba 11, 2012,
oluvannyuma lw’okuwangula omusango ogwali gumaze
emyaka 15
Emisango gyonna Abajulirwa ba
Yakuwa gye bawangudde mu kkooti
enkulu mu nsi yonna
Buyonaani—Olukiiko Oluwabuzi
20
South Korea—Ebyasalwawo U.N. Human
Rights Committee
Emisango
egyawangulwa mu
kooti ya Bulaaya
ekola ku ddembe
ly’obuntu okuva mu
Apuli 2000
Nga Noovemba 2, 2012, Olukiiko lw’Eggwanga Oluwabuzi
lwasalawo nti Abajulirwa ba Yakuwa balina eddembe okuba
n’ebizimbe eby’okusinzizaamu
Okitobba 25, 2012 - South Korea yalagirwa okuliyirira Abajulirwa
ba Yakuwa 388 olw’okutyoboola eddembe lyabwe
ETTEREKERO LYAFFE
Kabaka
Yasanyuka Nnyo!
King Sobhuza II taken in 1936 by Robert Nisbet
and bequeathed to the Watch Tower Society
MU AGUSITO 1936, Ow’oluganda Robert Nisbet ne George Nisbet baagenda mu lubiri lwa Kabaka Sobhuza II owa Swaziland ne bamuteerako obutambi okwali ennyimba z’Obwakabaka awamu n’emboozi z’Ow’oluganda J. F. Rutherford. Kabaka
oyo yasanyuka nnyo. Ow’oluganda George yagamba nti, ‘Naye
ekyatwewuunyisa kwe kuba nti kabaka oyo yali ayagala okugula ebyuma bye twali tukozesa, obutambi bwaffe, awamu n’emizindaalo gyaffe.’
Robert yagamba kabaka nti kyali tekisoboka kumuguza bintu
ebyo. Lwaki? Kubanga byaliko nnyini byo. Kabaka yayagala okumanya ani yali nnannyini byo.
Robert yamuddamu nti, “Bya Kabaka omulala.” Sobhuza yamusaba amubuulire erinnya lya Kabaka oyo. Robert yamugamba
nti: “Ye Yesu Kristo, Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda.”
Sobhuza yagamba nti: “Kabaka oyo wa kitiibwa nnyo. Saagala kutwala kintu kye kyonna.”
Robert yagamba nti: ‘Kabaka Sobhuza yalina engeri ennungi.
Wadde nga yali ayogera bulungi Olungereza, teyalina malala.
Ate era yali mwesimbu era ng’atuukirikika. Nnamala eddakiika
45 nga ndi naye mu ofiisi ye nga George ali wabweru ataddeko
ennyimba.’
Robert era yagamba nti: ‘Bwe twava awo twagenda ku ssomero eriyitibwa Swazi National School, era ebyali eyo byatusanyusa nnyo. Twayogerako n’omukulu w’essomero, era yatuwuliriza
bulungi. Bwe twamugamba nti twalina obutambi bwe twali tusobola okuteerako abaana bonna ne bawuliriza, yasanyuka nnyo
era n’ayita abaana nga kikumi n’abagamba okutuula wansi ku
muddo bawulirize. Baatugamba nti essomero eryo lyayigirizanga abalenzi okulima, okubajja, okuzimba, Olungereza, n’okubala; era nti lyatendekanga abawala obusawo, okukola emirimu
gy’awaka, n’emirimu emirala egy’omugaso.’ Jjajja wa Sobhuza
omukazi ye yatandikawo essomero eryo.1
Bapayoniya baatandika okukyalira Kabaka Sobhuza mu lubiri lwe okuva 1933 era yabawulirizanga. Lumu, kabaka oyo
yakuaanya abakuumi be 100 bawulirize obubaka bw’Obwakabaka. Yasaba okufunanga magazini zaffe buli mwezi era yakkirizanga n’ebitabo byaffe. Mu kiseera kitono Kabaka Sobhuza
1 The Golden Age, Jjuuni 30, 1937, olupapula 629.
AGUSITO 15, 2013
31
(Waggulu) Abayizi b’essomero ly’omu
Swaziland abaawuliriza emboozi mu 1936
(Ku ddyo) George Nisbet n’emmotoka
ye okwali emizindaalo
s
n
o
Osobola okuwanula
magazini eno awamu
n’ebitabo ebirala ku
www.jw.org ku bwereere
p
kubayigganya olw’obutakolera ku bulombolombo
bw’obwakabaka bwa Swaziland. Eyo ye nsonga
lwaki bwe yafa, Abajulirwa ba Yakuwa baawulira
ennaku ey’amaanyi.
Omwaka gwa 2013 we gwatandikira, mu Swaziland mwalimu ababuulizi b’Obwakabaka abasukka 3,000. Mu nsi eyo mulimu abantu ng’akakadde
kamu, era okutwalira awamu buli mubuulizi alina
okubuulira abantu nga 384. Mu mwaka gwa 2012,
mu Swaziland mwalimu bapayoniya abasukka mu
260 n’ebibiina 90, era mu mwaka ogwo abantu
7,496 be baaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo. Ekyo
kiraga bulungi nti mu nsi eyo mulimu abantu bangi abakyasobola okuyiga amazima. Ekyo kiri kityo
kubanga waliwo ab’oluganda abaatandika okusiga
ensigo ez’amazima mu Swaziland mu myaka gya
1930.—Okuva mu tterekero lyaffe mu South Africa.
Osobola okusomera
Bayibuli ku mukutu
gwaffe ogwa Intaneeti
Kozesa code eno
oba genda ku
mukutu gwaffe
ogwa www.jw.org
w13 08/15-LU
130419
yali awezezza ebitabo byaffe bingi mu tterekero lye!
Ebitabo ebyo yabikuuma ne mu kiseera ebitabo byaffe bwe byali nga biwereddwa mu matwale ga Bungereza nga Ssematalo II agenda mu maaso.
Kabaka Sobhuza II yayanirizanga Abajulirwa ba
Yakuwa ne mu lubiri lwe olw’e Lobamba, era yayitanga n’abakulembeze b’amadiini okujja okuwuliriza emboozi ezeesigamiziddwa ku Bayibuli. Lumu
ow’oluganda ayitibwa Helvie Mashazi bwe yali
annyonnyola Matayo essuula 23, abakulembeze b’eddiini abamu baanyiiga nnyo ne bamulagira okulekera awo okwogera era atuule. Naye kabaka yagamba Ow’oluganda Mashazi agende mu maaso. Ate
era yalagira n’abo abaaliwo okuwandiika buli kyawandiikibwa ow’oluganda oyo kye yakoonangako!
Ku mulundi omulala, oluvannyuma lw’okuwulira emboozi payoniya omu gye yawa, abakulembeze
b’eddiini abana abaaliwo baakweka akantu akeeru
akabeera mu bulago bwabwe ne bagamba nti: “Tetukyali bakulembeze ba ddiini, kati tuli Bajulirwa
ba Yakuwa.” Era baasaba payoniya oyo abawe ku bitabo ng’ebyo Kabaka Sobhuza bye yalina.
Okuva mu myaka gya 1930 okutuusa lwe yafa
mu 1982, Kabaka Sobhuza yayisanga bulungi Abajulirwa ba Yakuwa, era teyakkirizanga muntu yenna

Similar documents

ahatari matsiko goona - Disciple Nations Alliance

ahatari matsiko goona - Disciple Nations Alliance nigateekwa kutandika n’okugarurwa butsya okw’omuntu obwo arikwakiira Yesu Kristo nk’omujuni w’amagara ge. Kwonka Yesu Kristo nakira ahari ekyo, Tari Mukama w’amagara geitu kyonka, kureka ni Mukama ...

More information